Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kwagala kwa Ngeri Ki Okuleeta Essanyu Erya Nnamaddala?

Kwagala kwa Ngeri Ki Okuleeta Essanyu Erya Nnamaddala?

“Abantu abalina Yakuwa nga ye Katonda waabwe, balina essanyu!”​—ZAB. 144:15.

ENNYIMBA: 111, 109

1. Lwaki ekiseera kye tulimu kya njawulo nnyo?

EKISEERA kye tulimu kya njawulo nnyo. Nga Bayibuli bwe yagamba, Yakuwa akuŋŋaanya ‘ekibiina ekinene okuva mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.’ Yakuwa akuŋŋaanyiza ‘eggwanga ery’amaanyi’ eririmu abantu abasukka mu bukadde munaana ‘abamuweereza emisana n’ekiro.’ (Kub. 7:9, 15; Is. 60:22) Mu byafaayo byonna tewabangawo bantu bangi bwe batyo ku nsi abaagala Katonda ne bantu bannaabwe.

2. Abantu abeeyawudde ku Katonda balina kwagala kwa ngeri ki? (Laba ekifaananyi waggulu.)

2 Kyokka era Ebyawandiikibwa byalaga nti mu kiseera kyaffe abantu abeeyawudde ku Katonda bandibadde booleka okwagala okw’ekika ekirala, nga kuno kwe kwagala okw’okwerowoozaako. Omutume Pawulo yagamba nti: “Mu nnaku ez’enkomerero . . . , abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, . . . nga baagala eby’amasanyu [mu kifo ky’okwagala] Katonda.” (2 Tim. 3:1-4) Okwagala okw’engeri eyo kwa njawulo nnyo ku kwagala Abakristaayo kwe balina okwoleka. Okwagala okw’okwerowoozaako tekuleetera bantu ssanyu nga bwe baba basuubira. Mu kifo ky’ekyo okwagala okwo kuleetera abantu okwefaako bokka, era ekyo kiviiriddeko ebiseera bye tulimu okuba ‘ebizibu ennyo.’

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino, era lwaki?

3 Pawulo yakimanya nti okwagala okw’okwerowoozaako kwandibadde kwa kabi eri Abakristaayo. Bwe kityo yakubiriza Abakristaayo ‘okwewala’ abantu abooleka okwagala okwo okutali kulungi. (2 Tim. 3:5) Kyokka tetusobola kwewalira ddala bantu abo. Kati olwo tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa endowooza z’ensi tusobole okusanyusa Yakuwa Katonda ow’okwagala? Tugenda kugeraageranya okwagala Bayibuli kw’etukubiriza okwoleka n’okwo okwogerwako mu 2 Timoseewo 3:2-4. Ekyo kijja kutuyamba okwekebera tulabe engeri gye tuyinza okwoleka okwagala okunaatusobozesa okufuna essanyu erya nnamaddala.

OYAGALA KATONDA OBA WEEYAGALA WEKKA?

4. Lwaki si kikyamu okweyagala ku kigero ekisaana?

4 Omutume Pawulo yagamba nti “Abantu baliba beeyagala bokka.” Kikyamu okweyagala? Nedda. Kya mu butonde okweyagala era kisaana. Bw’atyo Yakuwa bwe yatutonda. Yesu yagamba nti: “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” (Mak. 12:31) Bwe tuteeyagala tetusobola kwagala bantu bannaffe. Bayibuli era egamba nti: “[Abaami] kibagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe. Omusajja ayagala mukyala we aba yeeyagala kennyini, kubanga tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira.” (Bef. 5:28, 29) N’olwekyo si kikyamu omuntu okweyagala ku kigero ekisaana.

5. Abantu abeeyagala ekisukkiridde bayinza kugeraageranyizibwa ku ki?

5 Okwagala okwogerwako mu 2 Timoseewo 3:2 si kulungi. Okwagala okwo kuleetera omuntu okwefaako yekka. Abantu abalina okwagala okwo beerowoozaako ekisukkiridde. (Soma Abaruumi 12:3.) Ebyabwe bye batwala ng’ebikulu, tebafaayo ku balala. Bwe bakola ensobi banenya balala mu kifo ky’okukkiriza ensobi yaabwe. Omwekenneenya wa Bayibuli omu yageraageranya abantu abeeyagala bokka ku ‘kasolo akalina amaggwa ku mugongo. Akasolo ako keezinga ng’omupiira, ebyoya byako ebigonvu ne kabyesigaliza munda, amaggwa agali ku mugongo ne kagaleka wabweru okufumita abalala.’ Abantu ng’abo abeefaako bokka tebaba na ssanyu lya nnamaddala.

