Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Twazuula “Luulu ey’Omuwendo Omungi”

Twazuula “Luulu ey’Omuwendo Omungi”

OW’OLUGANDA Winston Payne ne mukyala we Pamela (Pam) baweerereza ku ofiisi y’ettabi eya Australasia. Balina ebintu bingi ebibaleetedde essanyu mu bulamu bwabwe naye era boolekaganye n’ebizibu ebitali bimu, omwali okumanyiira empisa n’obuwangwa eby’enjawulo nga mw’otwalidde n’eky’okuba nti pamela yavaamu olubuto. Wadde kiri kityo, okwagala kwe balina eri Yakuwa n’eri abantu be awamu n’essanyu lye bafunye mu buweereza bwabwe tebikendedde. Ka batubuulire ebimu ku ebyo ebibakwatako.

Winston, tubuulire engeri gye wanoonyamu Katonda.

Nnakulira ku faamu emu mu Queensland, Australia era bazadde bange baali tebettanira bya ddiini. Olw’okuba twali tubeera mu kyalo nnyo, kumpi abantu bokka be nnali mmanyi be b’eŋŋanda zange. Bwe nnali wa myaka nga 12, nnatandika okunoonya Katonda. Nnamusaba annyambe okumanya amazima agamukwatako. Ekiseera kyatuuka ne nva ku faamu eyo, ne nfuna omulimu mu Adelaide, mu bukiikaddyo bwa Australia. Bwe nnali wa myaka 21, nnasisinkana Pam nga ŋŋenze okulambula ekibuga Sydney, era yambuulira ebikwata ku kibiina ky’abantu abakkiriza nti Abangereza baava mu bika bya Isirayiri ebyasaasaana oluvannyuma lw’abantu b’omu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi okutwalibwa mu buwambe mu kyasa eky’omunaana E.E.T. Bwe nnaddayo mu Adelaide, nnayogerako n’omu ku bakozi bannange ku nsonga eyo. Mukozi munnange oyo yali atandise okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Mu kaseera akatono ke nnamala nga njogera naye, yambuulira bingi ebikwata ku ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bakkiriza, era nnakiraba nti essaala gye nnasaba nga nkyali muto yali etandise okuddibwamu. Nnatandika okuyiga ebikwata ku Mutonzi wange ne ku Bwakabaka bwe! Mazima ddala nnali nzudde “luulu ey’omuwendo omungi.”​—Mat. 13:45, 46.

Pam, nnaawe watandika okunoonya luulu eyo ng’okyali muto. Wagizuula otya?

Nnakulira mu kabuga k’e Coffs Harbour, mu New South Wales era bazadde bange baali bettanira nnyo eby’eddiini. Bazadde bange ne bajjajja bange baali bakkiririza mu ndowooza y’abantu abagamba nti Abangereza baasibuka mu bika bya Isirayiri ebyasaasaana. Nze, mwannyinaze omuto, muganda wange omukulu, awamu n’ab’eŋŋanda zange abalala, twakula batuyigiriza nti Abangereza Katonda abatwala nga ba waggulu ku bantu abalala. Naye ekyo saakikkiririzangamu era enjigiriza ng’ezo tezannyamba kusemberera Katonda. Bwe nnali wa myaka 14, nnakyalako mu masinzizo ag’enjawulo, nga muno mwe mwali ery’Abangirikaani, ery’Ababaputisiti, n’ery’Abadiventi. Naye Amasinzizo ago gonna tegannyamba kumanya Katonda.

Oluvannyuma twasengukira mu Sydney, gye nnasisinkanira Winston, eyali azze okulambula ekibuga ekyo. Nga bw’agambye waggulu, ebintu ebikwata ku ddiini bye twanyumyako oluvannyuma byamuviirako okutandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Okuva olwo, ebbaluwa ze yampandiikiranga nga twogerezeganya yaziteekangamu ebyawandiikibwa bingi! Mu kusooka ekyo kyanneeraliikirizaamu era kyannyiizaamu. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnatandika okukiraba nti bye yali ambuulira gaali mazima.

Mu 1962, nnagenda okubeera mu Adelaide nsobole okubeera okumpi ne Winston. Yakola enteekateeka mbe nga nsula mu maka ga Thomas ne Janice Sloman, Abajulirwa ba Yakuwa abaali baaweerezaako ng’abaminsani mu Papua New Guinea. Ow’oluganda oyo ne mukyala we banfaako nnyo. Nnalina emyaka 18 gyokka, era bannyamba nnyo mu by’omwoyo. Nange nnatandika okuyiga Bayibuli, era nnakikakasa nti nnali nzudde amazima. Nze ne Winston bwe twamala okufumbiriganwa, twatandikirawo okuweereza Yakuwa, ekintu ekituyambye okwongera okusiima luulu ey’omuwendo gye twazuula, wadde nga twolekaganye n’ebizibu ebitali bimu.

