Osobola Okusalawo Ebiseera Byo eby’Omu Maaso Bwe Binaaba
Emyaka nga 3,500 emabega, Yakuwa Katonda yagamba abo abaali bamusinza kye baalina okukola okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Yabagamba nti: “Ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’ekikolimo; weeroboze obulamu olyoke obeere mulamu ggwe ne bazzukulu bo.”—Ekyamateeka 30:19.
Okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, abantu abo baalina okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Leero naffe tulina okukola ekintu kye kimu. Bayibuli etulaga engeri gye tuyinza okusalawo okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Egamba nti: “Ng’oyagala Yakuwa Katonda wo, ng’owuliriza eddoboozi lye.”—Ekyamateeka 30:20.
TUYINZA TUTYA OKWAGALA YAKUWA N’OKUWULIRIZA EDDOBOOZI LYE?
SOMA BAYIBULI: Okusobola okwagala Yakuwa, olina okusooka okuyiga ebimukwatako okuva mu Bayibuli. Bw’onooyiga ebimukwatako, ojja kukiraba nti akwagala nnyo era akwagaliza ekisingayo obulungi. Akukubiriza okumusaba ‘kubanga akufaako.’ (1 Peetero 5:7) Bayibuli egamba nti bw’onoofuba okumusemberera ‘naye ajja kukusemberera.’—Yakobo 4:8.
KOLERA KU EBYO BY’OYIGA: Okuwuliriza Katonda kitegeeza okukolera ku bulagirizi bwe obuli mu Bayibuli. Bw’onookola bw’otyo, ‘ojja kutuuka ku buwanguzi era ojja kweyisa mu ngeri ey’amagezi.’—Yoswa 1:8.