Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 17

Bamaama Bye Bayinza Okuyigira ku Ewuniike

Bamaama Bye Bayinza Okuyigira ku Ewuniike

“Tovanga ku ebyo nnyoko by’akuyigiriza. Biringa omuge ogulabika obulungi ku mutwe gwo era biringa omukuufu omulungi mu bulago bwo.”​—NGE. 1:8, 9.

OLUYIMBA 137 Abakyala Abeesigwa, Bannyinaffe Abakristaayo

OMULAMWA *

Ewuniike maama wa Timoseewo ne jjajjaawe Looyi, nga basanyufu nga Timoseewo abatizibwa (Laba akatundu 1)

1-2. (a) Ewuniike yali ani, era kusoomooza ki kwe yayolekagana nakwo ng’omuzadde? (b) Yogera ku kifaananyi ekiri ku ddiba.

 WADDE nga Bayibuli tetubuulira bikwata ku kubatizibwa kwa Timoseewo, maama we Ewuniike ateekwa okuba nga yawulira essanyu lingi ku lunaku lwe yabatizibwa. (Nge. 23:25) Kuba akafaananyi ku ngeri gye yali awuliramu ng’alaba Timoseewo ayimiridde mu mazzi agaali gamukoma mu kiwato. Ataddeko akamwenyumwenyu, nga ne Looyi jjajja wa Timoseewo amuli awo ku lusegere. Timoseewo annyikibwa mu mazzi era n’aggibwamu. Olw’essanyu eringi, Ewuniike akulukusa amaziga. Tayinza kukikkiriza nti asobodde okwaŋŋanga okusoomooza kwonna kw’ayiseemu ng’ayigiriza mutabani we okwagala Yakuwa n’Omwana we Yesu Kristo. Kusoomooza ki kwe yayolekagana nakwo ng’ayigiriza mutabani we ebikwata ku Yakuwa?

2 Bazadde ba Timoseewo tebaali mu nzikiriza y’emu. Taata we yali Muyonaani, ate maama we ne jjajjaawe baali Bayudaaya. (Bik. 16:1) Kirabika Timoseewo yali mu myaka gye egy’obutiini maama we Ewuniike ne jjajjaawe Looyi we baafuukira Abakristaayo, naye taata we teyafuuka Mukristaayo. Kiki Timoseewo kye yandikoze? Kirabika yali mukulu ekimala okusobola okwesalirawo. Yandisazeewo okubeera ku ludda lwa taata we ataali mukkiriza? Yandisigadde ng’agoberera enzikiriza z’eddiini y’Ekiyudaaya ze yali ayigiriziddwa okuva mu buto? Oba yandikkiriza okufuuka omugoberezi wa Yesu Kristo?

3. Okusinziira ku Engero 1:8, 9, Yakuwa atwala atya okufuba bamaama kwe bateekamu okuyigiriza abaana baabwe amazima?

3 Okufaananako Ewuniike, bamaama Abakristaayo baagala nnyo ab’omu maka gaabwe. Okusingira ddala baagala nnyo okuyamba abaana baabwe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Yakuwa asiima nnyo okufuba kwabwe. (Soma Engero 1:8, 9.) Yakuwa ayambye bamaama bangi okuyigiriza abaana baabwe amazima.

4. Kusoomooza ki bamaama kwe boolekagana nakwo?

4 Bamaama bangi oluusi beebuuza obanga abaana baabwe banaasalawo okuweereza Yakuwa nga Timoseewo bwe yakola. Ekyo kiri kityo kubanga abazadde bangi bakimanyi nti abaana basanga okusoomooza kungi mu nsi ya Sitaani, okuyinza okubalemesa okuweereza Yakuwa. (1 Peet. 5:8) Okugatta ku ekyo, bamaama bangi abali obwannamunigina oba abalina abaami baabwe nga si baweereza ba Yakuwa, bafuna okusoomooza okw’amaanyi okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Christine * agamba nti: “Omwami wange yali taata mulungi era ng’ayagala nnyo ab’omu maka ge, naye yali tayagalira ddala njigirize abaana baffe ebikwata ku Yakuwa. Nnakulukusanga amaziga nga nneebuuza obanga ddala abaana bange balifuuka abaweereza ba Yakuwa.”

5. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

5 Bw’oba ng’oli maama Omukristaayo, osobola okuyamba abaana bo okwagala Yakuwa n’okumuweereza, nga Ewuniike bwe yakola. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gy’oyinza okukoppamu ekyokulabirako kye ng’oyigiriza abaana bo okuyitira mu ebyo by’oyogera ne by’okola. Ate era tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’ayinza okukuyambamu.

YIGIRIZA ABAANA BO OKUYITIRA MU BY’OYOGERA

6. Nga bwe kiragibwa mu 2 Timoseewo 3:14, 15, Timoseewo yafuuka atya Omukristaayo?

6 Timoseewo bwe yali akyali muto, maama we yafuba okumuyigiriza “ebyawandiikibwa ebitukuvu,” ng’Abayudaaya bwe baali babitegeera. Kyo kituufu nti mu kiseera ekyo Ewuniike bye yali amanyi byali bitono, kubanga yali talina ky’amanyi ku Yesu Kristo. Wadde kyali kityo, Timoseewo bye yayiga okuviira ddala ng’akyali muto byandimuyambye okufuuka Omukristaayo. Naye bwe yakula, yalina okwesalirawo obanga yandifuuse Omukristaayo. Awatali kubuusabuusa, ekimu ku ebyo ebyayamba Timoseewo ‘okukkiriza’ amazima agakwata ku Yesu by’ebyo maama we bye yamuyigiriza. (Soma 2 Timoseewo 3:14, 15.) Nga Ewuniike ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okuba nti yayamba omwana we okuyiga ebikwata ku Yakuwa! Mu butuufu, Ewuniike yatuukana n’amakulu g’erinnya lye eriva mu kigambo ekitegeeza, “okutuuka ku buwanguzi.”

7. Ewuniike yali ayinza atya okweyongera okuyamba omwana we okukulaakulana mu by’omwoyo oluvannyuma lw’okubatizibwa?

7 Okubatizibwa kyali kintu kikulu nnyo Timoseewo kye yali atuuseeko, naye Ewuniike ateekwa okuba nga yali akyalina ebimweraliikiriza wadde nga mutabani we yali amaze okubatizibwa. Mutabani we yandikozesezza atya obulamu bwe? Yandisobodde okwewala emikwano emibi? Yandisazeewo okugenda okusomera mu Asene, n’ayiga enjigiriza z’abafirosoofo abakaafiiri? Yandyonoonye amaanyi ge n’ekiseera kye eky’obuvubuka ng’aluubirira eby’obugagga? Ewuniike yali tasobola kusalirawo Timoseewo, naye yali asobola okumuyamba. Mu ngeri ki? Yali asobola okweyongera okuyamba mutabani we okwagala Yakuwa ne Yesu. Abo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza si be bokka aboolekagana n’okusoomooza. Ne bwe kiba nti abazadde bombi bali mu mazima, kiyinza obutababeerera kyangu kutuuka ku mitima gy’abaana baabwe okusobola okubayamba okufuuka abaweereza ba Yakuwa abeesigwa. Biki abazadde bye bayinza okuyigira ku Ewuniike?

8. Mwannyinaffe ayinza atya okuyamba omwami we ali mu mazima okukola ku byetaago by’abaana baabwe eby’eby’omwoyo?

8 Yigiriza abaana bo Bayibuli. Bannyinaffe, abaami bammwe bwe baba nga bali mu mazima, Yakuwa ayagala mubayambeko okulabirira abaana bammwe mu by’omwoyo. Engeri emu gye muyinza okukikolamu kwe kulaba nti muwagira enteekateeka y’okusinza kw’amaka. Yogera bulungi ku nteekateeka eyo era olowooze ku by’oyinza okukola okulaba nti ab’omu maka bonna banyumirwa okusinza kw’amaka. Oboolyawo oyinza okuyambako omwami wo okuteekateeka bye munaakola mu kusinza kw’amaka. Bwe kiba nti abaana abamu bakulu ekimala okusobola okuganyulwa mu kuyiga ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, kolera wamu n’omwami wo okubayamba.

