Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 5

OLUYIMBA 27 Okubikkulibwa kw’Abaana ba Katonda

“Sirikwabulira”!

“Sirikwabulira”!

“[Katonda] yagamba nti: ‘Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.’”BEB. 13:5b.

EKIGENDERERWA

Okuyamba abaweereza ba Katonda abali ku nsi okuba abakakafu nti tebajja kwabulirwa ng’abaafukibwako amafuta bonna abakyasigaddewo batwaliddwa mu ggulu.

1. Ddi abaafukibwako amafuta bonna lwe bajja okuba nga bali mu ggulu?

 MU MYAKA egyayita, abantu ba Yakuwa baali beebuuza nti, ‘Ddi abaafukibwako amafuta abasembayo lwe bajja okutwalibwa mu ggulu?’ Waliwo ekiseera lwe twali tulowooza nti oboolyawo abamu ku baafukibwako amafuta bajja kubeera ku nsi okumala ekiseera oluvannyuma lw’olutalo Amagedoni. Naye mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2013, twakitegeera nti abaafukibwako amafuta bonna abakyali ku nsi bajja kuzuukizibwa batwalibwe mu ggulu ng’olutalo Amagedoni terunnaba kutandika.—Mat. 24:31.

2. Kibuuzo ki ekiyinza okujjawo, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Naye abamu ku ffe tuyinza okwebuuza nti: Kiki ekinaatuuka ku bagoberezi ba Kristo ‘ab’endiga endala’ abanaaba baweereza Yakuwa n’obwesigwa wano ku nsi mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene’? (Yok. 10:16; Mat. 24:21) Abamu bayinza okutya nti tewajja kubaawo muntu abayamba oba abawa obulagirizi oluvannyuma lw’abaafukibwako amafuta okutwalibwa mu ggulu. Tugenda kulabayo ebyokulabirako bya mirundi ebiri mu Bayibuli ebiyinza okuba nga bibaleetera okulowooza bwe batyo. Oluvannyuma tugenda kwetegereza ensonga lwaki tetusaanidde kutya nti tetujja kuba na buyambi bwonna.

KIKI EKITAJJA KUBAAWO?

3-4. Kiki ekiyinza okweraliikiriza abamu, era lwaki?

3 Abamu bayinza okwebuuza obanga ab’endiga endala bajja kulekera awo okuweereza Yakuwa ab’oluganda abaafukibwako amafuta abali ku Kakiiko Akafuzi bwe banaaba nga tebakyaliwo kubawa bulagirizi. Oboolyawo abamu balowooza bwe batyo olw’ebimu ku ebyo bye basoma mu Bayibuli. Ka tulabeyo ebyokulabirako bibiri. Ekimu kikwata ku Yekoyaada eyali aweereza nga kabona asinga obukulu. Yekoyaada yali mwesigwa nnyo eri Yakuwa. Ye ne mukyala we Yekosabeyaasi, baakuuma Yekowaasi ng’akyali muto era ne bamuyamba okufuuka kabaka omulungi era omwesigwa. Ekiseera kyonna Yekoyaada kye yamala nga mulamu, Yekowaasi yaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Naye Yekoyaada bwe yafa, Yekowaasi yatandika okukola ebintu ebibi. Yawuliriza abaami ba Yuda ababi era n’ava ku Yakuwa.—2 Byom. 24:​2, 15-19.

4 Ekyokulabirako eky’okubiri kikwata ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa eky’okubiri E.E. Yokaana, omutume eyasembayo okufa, bwe yali ng’akyali mulamu yayamba Abakristaayo bangi okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. (3 Yok. 4) Okufaananako abatume ba Yesu abalala abeesigwa, Yokaana yali afubye nnyo okukuuma ekibiina kireme okwonoonebwa enjigiriza za bakyewaggula ezaali zisaasaanye. (1 Yok. 2:18) Kyokka Yokaana bwe yamala okufa, enjigiriza za bakyewaggula zaasaasaana ng’oluyiira. Mu myaka mitono, ekibiina Ekikristaayo kyayonooneka.

5. Tuli bakakafu ku ki?

5 Ebyokulabirako ebyo biraga nti ekintu kye kimu kye kijja okubaawo ku bagoberezi ba Kristo ab’endiga endala, abaafukibwako amafuta bonna bwe banaaba bamaze okutwalibwa mu ggulu? Mu kiseera ekyo Abakristaayo abeesigwa abanaaba ku nsi bajja kutandika okukola ebintu ebibi okufaananako Yekowaasi, oba bajja kufuuka bakyewaggula okufaananako Abakristaayo bangi abaaliwo mu kyasa eky’okubiri E.E? Nedda! Tuli bakakafu nti abaafukibwako amafuta bonna bwe banaamala okutwalibwa mu ggulu, ab’endiga endala bajja kusigala nga balabirirwa bulungi era bajja kweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Lwaki tugamba bwe tutyo?

