Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 33

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

Engeri Ekibiina Gye Kiyinza Okukoppa Endowooza Yakuwa gy’Alina ku Abo Abakoze Ekibi eky’Amaanyi

Engeri Ekibiina Gye Kiyinza Okukoppa Endowooza Yakuwa gy’Alina ku Abo Abakoze Ekibi eky’Amaanyi

“Omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina omuyambi.”1 YOK. 2:1.

EKIGENDERERWA

Ekyo kye tuyigira ku ngeri ensonga ekwata ku kibi eky’amaanyi gye yagonjoolwamu mu kibiina ky’e Kkolinso eky’omu kyasa ekyasooka.

1. Kiki Yakuwa ky’ayagaliza abantu bonna?

 YAKUWA yatonda abantu nga balina eddembe ery’okwesalirawo. Okozesa eddembe eryo bulijjo ng’oliko by’osalawo. Ekintu ekisinga obukulu mu ebyo omuntu by’ayinza okusalawo, kwe kwewaayo eri Yakuwa n’afuuka omu ku b’omu maka ge. Yakuwa ayagala buli muntu asalewo okumuweereza. Lwaki? Kubanga ayagala nnyo abantu era abaagaliza ekisingayo obulungi. Ayagala babeere mikwano gye era babeerewo emirembe gyonna.—Ma. 30:​19, 20; Bag. 6:​7, 8.

2. Kiki Yakuwa kye yeetaagisa aboonoonyi abatanneenenya? (1 Yokaana 2:1)

2 Kyokka Yakuwa talina muntu n’omu gw’awaliriza kumuweereza. Aleka buli muntu okwesalirawo eky’okukola. Watya singa Omukristaayo omubatize amenya etteeka lya Katonda, n’akola ekibi eky’amaanyi? Bw’ateenenya aba alina okuggibwa mu kibiina. (1 Kol. 5:13) Naye era Yakuwa aba asuubira nti omwonoonyi oyo ajja kudda gy’ali. Mu butuufu, emu ku nsonga lwaki Yakuwa yawaayo ekinunulo, kwe kusonyiwa aboonoonyi abeenenyezza. (Soma 1 Yokaana 2:1.) Katonda waffe atwagala akubiriza aboonoonyi okwenyenya.—Zek. 1:3; Bar. 2:4; Yak. 4:8.

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Yakuwa ayagala tube n’endowooza gy’alina ku kibi ne ku abo ababa bakoze ebibi. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri gye tuyinza okwoleka endowooza ya Yakuwa ku nsonga eyo. Ng’osoma ekitundu kino, weetegereze (1) engeri ekibiina ky’e Kkolinso eky’omu kyasa ekyasooka gye kyakwatamu ensonga eyali ekwata ku kibi eky’amaanyi, (2) obulagirizi omutume Pawulo bwe yawa ng’omwonoonyi yeenenyezza, (3) n’engeri ebyo bye tusoma mu Bayibuli ku nsonga eyo gye biraga endowooza Yakuwa gy’alina ku Bakristaayo abakola ekibi eky’amaanyi.

ENGERI ENSONGA EKWATA KU KIBI EKY’AMAANYI GYE YAKWATIBWAMU MU KYASA EKYASOOKA

4. Mbeera ki eyajjawo mu kibiina ky’e Kkolinso eky’omu kyasa ekyasooka? (1 Abakkolinso 5:​1, 2)

4 Soma 1 Abakkolinso 5:​1, 2. Bwe yali ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu, Pawulo yawulira ebintu ebibi ebyali bikwata ku kibiina ky’e Kkolinso ekyali kyakatandikibwawo. Ow’oluganda mu kibiina ekyo yali yeddizza muka kitaawe. Ekikolwa ekyo kyali kibi nnyo, era n’abantu abaali batasinza Yakuwa baali bakiraba nti kyali kivve! Ng’oggyeeko okuba nti ekibiina kyagumiikiriza enneeyisa eyo, era kiyinza okuba nga kyali kigyenyumiririzaamu. Oboolyawo abamu mu kibiina baali balowooza nti baali booleka obusaasizi ng’obwa Yakuwa. Naye Yakuwa tabikkirira bibi by’abantu. Omusajja oyo okwenyigira mu kintu ekyo ekibi yali aleeta ekivume ku kibiina. Ate era ayinza okuba nga yali ayonoona Abakristaayo abalala mu kibiina be yalinga akolagana nabo. Kati olwo kiki Pawulo kye yalagira ekibiina okukola?