9. Biki ebiyinza okuyamba maama alina omwami atali muweereza wa Yakuwa?

9 Bamaama abamu be balina okuwoma omutwe mu kuyigiriza abaana baabwe Bayibuli, oboolyawo olw’okuba bali bwa nnamunigina oba abaami baabwe si baweereza ba Yakuwa. Bwe kiba nti bwe kityo bwe kiri gy’oli, tosaanidde kweraliikirira. Yakuwa ajja kukuyamba. Kozesa ebyo by’atuwadde okuyitira mu kibiina kye, okuyigiriza abaana bo. Oyinza n’okwebuuza ku bazadde abalina obumanyirivu bakuwe amagezi ku ngeri gye muyinza okukozesa ebyo by’atuwadde mu kusinza kw’amaka. * (Nge. 11:14) Ate era Yakuwa asobola okukuyamba okwogera obulungi n’abaana bo. Osobola okumusaba akuyambe okukozesa ebibuuzo ebituukirawo ebinaakuyamba okumanya ekiri mu mutima gw’omwana wo. (Nge. 20:5) Ng’ekyokulabirako, okubuuza omwana wo nti, ‘Kusoomooza ki kw’osinga okusanga ku ssomero?’ kiyinza okuviirako omwana wo okukweyabiza n’omanya engeri y’okumuyambamu.

10. Biki ebirala by’osobola okukola okuyamba abaana bo okuyiga ebikwata ku Yakuwa?

10 Kozesa buli kakisa ky’ofuna okuyigiriza abaana bo ebikwata ku Yakuwa. Yogera nabo ku bikwata ku Yakuwa ne ku bintu ebirungi by’akukoledde. (Ma. 6:6, 7; Is. 63:7) Ekyo kikulu nnyo naddala bwe kiba nga kizibu okubayigiriza Bayibuli ng’oli nabo awaka. Christine, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Emikisa gy’okwogera n’abaana bange ku bikwata ku by’omwoyo gyali mutono nnyo ne kiba nti nnakozesanga buli kakisa ke nnabanga nfunye. Twagendanga okutambulako oba twalinnyanga eryato ne tugenda emitala ne twogera ku bitonde bya Yakuwa ne ku bintu ebirala bingi eby’omwoyo. Abaana bwe baagenda bakula, nnabakubirizanga okusoma Bayibuli ku lwabwe.” Ate era yogeranga bulungi ku kibiina kya Yakuwa ne ku bakkiriza banno. Toyogera bubi ku bakadde mu kibiina. Bw’oboogerako obulungi, kiyinza okuleetera abaana bo okwanguyirwa okugenda gye bali nga beetaaga obuyambi mu by’omwoyo.

11. Okusinziira ku Yakobo 3:18, lwaki kikulu okuleetawo emirembe awaka?

11 Leetawo emirembe mu maka. Buli lunaku kirage nti oyagala nnyo omwami wo n’abaana bo. Yogera ku mwami wo mu ngeri ennungi era eraga nti omuwa ekitiibwa, era yigiriza abaana bo okukola kye kimu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kussaawo embeera eneesobozesa abaana bo okuyiga ebikwata ku Yakuwa. (Soma Yakobo 3:18.) Lowooza ku Jozsef, aweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Romania. Bwe yali akyali muto, taata we yakifuula kizibu nnyo gye bali n’eri maama waabwe okuweereza Yakuwa. Jozsef agamba nti: “Maama waffe yafubanga nnyo okuleetawo emirembe awaka. Taata waffe gye yakoma okutuyisa obubi, maama gye yakoma okumuyisa mu ngeri ey’ekisa. Maama bwe yakirabanga nti kituzibuwalira okuwa taata waffe ekitiibwa n’okumugondera, yakubaganyanga naffe ebirowoozo ku Abeefeso 6:1-3. Oluvannyuma yayogeranga ku ngeri za taata ennungi era ne ku nsonga lwaki tusaanidde okumwagala. Ekyo kyayamba amaka okubaamu emirembe.”

