Engeri za Katonda Ze Ziruwa?
Gye tukoma okutegeera engeri z’omuntu gye tukoma okumumanya obulungi, era enkolagana yaffe n’omuntu oyo yeeyongera okunywera. Mu ngeri y’emu, gye tukoma okutegeera engeri za Yakuwa, gye tukoma okumumanya obulungi, era enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera. Ku ngeri za Katonda z’alina, engeri nnya ze zisinga obukulu: amaanyi, amagezi, obwenkanya, n’okwagala.
KATONDA ALINA AMAANYI MANGI
“Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Ggwe wakola eggulu n’ensi ng’okozesa amaanyi go amangi.”—YEREMIYA 32:17.
Obutonde bwoleka amaanyi ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, bw’oyimirira wabweru ng’omusana gwaka kiki ky’owulira ku lususu lwo? Owulira ebbugumu eriva ku njuba. Mu butuufu oba owulira amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda enjuba. Kigambibwa nti mu makkati g’enjuba waliwo ebbugumu lya diguli nga 27,000,000 Fahrenheit (15,000,000°C). Buli katikitiki, enjuba efulumya amaanyi agenkana obukadde n’obukadde bwa bbomu za nukiriya.
Kyokka, enjuba ntono nnyo bw’ogigeraageranya ku buwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye eziri mu bwengula. Bannassaayansi bateebereza nti emu ku mmunyeenye ezisingayo obunene eyitibwa UY Scuti, erina obugazi obukubisaamu obw’enjuba emirundi nga 1,700. Singa emmunyeenye eyo eteekebwa mu kifo enjuba w’eri, esobola okubuutikira ensi n’etuuka ne mu kkubo sseŋŋendo eyitibwa Jupiter mw’eyita. Oboolyawo ekyo kisobola okutuyamba okutegeera obulungi ebigambo bya Yeremiya bwe yagamba
nti, Yakuwa Katonda ye yatonda eggulu n’ensi, kwe kugamba, obwengula, ng’akozesa amaanyi ge amangi.Tuganyulwa tutya mu maanyi ga Katonda? Ebintu Katonda bye yatonda, gamba ng’enjuba n’ebintu ebirala ebirungi ebiri ku nsi, bye bibeesaawo obulamu bwaffe. Okugatta ku ekyo, Katonda akozesa amaanyi ge okuyamba abantu kinnoomu. Mu ngeri ki? Mu kyasa ekyasooka, Katonda yawa Yesu amaanyi okukola ebyamagero. Tusoma nti: ‘Abazibe b’amaaso baalaba, abalema baatambula, abagenge baawona ne balongooka, bakiggala baawulira, abafu baazuukizibwa.’ (Matayo 11:5) Ate kiri kitya leero? Bayibuli egamba nti: “Oyo akooye amuwa amaanyi,” era egattako nti: “Abo abateeka essuubi lyabwe mu Yakuwa bajja kuddamu okufuna amaanyi.” (Isaaya 40:29, 31) Katonda asobola okutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” ne tusobola okugumira ebizibu bye tufuna mu bulamu. (2 Abakkolinso 4:7) Ekyo tekikuleetera kusemberera Katonda akozesa amaanyi ge agataggwaawo mu ngeri ey’okwagala okusobola okutuyamba?
KATONDA ALINA AMAGEZI MANGI
“Bye wakola nga bingi, Ai Yakuwa! Byonna wabikola n’amagezi.”—ZABBULI 104:24.
Gye tukoma okuyiga ku bintu Katonda bye yatonda, gye tukoma okuwuniikirira olw’amagezi ge amangi. Mu butuufu, bannassaayansi bayiga ku bintu Yakuwa bye yatonda, ne bakoppa engeri gye byakolebwamu ne basobola okulongoosa mu bintu bye baba bakoze. Bakola ebintu ebitono n’ebinene, gamba ng’ennyonyi.
Amagezi ga Katonda gasinga kweyolekera mu ngeri omuntu gye yatondebwamu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri omubiri gw’omuntu gye gutandikamu okutondebwa. Okusooka enkwaso y’omusajja n’eggi ly’omukazi byegatta ne bivaamu akatoffaali kamu akalimu ebiragiro ebikwata ku ndagabutonde zonna ez’omubiri. Akatoffaali ako keegabanyaamu obutoffaali obulala bungi obufaanagana. Naye mu kiseera ekituufu, obutoffaali obwo buvaamu obutoffaali ebw’enjawulo obukola omubiri, gamba ng’obutoffaali obukola omusaayi, n’obukola amagumba. Oluvannyuma ebitundu by’omubiri bitandika okutondebwa n’okukola emirimu gyabyo. Mu myezi mwenda gyokka, mu katoffaali akaasooka muvaamu omubiri gw’omwana ogulimu obuwumbi n’obuwumbi bw’obutoffaali. Amagezi ga Katonda ageeyolekera mu bitonde gamba ng’omuntu, gaviirako bangi okukkiriziganya n’omuwandiisi wa Bayibuli eyagamba nti: “Nkutendereza kubanga nnakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa era ey’ekitalo.”—Zabbuli 139:14.
Tuyinza tutya okuganyulwa mu magezi ga Katonda? Omutonzi waffe amanyi bye twetaaga okusobola okuba abasanyufu. Olw’okuba alina okumanya n’okutegeera kungi, atuwa amagezi amalungi okuyitira mu Kigambo kye, Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etukubiriza nti: “Mweyongere . . . okusonyiwagananga.” (Abakkolosaayi 3:13) Ddala amagezi ago malungi? Yee. Okunoonyereza kulaga nti omuntu bw’aba ng’asonyiwa asobola okwebaka obulungi era n’okukendeeza ku puleesa. Era kiyinza n’okukendeeza ku mikisa gy’okufuna obulwadde bw’okwennyamira awamu n’endwadde endala. Katonda alinga ow’omukwano ow’amagezi afaayo ku mukwano gwe ng’amuyamba era ng’amuwa amagezi ag’omuganyulo. (2 Timoseewo 3:16, 17) Tewandyagadde kufuna wa mukwano ng’oyo?
KATONDA MWENKANYA
“Yakuwa ayagala obwenkanya.”—ZABBULI 37:28.
Bulijjo Katonda akola ekituufu. Mu butuufu, “tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi, tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!” (Yobu 34:10) Asala emisango mu bwenkanya. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Ojja kulamula abantu mu bwenkanya.” (Zabbuli 67:4) Olw’okuba “Yakuwa alaba ekiri mu mutima,” tasobola kulimbibwa era asobola okumanya ekituufu n’asala omusango mu bwenkanya. (1 Samwiri 16:7) Ate era Katonda amanyi buli kikolwa ekitali kya bwenkanya ekikolebwa ku nsi era asuubiza nti mu kiseera ekitali kya wala, ‘ababi bajja kumalibwawo mu nsi.’—Engero 2:22.
Kyokka, Katonda si mulamuzi mukambwe ayagala okubonereza obubonereza. Alaga ekisa bwe kiba kyetaagisa. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa musaasizi era wa kisa,” n’eri ababi ababa beenenyezza. Ekyo tekiraga nti mwenkanya?—Zabbuli 103:8; 2 Peetero 3:9.
Tuganyulwa tutya mu bwenkanya bwa Katonda? Omutume Peetero yagamba nti: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Tuganyulwa mu bwenkanya bwa Katonda kubanga tasosola. Asobola okutusembeza ne tufuuka baweereza be ka tube nga tuli ba ggwanga ki, tulina buyigirize ki, oba nga tuli mu mbeera ki.
Olw’okuba Katonda ayagala tutegeere obwenkanya bwe era tubuganyulwemu, yatuwa omuntu ow’omunda. Ebyawandiikibwa binnyonnyola omuntu ow’omunda ng’etteeka ‘eriwandiikiddwa mu mitima gyaffe,’ erituyamba okumanya obanga kye tukola kituufu oba kikyamu. (Abaruumi 2:15) Ekyo kituganyula kitya? Omuntu waffe ow’omunda bw’aba atendekeddwa bulungi, asobola okutuyamba obutakola kintu kibi. Ate singa tukola ekintu ekibi, asobola okutuleetera okwenenya n’okulekera awo okukikola. Mu butuufu, bwe tutegeera obwenkanya bwa Katonda kituyamba okuba n’enkolagana ennungi naye!
KATONDA KWAGALA
“Katonda kwagala.”—1 YOKAANA 4:8.
Katonda alina amaanyi n’amagezi era mwenkanya, naye Bayibuli tegamba nti Katonda maanyi, magezi, oba bwenkanya. Bayibuli egamba nti Katonda kwagala. Lwaki? Kubanga amaanyi ga Katonda gamusobozesa okukola ky’ayagala era obwenkanya bwe n’amagezi ge bimuyamba okumanya engeri y’okukolamu ebintu. Naye okwagala kwe kumukubiriza okubaako ky’akola. Okwagala kwe kumukubiriza okukola buli kimu.
Wadde nga Yakuwa yali talina ky’ajula, okwagala kwamukubiriza okutonda ebitonde ebitegeera ebiri mu ggulu ne ku nsi, nabyo bisobole okuganyulwa mu kwagala kwe. Yateekateeka ensi ebeere amaka g’abantu be yatonda. Era akyeyongera okulaga abantu bonna okwagala mu ngeri nti “omusana gwe agwakiza ababi n’abalungi, era enkuba agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Matayo 5:45.
Okugatta ku ekyo, “Yakuwa alina okwagala kungi era musaasizi.” (Yakobo 5:11) Ayagala nnyo abo abafuba okumanya ebimukwatako n’okumusemberera. Abafaako kinoomu. Mu butuufu, Katonda ‘akufaako.’—1 Peetero 5:7.
Tuganyulwa tutya mu kwagala kwa Katonda? Tunyumirwa okulaba enjuba ng’egwa. Tunyumirwa okuwulira ng’omwana aseka. Kitusanyusa okuwulira ng’ab’omu maka gaffe batwagala. Ebintu ebyo biyinza obutaba bikulu nnyo, naye bitusanyusa.
Ate era Katonda yatuwa enkizo ey’okusaba. Eyo ye ngeri endala gye tuganyulwa mu kwagala kwe. Bayibuli etukubiriza nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.” Okufaananako taata ayagala ennyo abaana be, Katonda ayagala tumubuulire byonna ebitweraliikiriza. Olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, atusuubiza nti ajja kutuwa ‘emirembe gye egisingira ewala okutegeera kwonna.’—Abafiripi 4:6, 7.
By’osomye mu katabo kano ebikwata ku ngeri za Katonda enkulu, gamba ng’amaanyi ge, amagezi ge, obwenkanya, n’okwagala kwe, bikuyambye okwongera okutegeera ky’ali? Okusobola okweyongera okutegeera Katonda, tukukubiriza okweyongera okumanya ebintu by’akoze ne by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso.
ENGERI ZA KATONDA ZE ZIRUWA? Yakuwa mwenkanya, mugezi era alina amaanyi mangi nnyo. Naye engeri ye esinga obukulu kwe kwagala