5. Kiki Pawulo kye yalagira ekibiina okukola, era yali ategeeza ki? (1 Abakkolinso 5:13) (Laba n’ekifaananyi.)

5 Soma 1 Abakkolinso 5:13. Yakuwa yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiikira ekibiina ebbaluwa n’abagamba nti omwonoonyi oyo aggibwe mu kibiina. Abakristaayo abeesigwa baalina kumuyisa batya? Pawulo yabagamba ‘obutakolagana’ naye. Ekyo kyali kitegeeza ki? Yakiraga nti ekiragiro ekyo kyali kizingiramu ‘n’obutalya na muntu ng’oyo.’ (1 Kol. 5:11) Emirundi mingi bw’oliira awamu n’omuntu, muba munyumya era ekyo kiyinza okubaviirako okweyongera okukolagana. Kyeyoleka bulungi nti Pawulo yali ategeeza nti ab’omu kibiina tebaalina kubeerako wamu na musajja oyo. Ekyo kyandibadde kikuuma ab’omu kibiina ne batakoppa mpisa ze. (1 Kol. 5:​5-7) Ate era okwewala okukolagana naye kyandibadde kimuleetera okukitegeera nti yali awabye nnyo okuva mu makubo ga Yakuwa, era ekyo kyandibadde kimuleetera okukwatibwa ensonyi ne yeenenya.

Yakuwa yaluŋŋamya Pawulo okuwandiikira ab’omu kibiina ky’e Kkolinso ebbaluwa ng’abalagira okuggya omwonoonyi mu kibiina eyali teyeenenya (Laba akatundu 5)


6. Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira ekibiina ky’e Kkolinso, yakwata etya ku b’oluganda mu kibiina ne ku mwonoonyi?

6 Oluvannyuma lwa Pawulo okuwandiikira Abakristaayo b’omu Kkolinso ebbaluwa, yatandika okweraliikirira engeri gye bandibadde batwalamu ebyo bye yabawandiikira. Naye Tito yamuleetera amawulire agaamusanyusa. Ab’oluganda mu kibiina baali bakoledde ku bulagirizi bwe yabawa ne baggya omwonoonyi mu kibiina ekyo. (2 Kol. 7:​6, 7) Ate era mu myezi egyaddirira, omwonoonyi yeenenya ekibi kye! Yakyusa enneeyisa ye n’endowooza ye, n’atandika okukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. (2 Kol. 7:​8-11) Kati kiki Pawulo kye yalagira ekibiina okukola?

ENGERI EKIBIINA GYE KYALINA OKUYISAAMU OMWONOONYI EYEENENYA

7. Kirungi ki ekyava mu kuggya omwonoonyi mu kibiina? (2 Abakkolinso 2:​5-8)

7 Soma 2 Abakkolinso 2:​5-8. Pawulo yagamba nti okunenya okwo okw’abangi kwali kumala omusajja oyo. Tuyinza okugamba nti okukangavvula okwamuweebwa kwali kutuukirizza ekigendererwa kyakwo. Kigendererwa ki? Kwamusobozesa okwenenya.—Beb. 12:11.

8. Kiki ekirala Pawulo kye yagamba ekibiina okukola?

8 Pawulo yagamba ab’oluganda mu kibiina nti: “Mubeere beetegefu okumusonyiwa n’okumubudaabuda.” Era yabakubiriza “okumulaga okwagala.” Weetegereze nti Pawulo yali ayagala ab’oluganda mu kibiina okukola ekisingawo ku kukkiriza obukkiriza omusajja oyo okukomawo mu kibiina. Yali ayagala bakakase omusajja oyo eyeenenya nti ddala baali bamusonyiye era nti bamwagala, okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa. Bwe bandikoze bwe batyo bandibadde bakyoleka nti baali basanyufu nnyo okuba nti yali akomyewo mu kibiina.