Winston, ebintu byali bitya nga waakatandika okuweereza Yakuwa.

A. Mmaapu eraga ebitundu bye twatuukamu nga tukola omulimu ogw’okukyalira ebibiina

B. Sitampu ez’ebimu ku bizinga. Kiribati ne Tuvalu edda byali biyitibwa Gilbert ne Ellice

C. Ekizinga ekirabika obulungi ennyo eky’e Funafuti e Tuvalu. Ekimu ku bizinga bye twakyalako ng’abaminsani tebannasindikibwayo

Oluvannyuma lw’okuwasa Pam, waayita ekiseera kitono Yakuwa n’atandika okutuggulirawo ‘enzigi ennene ez’obuweereza.’ (1 Kol. 16:9) Ow’oluganda Jack Porter, omulabirizi eyakyaliranga ekibiina kyaffe ye yasooka okutulaga oluggi olunene olwatuggulirwawo. (Kati nze ne Jack Porter tuweerereza wamu ku Kakiiko k’Ettabi mu Australasia.) Jack ne mukyala we Roslyn, baatukubiriza okuweereza nga bapayoniya era twamala emyaka etaano nga tuweereza nga bapayoniya. Bwe nnali wa myaka 29, nze ne Pam baatusaba okutandika okukyalira ebibiina eby’oku bizinga ebimu ebisangibwa ku Guyanja Pacific era ekitundu ekyo kyatandika okulabirirwa ofiisi y’ettabi ey’omu Fiji. Ebizinga ebyo bye bino: American Samoa, Samoa, Kiribati, Nauru, Niue, Tokelau, Tonga, Tuvalu, ne Vanuatu.

Mu biseera ebyo, abantu b’oku bizinga ebimu ebyesudde baali beekengera Abajulirwa ba Yakuwa, n’olwekyo twalina okuba abeegendereza. (Mat. 10:16) Ebibiina byalimu abantu batono era ebimu tebyasobolanga kutufunira wa kusula. Bwe kityo oluusi twasabanga abantu b’omu kitundu okutusuza, era baatulaganga ekisa.

Winston, oyagala nnyo omulimu gw’okuvvuunula. Kiki ekyakuleetera okugwagala?

Mu Samoa, Winston ng’asomesa mu ssomero ly’abakadde

Mu kiseera ekyo, ab’oluganda ku kizinga ky’e Tonga baalina butulakiti n’obutabo butono nnyo mu lulimi lwabwe. Bwe baabanga bayigiriza abantu Bayibuli baakozesanga akatabo ak’Olungereza akayitibwa The Truth That Leads to Eternal Life. N’olwekyo bwe twali mu ssomero ly’abakadde eryamala wiiki nnya, waliwo abakadde basatu ab’omu kitundu ekyo abaali bamanyiimuko ku Lungereza abeewaayo okuvvuunula akatabo ako mu Lutonga. Pam ye yakuba tayipu, era akatabo ako bwe kaamala okuvvuunulwa twakaweereza mu Amerika okukakuba mu kyapa. Omulimu ogwo gwonna gwatwala wiiki nga munaana. Wadde ng’akatabo ako tekavvuunulwa bulungi nnyo, kaayamba abantu bangi aboogera Olutonga okuyiga amazima. Nze ne Pam tetuli bavvuunuzi, naye okwenyigira mu mulimu ogwo kyatwagaza omulimu gw’okuvvuunula.

Pam, obulamu ku bizinga bwayawukana butya ku bulamu mu Australia?

Ebimu ku bifo bye twasulangamu nga tukyalira ebibiina

Bwali bwa njawulo nnyo! Ebitundu ebimu eby’oku bizinga byabangamu ensiri nnyingi nnyo, ebbugumu lingi nnyo, emmese, endwadde, ate oluusi n’eby’okulya byabanga bitono. Naye buli kawungeezi kyatusanyusanga nnyo okutuula mu kasiisira kaffe akataaliko bisenge ne tutunuulira ennyanja. Oluusi ekiro omwezi gwayakanga nnyo, ne tuba nga tusobola n’okulaba obulungi emiti gy’ebinazi era ekitangaala ky’omwezi bwe kyakubanga ku nnyanja, ennyanja yalabikanga bulungi nnyo. Ebiseera ng’ebyo byatuleeteranga okufumiitiriza n’okusaba, ne kituyamba okuggya ebirowoozo byaffe ku bintu ebyabanga bitagenze bulungi ne tubiteeka ku birungi.