YIGIRIZA ABAANA BO OKUYITIRA MU BY’OKOLA

12. Okusinziira ku 2 Timoseewo 1:5, ekyokulabirako kya Ewuniike kyakwata kitya ku Timoseewo?

12 Soma 2 Timoseewo 1:5. Ewuniike yateerawo Timoseewo ekyokulabirako ekirungi. Ateekwa okuba nga yamuyigiriza nti okukkiriza tulina okukwoleka mu bikolwa. (Yak. 2:26) Timoseewo naye ateekwa okuba nga yakiraba nti ebyo maama we bye yakolanga byali byesigamye ku kwagala okw’amaanyi kwe yalina eri Yakuwa. Awatali kubuusabuusa, Timoseewo yakiraba nti okuweereza Yakuwa kyaleeteranga maama we essanyu. Ekyokulabirako kya Ewuniike kyakwata kitya ku Timoseewo? Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, Timoseewo yalina okukkiriza okw’amaanyi ng’okwa maama we. Naye ekyo tekyajjawo kyokka. Timoseewo yalaba okukkiriza okw’amaanyi maama we kwe yalina era n’amukoppa. Mu ngeri y’emu, bamaama bangi basobodde okuyamba ab’omu maka gaabwe okuweereza Yakuwa “awatali kigambo.” (1 Peet. 3:1, 2) Naawe osobola okukola ekintu kye kimu. Mu ngeri ki?

13. Lwaki maama asaanidde okutwala enkolagana ye ne Yakuwa nga kintu kikulu nnyo?

13 Enkolagana yo ne Yakuwa gitwale nga kintu kikulu nnyo. (Ma. 6:5, 6) Okufaananako bamaama bangi, olina ebintu bingi bye weefiiriza. Weefiiriza obudde, ssente, otulo, n’ebintu ebirala, okusobola okulabirira abaana bo mu by’omubiri. Naye tosaanidde kwemalira nnyo ku bintu ebyo n’otafuna budde kunyweza nkolagana yo ne Yakuwa. Funanga ebiseera okusaba, okwesomesa, n’okwetegekera enkuŋŋaana. Bw’onookola bw’otyo, ojja kunyweza okukkiriza kwo era oteerewo ab’omu maka go n’abalala ekyokulabirako ekirungi.

14-15. Biki by’oyigidde ku kyokulabirako kya Leanne, Maria, ne João?

14 Kati ka tulabe abaana abaayiga amazima nga bakoppa ekyokulabirako kya bamaama baabwe. Muwala wa mwannyinaffe Christine ayitibwa Leanne agamba nti: “Twali tetusobola kuyiga Bayibuli nga taata waali awaka. Naye maama teyayosanga kugenda mu nkuŋŋaana. Wadde nga twali tumanyi bitono nnyo mu Bayibuli, ekyokulabirako ekirungi kye yatuteerawo kyatuyamba nnyo. Twali tumanyi nti gano ge mazima wadde nga twali tetunnatandika kugenda mu nkuŋŋaana.”

15 Maria, eyalina taata we eyabonerezanga ab’awaka olw’okugenda mu nkuŋŋaana, agamba nti: “Maama wange y’omu ku bakyala abasinga okuba abavumu be mmanyi. Bwe nnali nkyali muto, oluusi nnagaananga okukola ebintu ebimu nga ntya engeri abalala gye bandintuttemu. Naye okulaba engeri maama gye yayolekanga obuvumu era n’engeri gye yakulembezanga ebikwata ku Yakuwa mu bulamu bwe, kyannyamba okuggwaamu okutya abantu.” João, eyalina taata we eyagaana ab’omu maka okwogera ku bintu eby’omwoyo, agamba nti: “Ekyasinga okunkwatako kye ky’okuba nti maama yali asobola okwefiiriza ekintu kyonna okusobola okusanyusa taata, okuggyako ebyo ebikwata ku nkolagana ye ne Yakuwa.”

16. Ekyokulabirako bamaama kye bassaawo kiyinza kitya okukwata ku balala?

16 Bamaama, mukijjukire nti ekyokulabirako kyammwe kikwata ku balala. Mu ngeri ki? Mulowooza ku ngeri ekyokulabirako kya Ewuniike gye kyakwata ku mutume Pawulo. Yagamba nti okukkiriza okutaliimu bukuusa Timoseewo kwe yalina ‘kwasooka kubeera mu Ewuniike.’ (2 Tim. 1:5) Ddi Pawulo lwe yasooka okulaba nti Ewuniike yalina okukkiriza okw’amaanyi? Kirabika ekyo kyaliwo ku lugendo lwe olw’obuminsani olwasooka bwe yasanga Looyi ne Ewuniike e Lusitula, era nga kirabika ye yayamba abakazi abo okufuuka Abakristaayo. (Bik. 14:4-18) Kirowoozeeko. Pawulo bwe yawandiikira Timoseewo ebbaluwa, nga wayiseewo emyaka nga 15, yali akyajjukira okukkiriza okw’amaanyi Ewuniike kwe yalina era nti yateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi kye basobola okukoppa. Awatali kubuusabuusa, ekyokulabirako kye ekirungi kyakwata nnyo ku mutume Pawulo oboolyawo ne ku Bakristaayo abalala abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Bw’oba ng’oli maama ali obwannamunigina oba ng’omwami wo si muweereza wa Yakuwa, beera mukakafu nti ekyokulabirako kyo ekirungi kizzaamu nnyo abalala amaanyi era kinyweza okukkiriza kwabwe.