9. Lwaki abamu bayinza okuba nga baakaluubirirwa okusonyiwa omwonoonyi eyeenenya?

9 Mu kusooka abamu bayinza okuba nga tebaasanyuka kuwulira nti omusajja oyo yali akomezeddwawo mu kibiina. Lwaki tugamba bwe tutyo? Abamu bayinza okuba nga baali bakyali banyiivu olw’ebyo bye yakola ebyakosa ekibiina kyonna oba ebyabakosa kinnoomu. Abalala bayinza okuba nga baali bawulira nti tekyali kya bwenkanya okusanyukira omusajja oyo okukomezebwawo mu kibiina, ng’ate bo baali bafubye nnyo okunywerera ku mateeka ga Yakuwa. (Geraageranya Lukka 15:​28-30.) Naye lwaki kyali kikulu nnyo ab’oluganda mu kibiina okulaga omusajja oyo eyali yeenenyezza okwagala okwa nnamaddala?

10-11. Kiki ekyandibaddewo singa abakadde baagaana okusonyiwa omwonoonyi eyeenenya?

10 Lowooza ku ekyo ekyandibaddewo singa abakadde baagaana okukkiriza omusajja oyo eyeenenya mu bwesimbu okukomawo mu kibiina, oba singa oluvannyuma lw’okukomawo ab’oluganda baagaana okumulaga okwagala. Yandibadde aggwaamu amaanyi “olw’okunakuwala ennyo.” Yali asobola okulowooza nti tayinza kuddamu kuweereza Yakuwa. Yandibadde alekera awo n’okufuba okutereeza enkolagana ye ne Yakuwa.

11 N’ekisinga obubi, singa ab’oluganda mu kibiina baagaana okusonyiwa omwonoonyi oyo eyeenenya, ekyo kyandibadde kikosa enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Lwaki? Kubanga bandibadde tebooleka ndowooza Yakuwa gy’alina ku boonoonyi abeenenya, wabula bandibadde booleka endowooza ya Sitaani ow’ettima era atalina busaasizi. Mu ngeri eyo, Sitaani yandibadde abakozesa okulemesa omusajja oyo okuddamu okuweereza Yakuwa.—2 Kol. 2:​10, 11; Bef. 4:27.

12. Ab’oluganda mu kibiina bandikoppye batya Yakuwa?

12 Kati olwo ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolinso bandikoppye batya Yakuwa ne beewala endowooza ya Sitaani? Baalina okukoppa endowooza Yakuwa gy’alina ku boonoonyi abeenenya. Weetegereze ebyo abawandiisi ba Bayibuli abamu bye baayogera ku Yakuwa. Dawudi yagamba Yakuwa nti: “Oli mulungi era oli mwetegefu okusonyiwa.” (Zab. 86:5) Nnabbi Mikka yagamba nti: “Katonda ki alinga ggwe asonyiwa ensobi n’okwonoona?” (Mik. 7:18) Ate ye nnabbi Isaaya yagamba nti: “Omubi aleke ekkubo lye n’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye; akomewo eri Yakuwa anaamusaasira, eri Katonda waffe, kubanga ajja kusonyiyira ddala.”—Is. 55:7.

13. Lwaki kyali kituukirawo okukomyawo mu kibiina omwonoonyi eyeenenya? (Laba akasanduuko “ Omusajja ow’Omu Kkolinso Yakomezebwawo Ddi mu Kibiina?”)

