Bayibuli Erimu Amazima
Okuva edda n’edda, abantu okuva mu mbeera ez’enjawulo bakizudde nti Bayibuli erimu amazima. Leero, abantu bukadde na bukadde bagoberera ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Kyokka, abalala batwala Bayibuli ng’ekitabo ekyava edda ku mulembe. Ggwe olowooza otya? Ddala Bayibuli erimu amazima?
ENSONGA LWAKI WANDYESIZE BAYIBULI
Oyinza otya okukakasa obanga ddala Bayibuli erimu amazima? Lowooza ku kino: Singa mukwano gwo amaze emyaka mingi ng’ayogera amazima, awatali kubuusabuusa omutwala nga mwesigwa. Okufaananako ow’omukwano oyo omwesigwa, Bayibuli eyogera amazima? Weetegereze ebyokulabirako bino.
Abawandiisi Abeesimbu
Abaawandiika Bayibuli baali beesimbu, era emirundi mingi baawandiika ku nsobi zaabwe ne ku bunafu bwabwe. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Yona yawandiika ku bujeemu bwe. (Yona 1:1-3) Yakomekkereza ekitabo kya Bayibuli kye yawandiika ng’alaga engeri Yakuwa gye yamukangavvulamu, naye Yona teyeegulumiza ng’ayogera ku ngeri gye yatereezaamu endowooza ye. (Yona 4:1, 4, 10, 11) Obwesimbu abawandiisi ba Bayibuli bwe baayoleka bulaga nti baali baagala nnyo amazima.
Amagezi ag’Omuganyulo
Ddala Bayibuli erimu amagezi ag’omuganyulo? Awatali kubuusabuusa. Ng’ekyokulabirako, weetegereze Bayibuli ky’eyogera ku ngeri y’okukolaganamu obulungi n’abalala. Egamba nti: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.” (Matayo 7:12) Ate era egamba nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi, naye ekigambo eky’ekkayu kireeta obusungu.” (Engero 15:1) Mu butuufu, amazima agali mu Bayibuli ga mugaso nnyo leero nga bwe kyali nga yaakawandiikibwa.
Ebyafaayo Ebituufu
Waliwo ebintu bingi nnyo ebizuuliddwa ebiraga nti abantu, ebifo, n’ebintu ebirala ebyogerwako mu Bayibuli bituufu. Ng’ekyokulabirako, weetegereze obukakafu obuweebwa ku lunyiriri olumu mu Bayibuli. Bayibuli egamba nti mu kiseera kya Nekkemiya, Abatuulo (Abafoyiniikiya abaava mu Ttuulo) abaali babeera mu Yerusaalemi “baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi ebya buli ngeri.”—Nekkemiya 13:16.
Waliwo obukakafu bwonna obuwagira olunyiriri olwo? Yee, weebuli. Abanoonyereza ku bintu eby’edda baazuula ebyamaguzi eby’e Foyiniikiya mu Isirayiri, ekiraga nti amawanga ago gombi gaawanyisiganyanga ebyamaguzi. Okugatta ku ekyo, amagumba g’ebyennyanja ebisangibwa mu nnyanja Meditereniyani gaazuulibwa mu Yerusaalemi. Abanoonyereza ku bintu eby’edda bagamba nti ebyennyanja ebyo byaleetebwa basuubuzi abaavanga ku lubalama lw’ennyanja eyo. Oluvannyuma lw’okwekenneenya obukakafu obwo, omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Ebigambo ebiri mu Nekkemiya 13:16 ebiraga nti Abatuulo batundanga ebyennyanja mu Yerusaalemi bituufu.”
Ssaayansi ow’Amazima
Okusingira ddala, Bayibuli kitabo kya bya ddiini na byafaayo. Naye bwe kyogera ku bya ssaayansi, bye kyogera biba bituufu. Weetegereze ekyokulabirako kino.
Emyaka nga 3,500 emabega, Bayibuli yagamba nti ensi ‘tewali kigiwaniridde.’ (Yobu 26:7) Ekyo kyali kyawukana ku ebyo ebyali bigambibwa nti ensi etudde ku mazzi oba nti ewaniriddwa enfudu ennene. Nga wayise emyaka nga 1,100 oluvannyuma lw’ekitabo kya Yobu okuwandiikibwa, abantu baasigala bakkiriza nti ensi tesobola kuba ng’eri mu bbanga jjereere wabula nti walina okuba nga waliwo ekigiwaniridde. Emyaka nkumi ssatu emabega mu mwaka gwa 1687, Isaac Newton yawandiika ku ebyo bye yanoonyereza ku maanyi ga gravity era n’alaga nti waliwo amaanyi agatalabika agayamba ensi okusigala mu kifo kyayo. Ebyo bannassaayansi bye baazuula byakakasa nti ebyo Bayibuli bye yayogera emyaka egissuka mu 3,000 emabega byali bituufu!
Obunnabbi obw’Amazima
Obunnabbi obuli mu Bayibuli ddala butuufu? Lowooza ku kyokulabirako kino: Obunnabbi Isaaya bwe yayogera ku kuzikirizibwa kwa Babulooni.
Obunnabbi: Awo nga mu mwaka gwa 732 E.E.T., nnabbi Isaaya, omu ku bawandiisi ba Bayibuli yagamba nti Babulooni ekyali kigenda okuba ekibuga ekikulu eky’obufuzi kirimaanyi, kyandizikiriziddwa era ne kitaddamu kubeeramu bantu. (Isaaya 13:17-20) Isaaya yayogera ne ku musajja eyandikizikirizza, nga ye Kuulo. Ate era yayogera n’ekyo Kuulo kye yandikoze, bwe yagamba nti emigga ‘gyandikalidde.’ Era yagamba nti emiryango gy’ekibuga ekyo gyandisigadde nga miggule.—Isaaya 44:27–45:1.
Engeri gye Bwatuukirizibwamu: Oluvannyuma lw’emyaka nga 200, kabaka wa Buperusi yalumba Babulooni. Yali ayitibwa ani? Kuulo. Olw’okuba kyali kizibu okuyingira ekibuga Babulooni, Kuulo yasalawo okuwugula omugga Fulaati ogwali gwetooloola ekibuga ekyo. Abasajja be baasima omukutu ne bawugula amazzi g’omugga ogwo. Amazzi bwe gaakendeera, eggye lya Kuulo lyasobola okusala ne lituuka ku kibuga Babulooni. Ekyewuunyisa, Abababulooni baali balese enzigi z’ekibuga nga nzigule! Eggye lya Kuulo lyayingira ne lizikiriza ekibuga Babulooni.
Naye ddala Babulooni tekyaddamu kubeeramu bantu ng’obunnabbi bwe bwagamba? Okumala ebyasa ebiwerako, abantu baasigala bakibeeramu. Naye amatongo ga Babulooni agali okumpi n’ekibuga Baghdad, mu Iraq, bukakafu obulaga nti obunnabbi bwa Bayibuli obwo bwatuukirizibwa. Mazima ddala, Bayibuli yeesigika ne bw’eba eyogera ku binaabaawo mu biseera eby’omu maaso.