Okuyamba omwana okukula mu by’omwoyo kitwala ekiseera. Toggwaamu maanyi! (Laba akatundu 17)

17. Kiki ky’osaanidde okukola, omwana wo bw’aba ng’alabika ng’atasiima ebyo by’omuyigiriza?

17 Watya singa ofubye okuyigiriza omwana wo amazima, naye nga tagatwala ng’ekikulu? Kijjukire nti okuyigiriza omwana kitwala ekiseera. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, bw’osimba ensigo oyinza okwebuuza obanga erikulu n’evaamu omuti ne gubala ebibala. Wadde nga tosobola kuba mukakafu nti omuti ogwo gulibala ebibala, weeyongera okugufukirira gusobole okukula. (Mak. 4:26-29) Mu ngeri y’emu, maama ayinza okwebuuza obanga ddala by’ayigiriza omwana we bimutuuka ku mutima. Tosobola kusalirawo baana bo. Naye bwe weeyongera okukola kyonna ky’osobola okubayigiriza n’okubatendeka, osobola okubayamba okwagala Yakuwa n’okumuweereza.​—Nge. 22:6.

YAKUWA AJJA KUKUYAMBA

18. Yakuwa ayinza atya okuyamba abaana bo okukula mu by’omwoyo?

18 Okuviira ddala mu biseera eby’edda, Yakuwa azze ayamba abato okufuuka mikwano gye. (Zab. 22:9, 10) Yakuwa asobola okuyamba abaana bo okukula mu by’omwoyo, bw’alaba nti baagala okumuweereza. (1 Kol. 3:6, 7) Abaana bo ne bwe balabika ng’abataweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna, Yakuwa ajja kweyongera okubayamba. (Zab. 11:4) Ne bwe bakyolekako akatono nti ‘balina endowooza ennuŋŋamu,’ Yakuwa ajja kuba mwetegefu okubayamba. (Bik. 13:48; 2 Byom. 16:9) Asobola okukuyamba okwogera ebigambo ebituukirawo mu kiseera kyennyini abaana bo we beetaagira okubiwulira. (Nge. 15:23) Oba asobola okuleetera ow’oluganda oba mwannyinaffe mu kibiina okubafaako mu ngeri ey’enjawulo. Abaana bo ne bwe bakula, Yakuwa asobola okubayamba okujjukira ekintu kye wabayigiriza emyaka mingi emabega. (Yok. 14:26) Bwe weeyongera okuyigiriza abaana bo okuyitira mu ebyo by’oyogera ne by’okola, oba owa Yakuwa ky’anaasinziirako okukuwa emikisa.

19. Lwaki osobola okuba omukakafu nti Yakuwa asiima by’okola?

19 Okwagala Yakuwa kw’alina gy’oli tekusinziira ku ngeri abaana bo gye baba basazeewo okutambuzaamu obulamu bwabwe. Akwagala nnyo olw’okuba naawe omwagala. Bw’oba ng’oli maama ali obwannamunigina, Yakuwa asuubiza okubeera Kitaawe w’abaana bo era Omukuumi wo. (Zab. 68:5) Tosobola kusalirawo baana bo kuweereza Yakuwa. Naye bw’oneeyongera okwesiga Yakuwa era n’okola kyonna ky’osobola okubayamba, Yakuwa ajja kukuwa emikisa.

OLUYIMBA 134 Abaana Kirabo kya Muwendo Okuva eri Katonda

^ Ekitundu kino kiraga ebyo bamaama bye basobola okuyigira ku Ewuniike maama wa Timoseewo, ne basobola okuyamba abaana baabwe okumanya Yakuwa n’okumwagala.

^ Amannya agamu gakyusiddwa.

^ Ng’ekyokulabirako, laba essomo 50 mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! n’ekitundu ekirina omutwe “Ebintu Bye Tusobola Okukola mu Kusinza kw’Amaka oba nga Twesomesa,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2011, lup. 6-7.