Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 8

OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo

Weeyongere Okukolera ku Bulagirizi bwa Yakuwa

Weeyongere Okukolera ku Bulagirizi bwa Yakuwa

“Nze Yakuwa . . . akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.”IS. 48:17.

EKIGENDERERWA

Ekitundu kino kigenda kutuyamba okulaba engeri Yakuwa gy’awaamu abantu be obulagirizi leero, era n’emikisa gye tufuna bwe tukolera ku bulagirizi bw’atuwa.

1. Lwaki tusaanidde okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa?

 KUBA akafaananyi ng’obulidde mu kibira. Kya bulabe okubeera mu kibira ekyo, kubanga kirimu ensolo enkambwe, ebiwuka ebitambuza endwadde, ebimera eby’obutwa, n’agayinja. Wandisiimye nnyo singa wajjawo omuntu akukulemberamu ng’amanyi ebitundu eby’obulabe mu kibira ekyo era n’akuyamba okwewala okuyita mu bitundu ebyo. Ensi eno eringa ekibira ekyo. Ejjudde ebintu ebisobola okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Naye tulina asobola okutuwa obulagirizi obusingayo obulungi, ng’ono ye Yakuwa. Atuwa obulagirizi obutuyamba okwewala ebintu eby’obulabe nga tutambula mu kkubo erigenda mu nsi empya gye tujja okufunira obulamu obutaggwaawo.

2. Yakuwa atuwa atya obulagirizi?

2 Yakuwa atuwa atya obulagirizi? Okusingira ddala abutuwa ng’akozesa Ekigambo kye, Bayibuli. Naye era akozesa n’abantu abamukiikirira. Ng’ekyokulabirako, akozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okutuwa emmere ey’eby’omwoyo etuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Mat. 24:45) Yakuwa era alina n’abaweereza be abalala b’akozesa. Ng’ekyokulabirako, abalabirizi abakyalira ebibiina n’abakadde batuzzaamu amaanyi era batuwa obulagirizi obutuyamba nga twolekagana n’ebizibu. Mazima ddala tusiima nnyo obulagirizi obwesigika bwe tufuna mu nnaku zino enzibu ennyo ez’enkomerero. Butuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, n’okusigala mu kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo.

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Wadde kiri kityo, oluusi tuyinza okuzibuwalirwa okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa naddala bwe buba nga buyitidde mu bantu abatatuukiridde. Lwaki? Obulagirizi obwo buyinza okuba nga tebukwatagana n’ekyo kye twagala. Oba tuyinza okuba nga tulowooza nti si kya magezi okubukolerako oba nti tebuva eri Yakuwa. Mu mbeera ng’eyo, kiba kitwetaagisa okuba abakakafu nti Yakuwa y’akulemberamu abantu be era nti okukolera ku bulagirizi bwe kivaamu emikisa mingi. Okusobola okutuyamba okuba abakakafu nti Yakuwa y’akulemberamu abantu be, ekitundu kino kigenda kulaga (1) engeri Yakuwa gye yawangamu abantu be obulagirizi mu biseera eby’edda, (2) engeri gy’atuwaamu obulagirizi leero, (3) n’engeri gye tuganyulwamu bwe tukolera ku bulagirizi bw’atuwa.

Okuva edda n’edda Yakuwa azze akozesa abantu okuwa abantu be obulagirizi (Laba akatundu 3)


ENGERI YAKUWA GYE YAWANGAMU EGGWANGA LYA ISIRAYIRI OBULAGIRIZI

4-5. Yakuwa yakiraga atya nti yali akozesa Musa okukulemberamu Abayisirayiri? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

4 Yakuwa yalonda Musa okukulemberamu Abayisirayiri okuva e Misiri. Waaliwo obukakafu obulabika obwali bulaga nti yali abakulemberamu ng’akozesa Musa. Ng’ekyokulabirako, emisana yassaawo empagi ey’ekire ate ekiro n’assaawo empagi ey’omuliro. (Kuv. 13:21) Musa yagoberera empagi eyo eyamukulemberamu ye n’Abayisirayiri okugenda ku Nnyanja Emmyufu. Naye eggye ly’Abamisiri bwe lyatandika okubawondera, Abayisirayiri baatya nnyo olw’okuba baalowooza nti eggye eryo lyali ligenda kubatta. Baalowooza nti Musa yali akoze nsobi okubatwala ku Nnyanja Emmyufu. Naye yali takoze nsobi. Yakuwa yali akigenderedde okukulemberamu abantu be okubatwala ku Nnyanja Emmyufu ng’akozesa Musa. (Kuv. 14:2) Oluvannyuma Yakuwa yabanunula mu ngeri eyeewuunyisa ennyo.—Kuv. 14:​26-28.