6. Birungi ki ebiva mu kwoleka okwagala Katonda kw’ayagala twoleke?

6 Abeekenneenya ba Bayibuli bagamba nti Pawulo bwe yali ayogera ku ngeri abantu gye bandyeyisizzaamu mu nnaku ez’enkomerero, yasooka kwogera ku ky’okuba nti abantu bandibadde beeyagala bokka, kubanga ebintu ebirala byonna bye yaddako okumenya biva ku kuba nti abantu beeyagala bokka. Naye bo abantu abaagala Katonda beeyisa mu ngeri ya njawulo. Okwagala Katonda kw’ayagala twoleke kukwataganyizibwa n’essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, n’okwefuga. (Bag. 5:22, 23) Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Abantu abalina Yakuwa nga ye Katonda waabwe, balina essanyu!” (Zab. 144:15) Yakuwa Katonda musanyufu era n’abantu be basanyufu. Obutafaananako abantu abeeyagala bokka era abaagala okuweebwa obuweebwa, abaweereza ba Yakuwa bafuna essanyu eriva mu kwewaayo okuyamba abalala.​—Bik. 20:35.

Tuyinza tutya okwewala okweyagala ekisukkiridde? (Laba akatundu 7)

7. Bibuuzo ki ebisobola okutuyamba okwekebera okulaba obanga ddala twagala Katonda?

7 Tuyinza tutya okumanya obanga tutandise okweyagala okusinga bwe twagala Katonda? Lowooza ku kubuulirira okuli mu Abafiripi 2:3, 4, awagamba nti: “Temukola kintu kyonna mu kuyomba, oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo, wabula nga mukola ebintu byonna mu buwombeefu nga mukitwala nti abalala babasinga, era nga temufaayo ku byammwe byokka naye nga mufaayo ne ku by’abalala.” Tusaanidde okwebuuza nti: ‘Nkolera ku kubuulirira okwo mu bulamu bwange? Nfuba okukola Katonda by’ayagala? Nfuba okuyamba abalala mu kibiina ne mu buweereza bw’ennimiro?’ Oluusi tekiba kyangu kwewaayo kuyamba balala. Kyetaagisa okufuba n’okwefiiriza. Naye ekyo bwe tukikola, kisanyusa Omufuzi w’obutonde bwonna era ekyo kituleetera essanyu lingi.

8. Okwagala abamu kwe balina eri Katonda kubaleetedde kukola ki?

8 Okwagala Abakristaayo abamu kwe balina eri Yakuwa kubaleetedde okwerekereza emirimu egisasula obulungi basobole okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Ng’ekyokulabirako, Ericka, abeera mu Amerika yasoma gwa busawo. Naye mu kifo ky’okugenda okukola mu malwaliro, yafuuka payoniya owa bulijjo era aweerezzaako n’omwami we mu nsi ezitali zimu. Ericka agamba nti: “Ebirungi ebingi gye tufunye nga tuweereza mu nsi ezitali zimu n’emikwano gye tufunye bituleetedde essanyu lingi mu bulamu bwaffe. Nkyajjanjaba abantu, naye okuba nti ebiseera byange ebisinga obungi mbimala nzijanjaba abantu mu by’omwoyo n’okuyamba baganda bange mu kibiina, kindeetedde essanyu erya nnamaddala.”

EBY’OBUGAGGA BYO OBITEREKA MU GGULU OBA KU NSI?

9. Lwaki okwagala ennyo ssente tekuleeta ssanyu?

9 Pawulo era yagamba nti abantu bandibadde “baagala nnyo ssente.” Emyaka mitono emabega, payoniya omu mu Ireland yayogerako n’omusajja omu ku bikwata ku Katonda. Omusajja oyo yaggyayo ssente mu nsawo ye n’amugamba nga musanyufu nnyo nti, “Ono ye Katonda wange!” Wadde nga bangi teboogera butereevu bigambo ebyo, leero abantu bangi baagala nnyo ssente n’ebintu bye zigula. Naye Bayibuli egamba nti: “Omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kumatira ssente, n’omuntu ayagala ennyo eby’obugagga tayinza kuba mumativu n’ebyo by’afuna.” (Mub. 5:10) Abantu abaagala ssente tebazikkuta, era buli kaseera baba baagala kwongera ku ssente ze balina, era “beereetera obulumi bungi.”​—1 Tim. 6:9, 10.

10. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku bugagga n’obwavu?

10 Kya lwatu nti ffenna twetaaga ssente. Zituyamba mu ngeri ezitali zimu. (Mub. 7:12) Naye omuntu asobola okuba omusanyufu ng’alina ebyo byokka bye yeetaaga? Yee! (Soma Omubuulizi 5:12.) Aguli mutabani wa Yake yawandiika nti: “Tompa bwavu wadde obugagga. Ka ndye omugabo gwange ogw’emmere.” Kyangu okulaba ensonga lwaki yali tayagala kuba mwavu lunkupe. Yagamba nti yali tayagala kugwa mu kikemo kya kubba, kubanga ekyo kyandivumaganyizza erinnya lya Katonda. Naye lwaki yasaba obutaba mugagga? Yagamba nti: “Nneme okukkuta ne nkwegaana nga ŋŋamba nti, ‘Yakuwa y’ani?’” (Nge. 30:8, 9) Oboolyawo waliwo abantu b’omanyi abeesiga eby’obugagga byabwe mu kifo ky’okwesiga Katonda.

11. Kubuulirira ki okukwata ku ssente Yesu kwe yawa?

11 Abo abaagala ennyo ssente tebasobola kusanyusa Katonda. Yesu yagamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri; aba alina okukyawako omu n’ayagala omulala, oba okunywerera ku omu n’anyooma omulala. Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba Byabugagga.” Era yagamba nti: “Mulekere awo okweterekera eby’obugagga ku nsi ebiwuka we bibiriira, obutalagge we bubyonoonera, era n’ababbi kwe babibbira. Naye mweterekere eby’obugagga mu ggulu, ebiwuka gye bitayinza kubiriira wadde obutalagge okubyonoona, era n’ababbi gye batayinza kugenda ne babibba.”​—Mat. 6:19, 20, 24.

12. Obutaba na bintu bingi kituyamba kitya okuweereza obulungi Katonda? Waayo ekyokulabirako.

12 Bangi bakirabye nti bwe bataba na bintu bingi kibaleetera essanyu lingi nnyo era kibawa ebiseera ebiwerako okuweereza Yakuwa. Jack, abeera mu Amerika yatunda ennyumba ye ennene ne bizineesi ye ng’akimanyi nti ekyo kyandimusobozesezza okuweereza nga payoniya awamu ne mukyala we. Agamba nti: “Tekyatwanguyira kutunda maka gaffe agaali galabika obulungi. Naye okumala emyaka mingi nnakomangawo awaka nga siri musanyufu olw’ebizibu bye nnafunanga ku mulimu. Mukyala wange ye yali aweereza nga payoniya era nga musanyufu. Yateranga okuŋŋamba nti, ‘Mukama wange gwe mpeereza y’asingayo obulungi!’ Okuva bwe kiri nti kati nange mpeereza nga payoniya, nze ne mukyala wange kati ffembi tukolera Mukama waffe, Yakuwa.”

Tuyinza tutya okwewala okwagala ennyo ssente? (Laba akatundu 13)

13. Tusobola tutya okumanya endowooza gye tulina ku ssente?

13 Okusobola okumanya endowooza gye tulina ku ssente, tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ebyo Bayibuli by’eyogera ku ssente mbikkiriza era nkolera ku magezi g’ewa? Okukola ssente kye nkulembeza mu bulamu bwange? Eby’obugagga mbitwala nga bikulu okusinga enkolagana yange ne Yakuwa ne bantu bannange? Ddala nneesiga Yakuwa nti ajja kundabirira?’ Bwe twesiga Yakuwa, tajja kutwabulira.​—Mat. 6:33.

OKULEMBEZA YAKUWA OBA BYA MASANYU?

14. Endowooza ennuŋŋamu ekwata ku by’okwesanyusaamu y’eruwa?

14 Nga Bayibuli bwe yalagula, leero abantu bangi “baagala eby’amasanyu.” Nga bwe kitali kibi okweyagala n’okwagala ssente ku kigero ekisaana, si kibi okwesanyusaamu ku kigero ekisaana. Yakuwa tatugamba kwerumya oba kwewala kwenyigira mu bya kwesanyusaamu ebituganyula. Bayibuli egamba nti: “Genda olye emmere yo ng’osanyuka era onywe omwenge gwo n’omutima omusanyufu.”​—Mub. 9:7.