OKUSINZA OKULONGOOFU TEKUJJA KWONOONEBWA

6. Biseera ki eby’emirundi esatu bye tugenda okwekenneenya?

6 Lwaki tuli bakakafu nti okusinza okulongoofu tekujja kwonoonebwa, ne mu kiseera ekizibu ennyo ekigenda okubaawo? Tuli bakakafu olw’ebyo bye tuyize mu Bayibuli ebikwata ku kiseera kye tulimu. Ekiseera kye tulimu kyawukana nnyo ku ky’Abayisirayiri ab’edda ne ku ky’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa eky’okubiri E.E. Kati ka twetegereze ebikwata ku biseera bino eby’emirundi esatu: (1) Ekiseera ky’Abayisirayiri ab’edda, (2) ekiseera ekyaddirira ng’abatume bamaze okufa, (3)  n’ekiseera kyaffe, ‘ekiseera eky’okuzza obuggya ebintu byonna.’—Bik. 3:21.

7. Mu Isirayiri ey’edda, lwaki abantu ba Yakuwa abeesigwa tebaggwaamu maanyi Abayisirayiri bangi ne bakabaka baabwe bwe baava ku Yakuwa?

7 Ekiseera ky’Abayisirayiri ab’edda. Musa bwe yali abuzaayo ekiseera kitono afe yagamba Abayisirayiri nti: “Mmanyi bulungi nti bwe nnaamala okufa mujja kweyisiza ddala bubi, era mujja kuva mu kkubo lye nnabalagira okutambuliramu.” (Ma. 31:29) Musa era yalabula Abayisirayiri nti bwe bandivudde ku Yakuwa banditwaliddwa mu buwaŋŋanguse. (Ma. 28:​35, 36) Ebigambo ebyo byatuukirira? Yee. Mu byasa ebyaddirira, bakabaka ba Isirayiri bangi baakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa era ne bawabya abantu be. Ekyo kyaviirako Yakuwa okubonereza Abayisirayiri era n’okuggyawo bakabaka abaali babafuga. (Ezk. 21:​25-27) Naye Abayisirayiri abaali abeesigwa bwe baalaba nti ekyo Katonda kye yali agambye kyali kituukiridde, kyabazzaamu amaanyi ne beeyongera okumuweereza n’obwesigwa.—Is. 55:​10, 11.

8. Kyanditwewuunyisizza okuba nti ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa eky’okubiri kyayonooneka? Nnyonnyola.

8 Ekiseera ekyaddawo oluvannyuma lw’okufa kw’abatume. Kyanditwewuunyisizza okuba nti ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa eky’okubiri kyayonooneka? Nedda. Yesu yali yakiraga nti enjigiriza za bakyewaggula zandisensedde ekibiina Ekikristaayo. (Mat. 7:​21-23; 13:​24-30, 36-43) Abatume Pawulo, Peetero, ne Yokaana bonna baakiraga nti obunnabbi bwa Yesu obwo bwali bwatandika dda okutuukirira mu kyasa ekyasooka E.E. (2 Bas. 2:​3, 7; 2 Peet. 2:1; 1 Yok. 2:18) Mu kyasa eky’okubiri E.E., ekibiina Ekikristaayo kyali kimaze okwonooneka. Obukristaayo obw’obulimba bwatandikawo era ne bufuuka kitundu kikulu ekya Babulooni Ekinene, kwe kugamba amadiini gonna ag’obulimba. Na wano tukiraba nti obunnabbi bwatuukirira.

9. Ekiseera kyaffe kyawukana kitya ku ky’Abayisirayiri ab’edda ne ku ky’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa eky’okubiri?

