Ebikwata ku Dawudi ne Goliyaasi—Ddala Bituufu?
Abantu abamu beebuuza obanga ebyo bye tusoma ku Dawudi ne Goliyaasi ddala byaliwo oba lugero bugero. Bw’obadde osoma ekitundu ekivuddeko, naawe weebuuzizza obanga ddala byaliwo? Bwe kiba bwe kityo, lowooza ku bibuuzo bino wammanga.
1 | Ddala omuntu asobola okuwanvuwa n’aweza ffuuti nga mwenda n’ekitundu?
Bayibuli egamba nti Goliyaasi yali aweza “mita nga ssatu obuwanvu.” (1 Samwiri 17:4) Ezo ze ffuuti nga 9 ne inci 6. Abamu bagamba nti Goliyaasi tayinza kuba nga yali muwanvu bw’atyo. Naye lowooza ku kino: Mu kiseera kyaffe, omusajja gwe bagamba nti y’akyasinze obuwanvu wa ffuuti 8 ne inci 11. Kati olwo tekisoboka kuba nti Goliyaasi yali amusingako inci nga mukaaga? Goliyaasi yali wa mu ggwanga ly’Abaleefa, abaali bamanyiddwa ng’abantu abawagguufu. Ekiwandiiko ky’e Misiri ekyazuulibwa mu kyasa eky’ekkumi n’essatu E.E.T., kyalaga nti abalwanyi abamu mu bitundu by’e Kanani baali bawanvu nnyo, nga basukka mu ffuuti munaana. N’olwekyo, wadde ng’obuwanvu bwa Goliyaasi si bwa bulijjo, kisobokera ddala okuba nga yali muwanvu bw’atyo.
2 | Dawudi yali muntu wa ddala?
Waliwo ekiseera bannabyafaayo we baagambira nti Kabaka Dawudi teyaliiyo, naye tebaali batuufu. Abanoonyereza ku bintu eby’edda baazuula ebintu ebyawandiikibwako nti “ennyumba ya Dawudi.” Okugatta ku ekyo, Yesu Kristo naye yalaga nti Dawudi yaliyo. (Matayo 12:3; 22:43-45) Obukakafu obulaga nti Yesu ye Masiya ze nnyiriri ez’obuzaale bwe ez’emirundi ebiri eziraga nti yasibuka mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. (Matayo 1:6-16; Lukka 3:23-31) Ebyo byonna biraga nti Dawudi yali muntu wa ddala.
3 | Ekifo ekyogerwako Dawudi ne Goliyaasi we baalwanira ddala kyaliyo?
Bayibuli egamba nti olutalo olwo lwali mu Kiwonvu Ela. Naye era eyongera n’egamba nti Abafirisuuti baali basiisidde ku ludda olumu olw’ekiwonvu wakati w’akabuga akayitibwa Soko n’akabuga akayitibwa Azeka. Ate bo Abayisirayiri baali basiisidde ku luuyi olulala olw’ekiwonvu. Ddala ebifo ebyo byaliyo?
Waaliwo omuntu eyali yaakagenda okulambula mu kitundu ekyo eyagamba nti: “Eyatulambuza, ataali munnaddiini, yatutwala mu Kiwonvu Ela. Twayitira mu kakubo akaatutuusa ku kasozi waggulu. Bwe twali tutunudde wansi mu kiwonvu, yatugamba tusome 1 Samwiri 17:1-3. Awo n’asonga ku luuyi olumu olw’ekiwonvu, n’agamba nti: ‘Ku ludda olwo olwa kkono we waali akabuga Soko.’ Ate n’akyuka n’atugamba nti, ‘Eri ku ludda olwa ddyo we waali akabuga Azeka. Abafirisuuti baasiisira wakati w’obubuga obwo. Abayisirayiri bayinza okuba nga baasiisira wano we tuli.’ Nnakubamu akafaananyi nga Sawulo ne Dawudi bayimiridde we nnali nnyimiridde. Oluvannyuma twaserengeta, era mu kiwonvu mwe twayita waali wakalu era waaliwo amayinja mangi. Nnakubamu akafaananyi nga Dawudi akutamye alonda amayinja ataano omwali n’eryo eryatta Goliyaasi.” Omulambuzi oyo, okufaananako abalala bangi, ateekwa okuba nga yeewuunya nnyo okukimanya nti Bayibuli eyogera ku bintu ebyaliwo.
Tewali nsonga yonna muntu gy’ayinza kusinziirako kuwakanya bintu ebyo. Abantu aboogerwako baaliyo era n’ebifo byaliyo. N’ekisinga obukulu, ebintu ebyo biri mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. N’olwekyo, biva eri Katonda ow’amazima “atayinza kulimba.”—Tito 1:2; 2 Timoseewo 3:16.