Twayagala nnyo abaana era baatusanyusanga nnyo. Abaana baayagalanga nnyo okututunuulira olw’okuba twali bazungu. Bwe twali tukyalidde ekibiina ky’e Niue, akalenzi akamu keewuunya nnyo emikono gya Winston egijjudde ebyoya era kaagikwatirira nnyo nga kagamba nti gikasanyusa!

Kyatulumanga nnyo okulaba embeera embi abantu bangi ab’oku bizinga gye baalimu. Wadde nga baali babeera ku bizinga ebirabika obulungi ennyo, baali tebafuna bujjanjabi bumala era tekyabanguyiranga kufuna mazzi mayonjo ga kunywa. Naye baganda baffe ekyo tebaakifangako. Eyo ye mbeera gye baali bakuliddemu. Kyabasanyusanga nnyo okubeeranga awamu n’ab’omu maka gaabwe, okuba n’ekifo aw’okusinziza Yakuwa, n’okuba nti baalina enkizo ey’okumutendereza. Ekyokulabirako kyabwe kyatuyamba okweyongera okukulembeza ebintu ebisinga obukulu n’obuteetuumako bintu.

Oluusi Pam walinanga okwekimiranga amazzi n’okufumba emmere yammwe mu mbeera z’otomanyidde. Ekyo wakikolanga otya?

Mu Tonga, nga Pam ayoza engoye zaffe

Nneebaza nnyo taata wange. Yanjigiriza ebintu bingi eby’omugaso mu bulamu, gamba ng’okukuma omuliro n’okugufumbirako n’engeri y’okuba omutetenkanya ng’olina ebintu bitono. Lumu bwe twali tukyalidde ekibiina ekimu mu Kiribati, twasula mu kayumba akatono ke baali baaseresa essubi, wansi nga ka ttaka, era nga n’ebisenge baabizimbisa mabanda. Okusobola okufumba, nnasima ekinnya mu kayumba ako ne nteekamu ebisusunku by’ebinazi ne nkuma omuliro. Okusobola okufuna amazzi, nnagenda ku luzzi ne nsimba layini n’abakazi ab’oku kyalo. Okusobola okusena amazzi, baakozesanga akati ka ffuuti nga mukaaga akaaliko akaguwa ku nkomerero yaako era ng’akaguwa ako kasibiddwako akalobo. Amazzi baagasena mu mpalo nga buli omu akozesa akati ako okusuula akalobo mu mazzi n’akakyusa ne kajjula amazzi oluvannyuma n’akasikayo. Nnalowooza nti ekintu ekyo kyali kyangu. Naye omulundi gwange bwe gwatuuka, nnasuulamu akalobo emirundi egiwerako naye nga tekagendamu mazzi, nga kasigala busigazi kungulu! Abakazi bonna abaaliwo bansekerera naye oluvannyuma lw’okunsekerera omu ku bo yannyamba okusena amazzi. Abantu b’omu kitundu bannyambanga nnyo era baali ba kisa.

Mwembi mwayagala nnyo okuweerereza ku bizinga. Musobola okutubuulirako ebimu ku ebyo ebyabasanyusa nga muweerereza ku bizinga?

Winston: Kyatutwalira ekiseera okumanyiira obuwangwa obumu obw’abantu b’oku bizinga. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda bwe baatuwanga emmere, baatuteerangawo emmere yonna gye baabanga bafumbye. Mu kusooka, twali tetukimanyi nti twalinanga okulya ne tubalekerawo. Bwe kityo, twalyanga emmere yonna gye baabanga batuwadde ne tugimalawo! Naye oluvannyuma ekyo bwe twakimanya, twatandika okubalekerangawo. Wadde nga twakolanga ensobi bwe zityo, ab’oluganda baatutegeeranga. Baasanyukanga nnyo okuddamu okutulaba buli luvannyuma lwa myezi nga mukaaga nga tuzzeeyo okubakyalira. Ng’oggyeeko ab’oluganda abaali babeera ku bizinga byabwe, ffe ffekka Abajulirwa ba Yakuwa be baali balabyeko nga bavudde mu kitundu ekirala.

Nga tuli ku Kizinga Niue, nga Winston atwala ab’oluganda okubuulira

Okukyala kwaffe era kwawa obujulirwa ku bizinga. Abantu bangi ku bizinga baali balowooza nti ab’oluganda ku bizinga ebyo baali beetandikiddewo eddiini yaabwe. N’olwekyo nze ne Pam bwe twakyala ku bizinga ebyo, abantu ababeerako baakiraba nti kino kibiina ekitegekeddwa obulungi era nti buli omu ku ffe afaayo ku munne.