9 ‘Ekiseera eky’okuzza obuggya ebintu byonna.’ Ekiseera kyaffe kyawukana ku ky’Abayisirayiri ab’edda ne ku ekyo obwakyewaggula lwe bwasensera ekibiina Ekikristaayo mu kyasa eky’okubiri E.E. Ekiseera kyaffe kiyitibwa kitya? Mu kusooka tuyinza okukiyita ‘ennaku ez’enkomerero’ ez’enteekateeka y’ebintu eno embi. (2 Tim. 3:1) Naye Bayibuli eraga nti ekiseera ekirala ekikulu era ekiwanvu kyandibaddewo mu kiseera kino kye kimu. Ekiseera ekyo kijja kugenda mu maaso okutuusa Obwakabaka bwa Masiya lwe bujja okufuula abantu abatuukiridde era n’ensi okuba olusuku lwa Katonda. Ekiseera kino kiyitibwa ‘ekiseera eky’okuzza obuggya ebintu byonna.’ (Bik. 3:21) Kyatandika mu 1914. Biki ebyazzibwa obuggya? Yesu yatandika okufuga mu ggulu nga Kabaka. Bwe kityo Yakuwa yaddamu okuba n’omufuzi amukiikirira, omusika wa Kabaka Dawudi. Naye, obwakabaka obwo si kye kintu kyokka Yakuwa kye yazzaawo. Nga waakayita ekiseera kitono nga buzziddwawo, okusinza okulongoofu nakwo kwatandika okuzzibwawo! (Is. 2:​2-4; Ezk. 11:​17-20) Okusinza okwo kunaddamu okwonoonebwa?

10. (a) Biki Bayibuli bye yalagula ebikwata ku kusinza okulongoofu mu kiseera kyaffe? (Isaaya 54:17) (b) Lwaki obunnabbi obwo butuzzaamu amaanyi?

10 Soma Isaaya 54:17. Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yatusuubiza mu bunnabbi obwo. Yagamba nti: “Tewali kya kulwanyisa ekiriweesebwa okukulwanyisa ekiriba n’omukisa”! Ebigambo ebyo bituukirira leero. N’ebigambo bino ebizzaamu amaanyi nabyo bituukirira mu kiseera kyaffe: “Abaana bo bonna baliyigirizibwa Yakuwa, era emirembe gy’abaana bo giriba mingi. Olinywezebwa mu butuukirivu. . . . Tolitya kintu kyonna era tewaliba kikutiisa, kubanga tekirikusemberera.” (Is. 54:​13, 14) Ne Sitaani “katonda w’ensi eno,” tasobola kulemesa mulimu ogw’okuyigiriza abantu ba Katonda gwe bakola. (2 Kol. 4:4) Okusinza okulongoofu kwazzibwawo era tekuliddamu kwonoonebwa. Kwa kubeerawo emirembe n’emirembe. Tewali kya kulwanyisa kyonna ekitulwanyisa ekisobola okutuwangula!

KIKI EKIJJA OKUBAAWO?

11. Lwaki tuli bakakafu nti ab’ekibiina ekinene tebajja kwabulirwa oluvannyuma lw’abafuukibwako amafuta bonna okutwalibwa mu ggulu?

11 Kiki ekinaabaawo ng’abaafukibwako amafuta bonna bamaze okutwalibwa mu ggulu? Tusaanidde okukijjukira nti Yesu ye musumba waffe. Ye mutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. Yesu yatugamba nti: “Omukulembeze wammwe ali omu, Kristo.” (Mat. 23:10) Kabaka waffe afuga ng’asinziira mu ggulu taliremwa kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe. Olw’okuba Kristo y’awa abagoberezi be obulagirizi wano ku nsi, tetusaanidde kweraliikirira kintu kyonna. Tetumanyi byonna ebikwata ku ngeri Kristo gy’ajja okukulemberamu abantu be ng’abaafukibwako amafuta bonna bamaze okutwalibwa mu ggulu. Ka tulabeyo ebimu ku byokulabirako mu Bayibuli ebituyamba obuteeraliikirira.

12. Yakuwa yalabirira atya abantu be (a) oluvannyuma lwa Musa okufa? (b) oluvannyuma lwa Eriya okutwalibwa mu kitundu ekirala? (Laba n’ekifaananyi.)