13 Okusobola okukoppa Yakuwa, ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolinso baalina okusonyiwa omwonoonyi eyeenenya era ne bamukakasa nti bamwagala. Bwe baakolera ku kubuulirira kwa Pawulo ne basonyiwa omwonoonyi eyeenenya, baakiraga nti baali “bawulize mu bintu byonna.” (2 Kol. 2:9) Kyo kituufu nti waali wayiseewo myezi bwezi bukya aggibwa mu kibiina, naye okukangavvula okwo kwali kumusobozesezza okwenenya. N’olwekyo, kyali tekyetaagisa bakadde kulwawo kumukomyawo mu kibiina.

ENGERI GYE TUYINZA OKUKOPPA OBWENKANYA BWA YAKUWA N’OBUSAASIZI BWE

14-15. Biki bye tuyigidde ku ekyo ekyaliwo mu kibiina ky’e Kkolinso? (2 Peetero 3:9) (Laba n’ekifaananyi.)

14 Ebyo ebikwata ku ngeri ensonga ekwata ku kibi eky’amaanyi gye yakwatibwamu mu kibiina ky’e Kkolinso, “byawandiikibwa okutuyigiriza.” (Bar. 15:4) Ebyo bye tusoma mu Bayibuli ku nsonga eyo, bituyamba okukiraba nti Yakuwa takkiriza bantu abakola ebibi eby’amaanyi ne bateenenya okusigala mu bantu be. Abamu bayinza okulowooza nti olw’okuba Yakuwa musaasizi yandibadde akkiriza aboonoonyi abateenenya okusigala mu kibiina, naye Yakuwa bw’atyo si bw’alaga obusaasizi. Wadde nga Yakuwa musaasizi, takkiriza buli nneeyisa, era emitindo gye egikwata ku kituufu n’ekikyamu tegikyuka. (Yud. 4) Mu butuufu singa Yakuwa yali akola bw’atyo, obwo tebwandibadde busaasizi kubanga kyandibadde kyonoona ekibiina kyonna.—Nge. 13:20; 1 Kol. 15:33.

15 Kyokka era tukiraba nti Yakuwa tayagala muntu n’omu kuzikirizibwa. Ayagala okulokola abantu buli lwe kiba kisoboka. Alaga obusaasizi abantu abakyusa endowooza yaabwe n’enneeyisa yaabwe era abaagala okutereeza enkolagana yaabwe naye. (Ezk. 33:11; soma 2 Peetero 3:9.) N’olwekyo, omusajja ow’omu kibiina ky’e Kkolinso bwe yeenenya n’alekayo ekibi kye yali akola, Yakuwa yakozesa Pawulo okunnyonnyola ab’omu kibiina ky’e Kkolinso nti baali basaanidde okumusonyiwa n’okumwaniriza ng’akomyewo mu kibiina.

Ab’oluganda baaniriza n’essanyu oyo akomezeddwawo mu kibiina, era mu ngeri eyo booleka okwagala n’obusaasizi ng’obwa Yakuwa (Laba akatundu 14-15)


16. Owulira otya bw’olowooza ku ngeri ensonga eyaliwo mu kibiina ky’e Kkolinso gye yakwatibwamu?

16 Okwekenneenya ensonga eyaliwo mu kibiina ky’e Kkolinso kituyambye okulaba engeri Yakuwa gy’ayolekamu okwagala, obutuukirivu, n’obwenkanya. (Zab. 33:5) Ekyo tekikuleetedde okweyongera okutendereza Katonda waffe? Ffenna tuli boonoonyi era twetaaga okusonyiyibwa. Buli omu ku ffe asaanidde okusiima ennyo Yakuwa olw’okuwaayo ekinunulo ekitusobozesa okusonyiyibwa. Mazima ddala kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa ayagala nnyo abantu be era nti abaagaliza birungi byereere!

17. Kiki ekigenda okwogerwako mu bitundu ebiddako?

17 Leero omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi, abakadde bayinza batya okukoppa okwagala kwa Yakuwa ne bayamba omwonoonyi okwenenya? Ab’oluganda mu kibiina basaanidde kukola ki ng’abakadde basazeewo okuggya omwonoonyi mu kibiina oba okumukomyawo? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu bitundu ebiddako.

OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima