Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obulamu Bwo Bukyali Bwa Mugaso

Obulamu Bwo Bukyali Bwa Mugaso

Faizal yalina okulongoosebwa omutima nga waakayita omwaka gumu gwokka bukya afiirwa mukyala we. Agamba nti: “Bwe nsoma ekitabo kya Yobu, nkiraba nti waliwo ensonga lwaki Yakuwa yakiwandiisa mu Bayibuli. Bwe tusoma ku muntu ayogerwako mu Bayibuli eyayita mu mbeera gye tulimu, tubudaabudibwa nnyo.” Agattako nti: “Oba okiraba nti obulamu bulina amakulu.”

Tarsha yali akyali muto maama we we yafiira. Agamba nti: “Okumanya Omutonzi waffe kifuula obulamu okuba obw’amakulu, era kiwa essuubi n’essanyu wadde nga tuyita mu bizibu bingi. Yakuwa asobola okutuyamba okugumira ebizibu bye tulina.”

MU BITUNDU ebivuddeko tulabye nti ebizibu bye tufuna biyinza okutuleetera okuwulira ng’obulamu bututamye. Bw’oba olina ebizibu, oyinza okwebuuza obanga obulamu bwa mugaso era obanga waliwo omuntu yenna akufaako. Beera mukakafu nti Katonda akufaako. Oli wa muwendo nnyo gy’ali.

Omuwandiisi wa Zabbuli eya 86 yakiraga nti yeesiga Katonda bwe yagamba nti: ‘Bwe mba mu buyinike nkukoowoola, kubanga onnyanukula.’ (Zabbuli 86:7) Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Katonda anannyanukula atya mu biseera ebizibu?’

Wadde nga Katonda ayinza obutaggyaawo kizibu kyo, Bayibuli eraga nti asobola okukuwa emirembe mu mutima n’osobola okukigumira. Egamba nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.” (Abafiripi 4:6, 7) Weetegereze engeri ebyawandiikibwa bino wammanga gye biragamu nti Katonda atufaako.

Katonda Akufaako

“Tewali [nkazaluggya] n’emu Katonda gy’abuusa amaaso. . . . Muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.”​Lukka 12:6, 7, obugambo obuli wansi.

KIROWOOZEEKO: Obunyonyi obutono ennyo ng’enkazaluggya abantu bayinza obutabutwala ng’obw’omuwendo, naye Katonda abufaako. Tewali wadde nkazaluggya n’emu Katonda gy’abuusa amaaso; buli emu ya muwendo gy’ali. Abantu ba muwendo nnyo eri Katonda okusinga enkazaluggya. Era basinga n’ebitonde ebirala byonna ebiri ku nsi, kubanga baatondebwa mu “kifaananyi” kya Katonda, era basobola okwoleka engeri ze.​—Olubereberye 1:26, 27.

‘Ai Yakuwa onkebedde, era ommanyi. Ebirowoozo byange obimanya. Nkebera, omanye ebinneeraliikiriza.’​Zabbuli 139:1, 2, 23.

KIROWOOZEEKO: Katonda akumanyi bulungi. Amanyi engeri gy’owuliramu n’ebikweraliikiriza. Wadde ng’abalala bayinza obutamanya bikweraliikiriza, Katonda abimanyi era ayagala okukuyamba. Ekyo kifuula obulamu okuba obw’omugaso.

Obulamu Bwo Bulina Amakulu

“Ai Yakuwa, wulira okusaba kwange; okuwanjaga kwange ka kutuuke gy’oli. . . . Ntegera okutu; nnyanukula mangu bwe nkukoowoola. . . . Ajja kuwuliriza okusaba kw’abanaku.”​Zabbuli 102:1, 2, 17.

KIROWOOZEEKO: Okuviira ddala mu kiseera abantu we baatandikira okubonaabona, Yakuwa azze alaba amaziga ge bakaaba. (Zabbuli 56:8) N’amaziga go agalaba. Katonda alaba ebizibu by’oyitamu, kubanga oli wa muwendo nnyo gy’ali.

“Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba, . . . Nze Yakuwa Katonda wo . . . nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’”​Isaaya 41:10, 13.

KIROWOOZEEKO: Katonda mwetegefu okukuyamba. Bw’onooggwamu amaanyi, ajja kukuwa amaanyi.

Waliwo Essuubi nti Ebiseera eby’Omu Maaso Bijja Kuba Birungi

“Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.”​Yokaana 3:16.

KIROWOOZEEKO: Katonda yakwagala nnyo n’atuuka n’okuwaayo Omwana we Yesu okukufiirira. Okufa kwa Yesu kukusobozesa okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo, era obulimu essanyu. a

Wadde ng’oyinza okuba n’ebikweraliikiriza era ng’owulira nti weetamiddwa obulamu, soma Ekigambo kya Katonda osobole okumanya ebyo by’atusuubizza era obikkiririzeemu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna essanyu era ojja kukimanya nti obulamu bwo bukyali bwa mugaso.

a Okumanya ebisingawo ku ngeri gy’osobola okuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu, laba vidiyo Okujjukira Okufa kwa Yesu ku www.jw.org/lg. Genda ku EBITUKWATAKO > EKIJJUKIZO.