Okyajjukira?
Osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga ng’osinziira ku magazini z’Omunaala gw’Omukuumi eza 2019?
Ekisuubizo kya Yakuwa ekigamba nti “Tewali kya kulwanyisa ekiriweesebwa okukulwanyisa ekiriba n’omukisa” kitegeeza ki? (Is. 54:17)
Tuli bakakafu nti Katonda ajja kutukuuma tuleme kusaanyizibwawo “obusungu bw’abakambwe.” (Is. 25:4, 5) Abalabe baffe tebajja kusobola kutukolako kabi ka lubeerera.—w19.01, lup. 6-7.
Ekyo Katonda kye yakola Abakanani n’Abayisirayiri abajeemu kiraga kitya nti mwenkanya?
Katonda yasalira omusango abantu abaali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’abo abaayisanga obubi abakazi n’abaana. Yawa omukisa abantu abaali bamugondera era abaayisanga obulungi abalala.—w19.02, lup. 22-23.
Kiki kye tusaanidde okukola singa omuntu atali Mujulirwa wa Yakuwa asaba nga weetuli?
Tuyinza okusalawo okusirika naye ne tussa ekitiibwa mu balala. Tetuddamu nti “amiina”; era tetukwatagana na baliwo mikono ng’essaala esabibwa. Tusobola okusalawo okusaba essaala eyaffe mu kasirise.— w19.03, lup. 31.
Lwaki okukabasanya abaana kibi kya maanyi nnyo?
Okukabasanya kibi ekikosa ennyo eyo gwe kiba kikoleddwako, kikosa ekibiina, era oyo akikola aba ajeemedde ab’obuyinza ne Katonda. Amateeka bwe gaba geetaagisa okuloopa omuntu agambibwa okuba nti yakabasanya omwana, abakadde bagagondera.—w19.05, lup. 9-10.
Oyinza otya okukyusa oba okutereeza mu ndowooza yo?
Bino by’osaanidde okukola: Saba Yakuwa. Fumiitiriza ng’olina ekigendererwa eky’okwekebera. Londa emikwano n’amagezi.—w19.06, lup. 11.
Biki bye tuyinza okukola kati okweteekerateekera okuyigganyizibwa?
Tusaanidde okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Tusaanidde okumwesiga nti atwagala nnyo era nti tasobola kutwabulira. Tusaanidde okusoma Bayibuli buli lunaku n’okusaba Yakuwa obutayosa. Tusaanidde okuba abakakafu nti emikisa gy’Obwakabaka gijja kujja. Tusaanidde okukwata mu mutwe ebyawandiikibwa n’ennyimba zaffe ezisinga okutunyumira.—w19.07, lup. 2-4.
Biki bye tuyinza okukola okuyamba ab’eŋŋanda zaffe okulokolebwa?
Tusaanidde okubalumirirwa, ka tuwe obujulirwa okuyitira mu nneeyisa yaffe ennungi, era ka tube bagumiikiriza era ba magezi.—w19.08, lup. 15-17.
Tuwummuzibwa tutya nga Yesu bwe yagamba mu Matayo 11:28?
Tulina abalabirizi abatwagala ennyo, emikwano egisingayo obulungi, n’omulimu ogusingayo obulungi.—w19.09, lup. 23.
Katonda atuwa atya amaanyi era n’atwagazisa okukola? (Baf. 2:13)
Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukifumiitirizaako, Katonda asobola okutuwa amaanyi era n’atwagazisa okukola by’ayagala. Omwoyo gwe gutuyamba okukozesa mu bujjuvu obusobozi bwaffe.—w19.10, lup. 21.
Biki bye tusaanidde okukola nga tetunnasalawo kintu kikulu?
Ebintu bitaano: Noonyereza. Saba Yakuwa akuwe amagezi. Weekenneenye ebigendererwa byo. Beera mulambulukufu. Kola ebyo by’osobola.—w19.11, lup. 27-29.
Endowooza egamba nti waliwo ekisigala nga kiramu ng’omuntu afudde yatandikira ku ebyo Sitaani bye yagamba Kaawa?
Nedda. Sitaani yagamba Kaawa nti tajja kufa, so si nti yandirabise bulabisi ng’afudde. Tewali njigiriza n’emu ya bulimba yasigalawo oluvannyuma lw’Amataba. Enjigiriza egamba nti waliwo ekiwonawo ng’omuntu afudde eyinza okuba nga yatandika nga Katonda tannasaasaanya bantu abaali bazimba omunaala gw’e Babeeri.—w19.12, lup. 15.