Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abantu Bye Boogera ku Kusaba

Abantu Bye Boogera ku Kusaba

“Bwe nsaba, mpulira nga Katonda andi ku lusegere, ng’ankutte ku mukono, era ng’andaga ekkubo ery’okukwata.”​—MARÍA.

“Mukyala wange yafa obulwadde bwa kookolo, obwamubonyaabonya okumala emyaka 13. Nzijukira nnasabanga Katonda buli lunaku era nnawuliranga nti yali alaba ennaku gye nnalimu. Okusaba kwannyambanga okufuna obuweerero.”​—RAÚL.

“Okusaba kirabo kya muwendo nnyo Katonda kye yawa abantu.”​—ARNE.

María, Raúl, Arne, n’abalala bangi, okusaba bakutwala ng’ekirabo eky’omuwendo. Bawulira nti okuyitira mu kusaba, basobola okwogera ne Katonda, okumwebaza, n’okumusaba abayambe. Bakakafu nti ebigambo bino Bayibuli by’eyogera ku kusaba Katonda bituufu: “Buno bwe bwesige bwe tulina ku ye, nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.”​—1 Yokaana 5:14.

Ku luuyi olulala, abantu bangi kibazibuwalira okukkiriza ebigambo ebyo Bayibuli by’eyogera ku kusaba. Steve atubuulira engeri gye yali atwalamu okusaba. Agamba nti: “Bwe nnali wa myaka 17, mikwano gyange basatu baafiira mu bubenje. Omu yafiira mu kabenje k’emmotoka, ate abalala ababiri baafiira mu nnyanja.” Kiki Steve kye yakola. Agamba nti: “Nnasaba Katonda nga njagala okumanya ensonga lwaki ebizibu ebyo byantuukako, naye teyanziramu. Bwe kityo nneebuuza nti, ‘Ye lwaki mmala ebiseera okusaba?’” Abantu abamu bwe bawulira ng’essaala zaabwe teziddiddwamu, beebuuza obanga ddala kikulu okusaba.

Ate abalala balina ensonga endala ezibaleetera okulowooza nti okusaba si kikulu. Abamu bagamba nti olw’okuba Katonda amanyi byonna bye twetaaga n’ebizibu bye tulina, tekyetaagisa kumusaba.

Abalala balowooza nti Katonda tawuliriza ssaala zaabwe olw’ensobi ze baakola. Jenny agamba nti: “Muli mpulira nga siri wa mugaso. Waliwo ebintu bye nnakola bye nnejjusa, era kindeetera okuwulira nti sisaana kuwulirwa Katonda.”

Ggwe okusaba okutwala otya? Bwe kiba nti naawe wali weebuuzizzaako obanga kikulu okusaba, ebyo Bayibuli by’eyogera ku kusaba, bisobola okukuyamba. Tusobola okwesiga ebyo Bayibuli by’eyogera ku kusaba, a era Bayibuli esobola okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo nga bino:

  • Ddala Katonda awulira essaala zaffe?

  • Lwaki essaala ezimu Katonda taziddamu?

  • Oyinza kusaba otya okusobola okuwulirwa Katonda?

  • Okusaba kuyinza kukuyamba kutya?

a Bayibuli erimu essaala z’abaweereza ba Katonda bangi, nga mw’otwalidde n’ezo Yesu ze yasaba. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, abamu bye bayita Endagaano Enkadde, mulimu essaala ezisukka mu 150.