12 Abayisirayiri bwe baali tebannayingira nsi nsuubize, Musa yafa. Kiki ekyatuuka ku bantu ba Katonda abo? Yakuwa yalekera awo okubayamba oluvannyuma lw’omuweereza we omwesigwa okufa? Nedda. Bwe baasigala nga beesigwa gyali, Yakuwa yasigala abawa obulagirizi. Musa bwe yali tannafa, Yakuwa yamugamba okukwasa Yoswa obuvunaanyizibwa obw’okukulembera abantu be. Musa yali amaze emyaka mingi ng’atendeka Yoswa. (Kuv. 33:11; Ma. 34:9) Ate era waaliwo abasajja abalala bangi abaalina obusobozi abaali batwala obukulembeze. Mu bano mwe mwali abakulu b’enkumi, ab’ebikumi, ab’ataano ataano, n’ab’ekkumi kkumi. (Ma. 1:15) Abantu ba Katonda baali balabirirwa bulungi. Ekyokulabirako ekirala kikwata ku Eriya. Yali amaze emyaka mingi ng’akulemberamu Abayisirayiri mu kusinza okulongoofu. Naye ekiseera kyatuuka Yakuwa n’amutwala okuweereza mu kitundu ekirala, mu Yuda. (2 Bassek. 2:1; 2 Byom. 21:12) Abantu abaali abeesigwa mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi baayabulirwa? Nedda. Eriya yali amaze emyaka mingi ng’atendeka Erisa. Waaliwo ‘n’abaana ba bannabbi,’ kirabika nabo abaali batendekeddwa. (2 Bassek. 2:7) N’olwekyo, waaliwo abasajja abeesigwa bangi abaali basobola okukulemberamu abantu ba Katonda. Yakuwa yeeyongera okutuukiriza ekigendererwa kye era yalabirira abaweereza be abeesigwa.

Ebifaananyi: 1. Musa akwasa Yoswa obuvunaanyizibwa mu maaso g’Abayisirayiri. 2. Erisa atunuulira Eriya ng’agenda kukuba ekyambalo ku Mugga Yoludaani. Bannabbi abalala nabo bayimiridde awo kumpi nga babatunuulira.

Musa (ekifaananyi ekiri ku kkono) ne Eriya (ekifaananyi ekiri ku ddyo) baatendeka abo abaabaddira mu bigere (Laba akatundu 12)


13. Bye tusoma mu Abebbulaniya 13:5b bitukakasa ki? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Okusinziira ku byokulabirako ebyo, olowooza kiki ekinaabaawo ng’abaafukibwako amafuta bonna bamaze okutwalibwa mu ggulu? Tekitwetaagisa kuteebereza. Bayibuli ekyoleka bulungi nti: Yakuwa talyabulira bantu be abali ku nsi. (Soma Abebbulaniya 13:5b.) Okufaananako Musa ne Eriya, Abakristaayo abatonotono abaafukibwako amafuta abatwala obukulembeze leero, bakimanyi nti kikulu nnyo okutendeka abalala. Okumala emyaka mingi ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi babadde batendeka abasajja mu b’endiga endala okutwala obukulembeze. Ng’ekyokulabirako, bassizzaawo amasomero mangi okutendeka abakadde, abalabirizi abakyalira ebibiina, ab’oluganda abali ku Bukiiko bw’Amatabi, abalabirizi ku Beseri, awamu n’abalala bangi. Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi babadde batendeka butereevu ab’oluganda abakola ng’abayambi ku bukiiko obw’enjawulo obw’Akakiiko Akafuzi. Ab’oluganda bano abakola ng’abayambi mu kiseera kino balina obuvunaanyizibwa bungi bwe batuukiriza. Beetegefu okweyongera okutwala mu maaso omulimu gw’okulabirira endiga za Kristo.

Ebifaananyi: 1. Ow’Oluganda ali ku Kakiiko Akafuzi ng’ayigiriza ab’oluganda ne bannyinaffe abali mu ssomero. 2. Ab’oluganda ne bannyinaffe abali mu ssomero nga baliko bye bawandiika. 3. Omusomesa n’omuyizi nga bakubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri mu Abebbulaniya essuula 8 ne 9 mu maaso g’abayizi. Emabega waabwe eriyo ekifaananyi kya weema entukuvu ate mu maaso gaabwe waliwo weema eyakolebwa.

Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi bafubye nnyo okutendeka abayambi baabwe n’okussaawo amasomero agatendeka abakadde, abalabirizi abakyalira ebibiina, ab’oluganda abali ku Bukiiko bw’Amatabi, abalabirizi ku Beseri, n’abaminsani mu nsi yonna (Laba akatundu 13)


14. Kintu ki ekikulu kye tusaanide okujjukira?

14 Ekintu ekikulu kye tusaanidde okujjukira kye kino: Abaafukibwako amafuta abanaaba bakyasigaddewo bwe banaatwalibwa mu ggulu ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okukoma, okusinza okulongoofu kujja kweyongera okubeerawo wano ku nsi. Olw’okuba Yesu Kristo ye mukulembeze w’ekibiina Ekikristaayo, tujja kweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa wano ku nsi. Kyo kituufu nti mu kiseera ekyo tujja kulumbibwa Googi ow’e Magoogi, kwe kugamba amawanga agajja okwegatta awamu okutulumba. (Ezk. 38:​18-20) Naye obulumbaganyi obwo tebujja kutulemesa kweyongera kuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Yakuwa ajja kutununula! Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba ‘ab’ekibiina ekinene,’ nga be bagoberezi ba Kristo ab’endiga endala. Yagambibwa nti abo “be baayita mu kibonyoobonyo ekinene.” (Kub. 7:​9, 14) Ekyo kiraga nti Yakuwa ajja kununula abantu be!

15-16. Okusinziira ku Okubikkulirwa 17:​14, kiki Abakristaayo abaafukibwako amafuta kye bajja okukola mu lutalo Amagedoni, era lwaki ekyo kizzaamu amaanyi?

15 Naye abamu bayinza okwebuuza nti: ‘Kiki abaafukibwako amafuta kye bajja okukola nga bonna bamaze okugenda mu ggulu?’ Ekibuuzo ekyo Bayibuli ekiddamu butereevu. Egamba nti abafuzi b’ensi ‘bajja kulwana n’Omwana gw’Endiga.’ Kya lwatu nti tebajja kuwangula. Bayibuli egamba nti: “Omwana gw’Endiga alibawangula.” Baani abajja okuba nga balwanira wamu naye? Olunyiriri olwo era lugamba nti: Beebo “abaayitibwa, abaalondebwa, era abeesigwa.” (Soma Okubikkulirwa 17:14.) Be baani abo? Be Bakristaayo abaafukibwako amafuta abanaaba bazuukiziddwa! N’olwekyo, abaafukibwako amafuta abanaasembayo bwe banaamala okutwalibwa mu ggulu ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okukoma, ogumu ku mulimu gwe banaasooka okukola gwa kulwana. Obwo nga buvunaanyizibwa bwa maanyi! Abamu ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta baali balwanyi nga tebannafuuka Bajulirwa ba Yakuwa. Abamu baaweerezaako ne mu magye. Naye bwe baafuuka Abakristaayo ab’amazima baayiga okuba abantu ab’emirembe. (Bag. 5:22; 2 Bas. 3:16) Baalekera awo okuwagira entalo mu ngeri yonna. Kyokka bwe banaaba bali mu ggulu bajja kukolera wamu ne Kristo ne bamalayika abatukuvu nga balwanyisa abalabe ba Katonda mu lutalo olusembayo.

16 Kirowoozeeko! Abamu ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta bakaddiye era banafu mu mubiri. Naye bwe banaazuukibwa ne bagenda mu ggulu, bajja kuba bitonde eby’omwoyo eby’amaanyi ebitasobola kufa. Bajja kulwanira wamu ne Yesu Kristo. Oluvannyuma lw’okulwana olutalo Amagedoni, bajja kwenyigira mu kuyamba abantu ku nsi okufuuka abatuukiridde. Kya lwatu nga bali mu ggulu, bajja kukolera bakkiriza bannaabwe abali ku nsi ebintu ebirungi bingi nnyo n’okusinga ebyo bye baabakolera nga bakyali abantu abatatuukiridde ku nsi!

17. Tumanya tutya nti abaweereza ba Katonda bonna bajja kukuumibwa mu kiseera ky’olutalo Amagedoni?

17 Oli omu ku b’endiga endala? Bwe kiba kityo, kiki ky’onookola ng’olutalo Amagedoni lutandise? Ekintu kyokka ky’ojja okwetaaga okukola kwe kwesiga Yakuwa n’okugoberera obulagirizi bwe. Ekyo kiyinza kuzingiramu ki? Bayibuli egamba nti: “Muyingire mu bisenge byammwe eby’omunda, era muggalewo enzigi. Mwekweke okumala akaseera katono okutuusa obusungu lwe bunaggwaawo.” (Is. 26:20) Abaweereza ba Katonda bonna bajja kukuumibwa mu kiseera ekyo. Okufaananako omutume Pawulo, tuli bakakafu nti tewali kintu kyonna ka bube “bufuzi, oba ebintu ebiriwo kati, oba ebigenda okujja . . . kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda.” (Bar. 8:​38, 39) Bulijjo kijjukirenga nti Yakuwa akwagala era nti talikwabulira!

ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BONNA BWE BANAAMALA OKUTWALIBWA MU GGULU,

  • kiki ekitajja kubaawo?

  • lwaki tuli bakakafu nti okusinza okulongoofu tekujja kwonoonebwa?

  • lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kulabirira abantu be?

OLUYIMBA 8 Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe