Osobola Okubeera ku Nsi Emirembe Gyonna
EKYO NGA KISUUBIZO KIRUNGI NNYO! Omutonzi waffe atusuubiza nti ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo wano ku nsi. Kyokka abantu bangi ekyo kibazibuwalira okukkiriza. Bagamba nti ‘Okufa kwatutonderwa, era buli muntu alina okufa.’ Ate abalala bakkiriza nti kisoboka okuba abalamu emirembe gyonna, naye si wano ku nsi. Bagamba nti omuntu okufuna obulamu obutaggwaawo, alina kusooka kufa n’agenda mu ggulu. Ggwe olowooza otya?
Nga tonnaddamu kibuuzo ekyo, lwaki tosooka n’omanya engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo bino: Engeri omuntu gye yatondebwamu eraga nti yalina kuba mulamu kumala bbanga ki? Katonda yalina kigendererwa ki ng’atonda abantu n’ensi? Okufa kwajjawo kutya?
OMUNTU YATONDEBWA MU NGERI YA NJAWULO
Ku bintu byonna ebiramu Katonda bye yatonda ku nsi, abantu ba njawulo nnyo. Mu ngeri ki? Bayibuli egamba nti abantu bokka be baatondebwa mu “kifaananyi” kya Katonda. (Olubereberye 1:26, 27) Ekyo kitegeeza nti abantu baatondebwa nga basobola okwoleka engeri za Katonda gamba ng’okwagala, n’obwenkanya.
Okugatta ku ekyo, abantu bokka be baatondebwa nga balina obusobozi bw’okulowooza, okwagala okumanya Katonda, era n’okuba n’enkolagana naye. Eyo ye nsonga lwaki tusobola okusiima ebintu Katonda bye yatonda, era tunyumirwa okukola emirimu n’emikono gyaffe. N’ekisinga byonna, abantu bokka be basobola okusinza Omutonzi. Ebyo biraga enjawulo ey’amaanyi eriwo wakati w’abantu n’ebitonde ebirala ebiramu ebiri ku nsi.
N’olwekyo weebuuze: Katonda yandiwadde abantu engeri ezo era n’obusobozi bw’okuzikulaakulanya, singa yabatonda nga ba kubeerawo kiseera kitono? Katonda yawa abantu obusobozi obwo obw’enjawulo basobole okunyumirwa obulamu wano ku nsi emirembe gyonna.
KATONDA YALINA KIGENDERERWA KI OKUTONDA ENSI N’ABANTU?
Abantu abamu balowooza nti Katonda teyatonda bantu kubeera ku nsi emirembe gyonna. Bagamba nti ensi si kifo kya kubeeramu lubeerera, wabula kifo Katonda w’agezeseza abantu okulaba abo Ekyamateeka 32:4.
abasaana okugenda mu ggulu. Naye ekyo bwe kiba ekituufu, Katonda ye yandibadde avunaanyizibwa ku bintu byonna ebibi ebiri mu nsi. Ekyo kyandibadde kikontana n’ekyo Katonda ky’ali. Bayibuli egamba nti: “Amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya; mutuukirivu era mwenkanya.”—Bayibuli etubuulira ekigendererwa Katonda kye yalina ng’atonda ensi. Egamba nti: “Eggulu lya Yakuwa, naye ensi yagiwa abaana b’abantu.” (Zabbuli 115:16) Katonda yatonda ensi ng’ayagala tugibeereko lubeerera, era yagiteekako buli kimu kye twetaaga okusobola okunyumirwa obulamu, era n’okuba abalamu emirembe gyonna.—Olubereberye 2:8, 9.
“Eggulu lya Yakuwa,naye ensi yagiwa abaana b’abantu.”—Zabbuli 115:16
Ate era Bayibuli etubuulira ekigendererwa Katonda kye yalina ng’atonda abantu. Yagamba abantu be yasooka okutonda nti: ‘Muzaale mwale mujjuze ensi era mufugenga ebiramu byonna ebiri ku nsi.’ (Olubereberye 1:28) Nga Katonda yali abawadde enkizo ya maanyi! Adamu ne Kaawa, awamu n’abaana be bandizadde baali ba kubeera ku nsi emirembe gyonna, so si kugenda mu ggulu.
LWAKI ABANTU BAFA?
Kati olwo, lwaki abantu bafa? Bayibuli eraga nti omu ku bamalayika ba Katonda, oluvannyuma eyafuuka Sitaani, yagezaako okulemesa enteekateeka Katonda gye yali akoze mu Edeni. Mu ngeri ki?
Sitaani yasendasenda bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, n’abaleetera okujeemera Katonda. Sitaani bwe yabagamba nti Katonda yali tabawadde ddembe lya kwesalirawo ekirungi n’ekibi, baasalawo kuwuliriza Sitaani ne bajeemera Katonda. Biki ebyavaamu? Oluvannyuma baafa, nga Katonda bwe yali abagambye. Baafiirwa enkizo ey’okubeera abalamu ku nsi emirembe gyonna.—Olubereberye 2:17; 3:1-6; 5:5.
Obujeemu bwa Adamu ne Kaawa bukosezza abantu n’okutuusa leero. Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu [Adamu] ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) N’olwekyo, tufa olw’okuba twasikira ekibi okuva ku bazadde baffe abaasooka, so si lwa kuba nti bw’atyo Katonda bwe yayagala.
OSOBOLA OKUBA OMULAMU KU NSI EMIREMBE GYONNA
Obujeemu bwa Adamu ne Kaawa tebwakyusa kigendererwa Katonda kye yalina eri ensi n’abantu. Olw’okuba Katonda alina okwagala kungi era mwenkanya, yakola enteekateeka ey’okununula abantu okuva mu kibi n’okufa. Omutume Pawulo yagamba nti: “Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Kristo Yesu Mukama waffe.” (Abaruumi 6:23) Katonda “yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Yesu bwe yeewaayo n’atufiirira, yanunula byonna Adamu bye yali atufiirizza. a
Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kumalawo ebizibu byonna ebiri ku nsi. Osobola okuba omulamu ku nsi emirembe gyonna singa okolera ku bigambo bya Yesu bino: “Muyingire mu mulyango omufunda, kubanga omulyango oguyingira mu kuzikirira mugazi n’ekkubo erituukayo ddene, era bangi abaliyitamu; naye omulyango oguyingira mu bulamu mufunda n’ekkubo erituukayo lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” (Matayo 7:13, 14) Ebiseera byo eby’omu maaso bisinziira ku ngeri gy’osalawo. Onoosalawo otya?
a Okumanya ebisingawo ku ngeri okufa kwa Yesu gye kuyinza okukuganyulamu, laba essomo 27 ery’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, era osobola okukifuna ku bwereere ku www.jw.org/lg.