15. Abantu abaagala eby’amasanyu aboogerwako mu 2 Timoseewo 3:4 be baani?

15 Abantu aboogerwako mu 2 Timoseewo 3:4 b’ebo abaagala eby’amasanyu naye nga tebaagala Katonda. Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Olunyiriri olwo terutegeeza nti abantu abo baagala Katonda ku kigero ekitonotono, wabula lutegeeza nti tebaagalira ddala Katonda.” Nga kuno kulabula kwa maanyi eri abo abaagala eby’amasanyu! Bayibuli eraga nti abantu abaagala eby’amasanyu bawugulibwa “amasanyu ag’omu bulamu buno.”​—Luk. 8:14.

16, 17. Kyakulabirako ki Yesu kye yatuteerawo bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu?

16 Yesu yalina endowooza ennuŋŋamu ku by’okwesanyusaamu. Lumu yagendako ku ‘kijjulo ky’embaga ey’obugole,’ era olulala yagenda ku ‘kijjulo ekinene.’ (Yok. 2:1-10; Luk. 5:29) Bwe yali ku mbaga ey’obugole omwenge ne gukendeera, mu ngeri ey’ekyamagero, yafuula amazzi omwenge. Ate olumu yanenya abantu abaali bamukolokota olw’okulya n’okunywa, n’alaga nti tebaalina ndowooza nnuŋŋamu.​—Luk. 7:33-36.

17 Yesu teyeemaliranga ku bya kwesanyusaamu. Yakulembezanga Yakuwa era yakolanga butaweera okuyamba abalala. Ate era yeewaayo okufiira ku muti ogw’okubonaabona kisobozese abantu bangi okufuna obulamu obutaggwaawo. Yesu yagamba abo bonna abandibadde abagoberezi be nti: “Mulina essanyu abantu bwe babavumanga, bwe babayigganyanga, era ne babawaayiriza ebintu ebibi ebya buli kika ku lwange. Musanyuke era mujaguze, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu; kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaabasookawo.”​—Mat. 5:11, 12.

Tuyinza tutya okwewala okwagala eby’amasanyu? (Laba akatundu 18)

18. Bibuuzo ki ebisobola okutuyamba okumanya endowooza gye tulina ku by’okwesanyusaamu?

18 Tuyinza tutya okumanya endowooza gye tulina ku by’okwesanyusaamu? Tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Eby’okwesanyusaamu bye nkulembeza mu kifo ky’enkuŋŋaana n’okubuulira? Ndi mwetegefu okubaako bye nneefiiriza okusobola okuweereza Katonda? Bwe mba nnondawo eby’okwesanyusaamu ndowooza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu ebyo bye nnondawo?’ Bwe tuba nga ddala twagala Katonda, tetujja kukoma ku kwewala bintu bye tumanyi nti tabyagala, naye era tujja kwewala n’ebyo bye tusuubira nti ayinza okuba nga tabyagala.​—Soma Matayo 22:37, 38.

ENGERI Y’OKUFUNA ESSANYU ERYA NNAMADDALA

19. Baani abatasobola kuba na ssanyu lya nnamaddala?

19 Ensi ya Sitaani emaze emyaka nga 6,000 ng’ereetera abantu okubonaabona okutagambika, naye enaatera okusaanawo. Ensi ejjudde abantu abeeyagala bokka, abaagala ennyo ssente, era abaagala eby’amasanyu. Abantu abo balowooza ku ebyo byokka bye basobola okufuna, era ebyo bye baagala bye batwala ng’ebikulu mu bulamu bwabwe. Abantu ng’abo tebasobola kuba na ssanyu lya nnamaddala. Naye ng’omuwandiisi wa zabbuli bwe yagamba, omuntu ‘alina essanyu y’oyo alina Katonda wa Yakobo ng’omuyambi we, era asuubirira mu Yakuwa Katonda we.’​—Zab. 146:5.

20. Okwagala Katonda kikuyambye kitya okufuna essanyu?

20 Buli lukya abantu ba Yakuwa beeyongera okumwagala, era buli mwaka abantu bangi beegatta ku kibiina kya Yakuwa. Buno bukakafu bwa maanyi obulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bufuga era nti mu kiseera ekitali kya wala, bujja kuleeta emikisa mingi ku nsi. Essanyu erya nnamaddala liva mu kukola Katonda by’ayagala n’okukimanya nti tumusanyusa. Abo abaagala Yakuwa bajja kuba basanyufu emirembe gyonna. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri enneeyisa y’abantu abeeyagala bokka gy’eyawukana ku nneeyisa y’abantu ba Katonda.