Pam: Ekimu ku bintu bye sisobola kwerabira ky’ekyo ekyaliwo mu Kiribati, awaali ekibiina ekyalimu ababuulizi abatono. Itinikai Matera ye mukadde yekka eyali mu kibiina ekyo era yakola kyonna ekisoboka okutulabirira. Lumu yajja ewaffe ng’alina ekisero nga kirimu eggi limu. Yatugamba nti “lino lyammwe.” Tekyabanga kya bulijjo omuntu okukuwa eggi mu kiseera ekyo. Akalabo ako akatono ke yatuwa kaatukwatako nnyo.

Pam, emabegako wavaamu olubuto. Kiki ekyakuyamba okugumira embeera eyo?

Nnafuna olubuto mu 1973, nze ne Winston bwe twali nga tuli ku kimu ku bizinga ebiri ku Guyanja Pacific. Twasalawo okuddayo mu Australia, naye waayitawo emyezi ena gyokka ne nvaamu olubuto. Nze ne Winston ffenna kyatuluma nnyo okufiirwa omwana waffe oyo. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, obulumi bwe nnalina ku mutima bwagenda bukendeera naye tebwaggwerawo ddala okutuusa lwe twafuna Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2009. Ekitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” kyabuuza nti: “Waliwo essuubi lyonna nti omwana eyafiira mu lubuto lwa nnyina alizuukira?” Ekitundu ekyo kyalaga nti Yakuwa y’ajja okusalawo era nti bulijjo by’akola biba bituufu. Ajja kumalawo obulumi bwonna obuleeteddwa ensi eno embi, bw’anaakozesa Omwana we ‘okuggyawo ebikolwa bya Sitaani.’ (1 Yok. 3:8) Ekitundu ekyo era kyatuyamba okwongera okusiima “luulu” ey’omuwendo ffe abantu ba Yakuwa gye tulina! Mu butuufu, amazima agali mu Kigambo kya Katonda gatubudaabuda nnyo.

Oluvannyuma lw’okufiirwa omwana waffe, twaddamu okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Twaweerezaako okumala ekiseera ku Beseri ya Australia era oluvannyuma ne tuddamu okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Oluvannyuma lw’okumala emyaka ena nga tukyalira ebibiina by’omu New South Wales ne Sydney, mu 1981 twayitibwa okuweerereza ku ofiisi y’ettabi eya Australia, nga bwe yali eyitibwa mu kiseera ekyo, era eyo gye tuweerereza n’okutuusa leero.

Winston, okuba nti wakyaliranga ebibiina eby’oku bizinga ebiri ku Guyanja Pacific, kirina kye kikuyambye ng’oweereza ku Kakiiko k’Ettabi lya Australasia?

Yee, kinnyambye mu ngeri nnyingi. Esooka, Ettabi lya Australia lyakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira American Samoa ne Samoa. Ate ettabi lya New Zealand lyagattibwa wamu n’erya Australia. Kati ettabi lya Australasia lirabirira emirimu egikolebwa mu Australia, American Samoa ne Samoa, mu Cook Islands, New Zealand, Niue, Timor-Leste, Tokelau, ne Tonga, era nnyingi ku nsi ezo nnafunako enkizo ey’okuzikyalira ng’omugenyi akyadde okuva ku ttabi. Ekiseera kye nnamala nga nkolera wamu ne baganda baffe ne bannyinaffe abeesigwa ab’oku bizinga ebyo kinnyambye nnyo, nga kati mbaweereza nga nsinziira ku ofiisi y’ettabi.

Winston ne Pam nga bali ku ofiisi y’ettabi eya Australasia

Nga nkomekkereza, nnyinza okugamba nti okusinziira ku byafaayo byange ne Pam, abantu abakulu si be bokka abanoonya Katonda. N’abaana abato nabo baagala ‘luulu eyo ey’omuwendo omungi’ ne bwe kiba nti ab’omu maka mwe babeera bo tebaginoonya. (2 Bassek. 5:2, 3; 2 Byom. 34:1-3) Mazima ddala, Yakuwa Katonda atwagala nnyo era ayagala ffenna abato n’abakulu tufune obulamu ogutaggwaawo!

Nze ne Pam bwe twatandika okunoonya Katonda emyaka egisukka mu 50 emabega, twali tetusobola kumanya wa ekyo gye kyanditutuusizza. Tewali kubuusabuusa nti amazima agakwata ku Bwakabaka, luulu ya muwendo mungi nnyo! Tuli bamalirivu okweyongera okunyweza luulu eyo ey’omuwendo omungi ennyo!