Musa yagobereranga empagi y’ekire okusobola okukulemberamu abantu ba Katonda mu ddungu (Laba akatundu 4-5)


5 Emyaka 40 egyaddirira, Musa yeeyongera okugoberera empagi y’ekire okukulemberamu abantu ba Katonda nga bayita mu ddungu. a Okumala ekiseera, Yakuwa yassa empagi eyo waggulu wa weema ya Musa Abayisirayiri bonna we baali basobola okugirabira. (Kuv. 33:​7, 9, 10) Yakuwa yayogeranga ne Musa ng’asinziira mu mpagi eyo, era oluvannyuma Musa n’ategeeza abantu obulagirizi bwe yabanga abawadde. (Zab. 99:7) Abayisirayiri baalina obukakafu obwenkukunala obwali bulaga nti Yakuwa yali akozesa Musa okubakulemberamu.

Musa ne Yoswa eyamuddira mu bigere (Laba akatundu 5, 7)


6. Abayisirayiri baatwala batya obulagirizi Yakuwa bwe yabawa? (Okubala 14:​2, 10, 11)

6 Eky’ennaku, Abayisirayiri abasinga obungi baagaana okukkiriza obukakafu obwali bweyoleka obulungi nti Yakuwa yali akozesa Musa okumukiikirira. (Soma Okubala 14:​2, 10, 11.) Efunda n’enfunda baagaana okukkiriza nti Yakuwa yali akozesa Musa okubakulemberamu. N’ekyavaamu, omulembe ogwo ogw’Abayisirayiri tegwakkirizibwa kuyingira mu nsi ensuubize.—Kubal. 14:30.

7. Waayo ebyokulabirako eby’abo abaakolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. (Okubala 14:24) (Laba n’ekifaananyi.)

7 Kyokka waliwo Abayisirayiri abamu abaakolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba nti Kalebu yali amugoberera n’omutima gwe gwonna. (Soma Okubala 14:24.) Yakuwa yawa Kalebu emikisa mingi, era yamukkiriza okweroboza ekitundu kye yali ayagala okubeeramu mu nsi ya Kanani. (Yos. 14:​12-14) Omulembe gw’Abayisirayiri ogwaddawo nagwo gwassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Yoswa bwe yadda mu bigere bya Musa n’akulemberamu Abayisirayiri, Abayisirayiri ‘baamussangamu nnyo ekitiibwa ekiseera kyonna eky’obulamu bwe.’ (Yos. 4:14) N’ekyavaamu, Yakuwa yabawa emikisa n’abatwala mu nsi gye yali abasuubizza.—Yos. 21:​43, 44.

8. Yakuwa yawa atya abantu be obulagirizi mu biseera bya bakabaka ba Isirayiri? (Laba n’ekifaananyi.)

8 Nga wayiseewo emyaka mingi, Yakuwa yassaawo abalamuzi okuwa abantu be obulagirizi. Oluvannyuma mu biseera bya bakabaka, Yakuwa yassaawo bannabbi okuwa abantu be obulagirizi. Bakabaka abaali abeesigwa baakoleranga ku bulagirizi bannabbi bwe baabawanga. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi yeetoowaza n’akkiriza okuwabula nnabbi Nasani kwe yamuwa. (2 Sam. 12:​7, 13; 1 Byom. 17:​3, 4) Kabaka Yekosafaati yeesiga nnabbi Yakaziyeeri okumuwa obulagirizi era n’akubiriza abantu b’omu Yuda ‘okwesiga bannabbi ba Katonda.’ (2 Byom. 20:​14, 15, 20) Kabaka Keezeekiya bwe yali mu buzibu obw’amaanyi, yeebuuza ku nnabbi Isaaya. (Is. 37:​1-6) Bakabaka bwe baakoleranga ku bulagirizi bwa Yakuwa, Yakuwa yabawanga emikisa era yakuumanga abantu be. (2 Byom. 20:​29, 30; 32:22) Buli muntu yandibadde asobola okukiraba nti Yakuwa yali akozesa bannabbi okuwa abantu be obulagirizi. Kyokka bakabaka abasinga obungi awamu n’abantu baagaana okuwuliriza bannabbi ba Yakuwa.—Yer. 35:​12-15.

Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya (Laba akatundu 8)


ENGERI YAKUWA GYE YAWAAMU ABAKRISTAAYO AB’OMU KYASA EKYASOOKA OBULAGIRIZI

9. Baani Yakuwa be yakozesa okuwa Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka obulagirizi? (Laba n’ekifaananyi.)

9 Mu kyasa ekyasooka, Yakuwa yassaawo ekibiina Ekikristaayo. Yawa atya Abakristaayo abo obulagirizi? Yalonda Yesu okuba omutwe gw’ekibiina. (Bef. 5:23) Naye Yesu yali tawa butereevu buli muntu kinnoomu obulagirizi. Yakozesa abatume n’abakadde mu Yerusaalemi okuwa abantu be obulagirizi. (Bik. 15:​1, 2) Ate era abakadde baalondebwa okuwa ebibiina obulagirizi.—1 Bas. 5:12; Tit. 1:5.

Abatume n’abakadde mu Yerusaalemi nga bakuŋŋaanye wamu (Laba akatundu 9)


10. (a) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abasinga obungi baakolera ku bulagirizi obwabaweebwa? (Ebikolwa 15:​30, 31) (b) Lwaki abamu mu biseera eby’edda baagaana okukkiriza abo Yakuwa be yali akozesa okubawa obulagirizi? (Laba akasanduuko “ Lwaki Abamu Baagaana Okukolera ku Bulagirizi?”)

10 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bakkiriza obulagirizi obwabaweebwa? Abasinga obungi baabukkiriza. Mu butuufu, ‘baasanyuka olw’ebigambo ebizzaamu amaanyi’ ebyabagambibwanga. (Soma Ebikolwa 15:​30, 31.) Naye Yakuwa azze awa atya abantu be obulagirizi mu kiseera kyaffe?

ENGERI YAKUWA GY’ATUWAAMU OBULAGIRIZI LEERO

11. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa alina abantu b’akozesezza mu kiseera kino okuwa abantu be obulagirizi.

11 Ne leero Yakuwa akyeyongera okuwa abantu be obulagirizi. Ekyo abadde akikola okuyitira mu Kigambo kye ne mu Mwana we, omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. Waliwo obukakafu obulaga nti Yakuwa akyeyongera okukozesa abantu okumukiikirira? Yee. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bimu ku ebyo ebyaliwo oluvannyuma lw’omwaka gwa 1870. Ow’oluganda Charles Taze Russell ne banne baakiraba nti omwaka gwa 1914 gwandibadde mukulu nnyo mu kussibwawo kw’Obwakabaka bwa Katonda. (Dan. 4:​25, 26) Ekyo okusobola okukimanya, baamala kwekenneenya obunnabbi obuli mu Bayibuli. Yakuwa yali abayamba nga banoonyereza mu Bayibuli? Yee. Ebintu ebyaliwo mu 1914 byakakasa nti Obwakabaka bwa Katonda bwali butandise okufuga. Mu mwaka ogwo Ssematalo I yabalukawo, era oluvannyuma wajjawo ebirwadde eby’amaanyi, musisi, n’enjala. (Luk. 21:​10, 11) Mazima ddala Yakuwa yali akozesa abaweereza be abo okuyamba abantu be.

12-13. Nteekateeka ki ezaakolebwa mu kiseera kya Ssematalo II okusobola okugaziya omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza?

12 Ate era lowooza ku ekyo ekyaliwo mu kiseera kya Ssematalo II. Oluvannyuma lw’okwekenneenya Okubikkulirwa 17:​8, ab’oluganda abaali batwala obukulembeze ku kitebe kyaffe ekikulu baakiraba nti olutalo olwo lwali terugenda kutuuka ku Amagedoni, wabula nti lwali lugenda kukoma era oluvannyuma waddewo ekiseera eky’emirembe emisaamusaamu ekyandisobozesezza abantu ba Katonda okweyongera okubuulira mu bitundu by’ensi ebitali bimu. Bwe kityo, wadde nga kyalabika ng’ekitaali kya magezi, ekibiina kya Yakuwa kyatandikawo Essomero lya Gireyaadi okutendeka abaminsani okubuulira n’okuyigiriza abantu mu nsi yonna. Ne mu kiseera ng’olutalo lukyagenda mu maaso, abaminsani baasindikibwa mu nsi ezitali zimu. Ate era omuddu omwesigwa yatandikawo essomero eryali liyitibwa Okutendekebwa mu Mulimu gwa Katonda, b okusobola okutendeka ababuulizi mu bibiina okubuulira n’okuyigiriza obulungi. Mu ngeri eyo, abantu ba Katonda baali bateekebwateekebwa okukola omulimu omunene ogwali gubalindiridde.

13 Bwe tulowooza ku ebyo ebyaliwo, kyeyoleka lwatu nti Yakuwa yali awa abantu be obulagirizi mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo. Okuva mu kiseera kya Ssematalo II, abantu ba Yakuwa mu nsi nnyingi bafunye emirembe emisaamusaamu era n’eddembe nga bakola omulimu gw’okubuulira. Mu butuufu, abantu bangi bayize ebikwata ku Yakuwa era omulimu gw’okubuulira gukolebwa mu nsi yonna.

14. Lwaki tusaanidde okwesiga obulagirizi obutuweebwa Akakiiko Akafuzi n’abakadde? (Okubikkulirwa 2:1) (Laba n’ekifaananyi.)

14 Leero ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi bakyeyongera okunoonya obulagirizi okuva eri Kristo. Baagala obulagirizi bwe bawa ab’oluganda bube nga bwoleka endowooza ya Yakuwa. Bakozesa abalabirizi abakyalira ebibiina n’abakadde okutuusa obulagirizi obwo ku b’oluganda mu bibiina. c Abakadde abaafukibwako amafuta bali mu “mukono [gwa Kristo] ogwa ddyo.” (Soma Okubikkulirwa 2:1.) Kya lwatu nti abakadde abo tebatuukiridde era bakola ensobi. Musa, Yoswa, awamu n’abatume nabo baakolanga ensobi. (Kubal. 20:12; Yos. 9:​14, 15; Bar. 3:23) Wadde kiri kityo, Kristo awa omuddu omwesigwa awamu n’abakadde obulagirizi, era ajja kweyongera okububawa “ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:20) N’olwekyo, tusaanidde okwesiga obulagirizi bw’awa okuyitira mu abo abatwala obukulembe mu kibiina.

Akakiiko Akafuzi leero (Laba akatundu 14)


TUGANYULWA NNYO BWE TWEYONGERA OKUKOLERA KU BULAGIRIZI BWA YAKUWA

15-16. Kiki ky’oyigidde ku abo abaakolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa?

15 Bwe tweyongera okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa, tufuna emikisa mingi ne mu kiseera kino. Ng’ekyokulabirako, Andy ne Robyn baakolera ku bulagirizi omuddu omwesigwa bw’atuwa ne beewala okwetuumako ebintu ebingi. N’ekyavaamu, baasobola okugenda okuyambako mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe by’ekibiina. Robyn agamba nti: “Tuzze tubeera mu nnyumba entono ennyo, era emirundi mingi nga teziriiko na ffumbiro. Njagala nnyo okukuba ebifaananyi, naye nnalina okutunda bingi ku bintu bye nnakozesanga mu kukuba ebifaananyi. Kyannuma okubitunda era nnakaaba. Naye okufaananako Saala, mukyala wa Ibulayimu, nnali mumalirivu okussa ebirowoozo byange ku bintu eby’omu maaso so si ku by’emabega.” (Beb. 11:15) Andy ne Robyn baaganyulwa batya mu kwefiiriza okwo? Robyn agamba nti: “Tulina essanyu lingi nnyo olw’okukimanya nti tuwa Yakuwa buli kimu kye tulina. Nze n’omwami wange buli lwe tukola omulimu gwonna oguba gutuweereddwa ekibiina kya Yakuwa, kituyamba okulaba obulamu bwe buliba mu nsi empya.” Andy akkiriziganya naye, era agamba nti: “Tulina essanyu lingi nnyo olw’okukozesa obulamu bwaffe mu bujjuvu okuwagira omulimu gw’Obwakabaka.”

16 Mu ngeri ki endala gye tuganyulwa bwe tweyongera okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa? Lowooza ku Marcia. Oluvannyuma lw’okumala emisomo gya siniya, Marcia yakolera ku magezi agaamuweebwa okuweereza nga payoniya. (Mat. 6:33; Bar. 12:11) Agamba nti: “Nnayitibwa okusomera obwereere ku yunivasite okumala emyaka ena. Naye nnalina ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo bye nnali nneeteereddewo. N’olwekyo, mu kifo ky’okugenda ku yunivasite, nnasalawo okugenda mu ttendekero erimu okusomerera omulimu ogw’eby’emikono ogwandinsobozesezza okweyimirizaawo nga bwe mpeereza nga payoniya. Nkiraba nti nnasalawo bulungi nnyo. Kati Mpeereza nga payoniya owa bulijjo, era omulimu gwe nkola gunsobozesa okuweereza ku Beseri ennaku ezimu era nfunye n’enkizo endala nnyingi.”

17. Mikisa ki emirala gye tufuna bwe tweyongera okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa? (Isaaya 48:​17, 18)

17 Oluusi tufuna obulagirizi obutuyamba okwewala okuluubirira eby’obugagga oba okukola ebintu ebiyinza okutuleetera okumenya amateeka ga Yakuwa. Bwe tukolera ku bulagirizi obwo, tufuna emikisa mingi. Tuba n’omuntu ow’omunda omulungi era twewala ebizibu bingi. (1 Tim. 6:​9, 10) N’ekivaamu, tuba tusobola okusinza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, ekituleetera okufuna essanyu lingi, emirembe, n’obumativu.—Soma Isaaya 48:​17, 18.

18. Lwaki oli mumalirivu okweyongera okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa?

18 Kya lwatu nti Yakuwa ajja kweyongera okutuwa obulagirizi mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene n’okutuukira ddala mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. (Zab. 45:16) Tunaakolera ku bulagirizi obwo ne bwe tunaaba tuwulira nti tetwagala kubukolerako? Ekyo kijja kusinziira nnyo ku ngeri gye tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa kati. N’olwekyo, ka bulijjo tweyongere okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa, omuli n’obwo bw’atuwa okuyitira mu abo b’alonze okutukulemberamu. (Is. 32:​1, 2; Beb. 13:17) Tusobola okwesiga obulagirizi Yakuwa bw’atuwa kubanga atuyamba okwewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe naye, nga tuli mu kkubo erigenda mu nsi empya gye tujja okufunira obulamu obutaggwaawo.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Yakuwa yawa atya eggwanga lya Isirayiri obulagirizi?

  • Yakuwa yawa atya Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka obulagirizi?

  • Tuganyulwa tutya bwe tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa leero?

OLUYIMBA 48 Okutambula ne Yakuwa Buli Lunaku

a Yakuwa era yassaawo malayika ‘eyakulemberamu Abayisirayiri’ nga bagenda mu nsi ensuubize. Kirabika malayika oyo yali Mikayiri, ng’ono ye Yesu nga tannajja wano ku nsi.—Kuv. 14:19; 32:34.

b Oluvannyuma essomero eryo lyatandika okuyitibwa Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Leero okumu ku kutendekebwa okwali mu ssomero eryo tukufuna mu nkuŋŋaana ezibaawo wakati mu wiiki.

c Laba akasanduuko “Obuvunaanyizibwa bw’Akakiiko Akafuzi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 2021, lup. 18.