Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli ky’Eyogera ku Biseera eby’Omu Maaso

Bayibuli ky’Eyogera ku Biseera eby’Omu Maaso

KUBA akafaananyi ng’otambula ekiro. Wadde ng’obudde bwa kiro era ng’enzikiza ekutte, oli mugumu kubanga olina tooci eyaka obulungi. Bw’omulisa wansi, osobola okulaba ekintu ekikuli okumpi. Ate bw’omulisa mu maaso gy’olaga, osobola okulaba n’ekintu ekiri ewala.

Bayibuli eringa tooci eyo mu ngeri nnyingi. Nga bwe tulabye mu bitundu ebivuddeko, Bayibuli esobola okutuyamba mu bizibu bye tufuna kati. Naye Bayibuli ekola ekisingawo. Esobola n’okutuyamba okumanya ebikwata ku biseera eby’omu maaso, ne kitusobozesa okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri eneetusobozesa okufuna essanyu erya nnamaddala. (Zabbuli 119:105) Mu ngeri ki?

Ka tulabe engeri Bayibuli gy’etuwaamu essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso: 1 Etuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu, ate era 2 etuyigiriza engeri gye tusobola okuba n’enkolagana ennungi n’Omutonzi waffe.

1 OBULAMU OBW’AMAKULU

Bayibuli etuwa amagezi ageesigika agasobola okutuyamba okugonjoola ebizibu, naye ekola n’ekisingawo. Bayibuli tetukubiriza kulowooza ku bitukwatako byokka, naye etukubiriza n’okulowooza ku balala. Bwe tukola tutyo, obulamu bwaffe buba n’amakulu.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kyawandiikibwa ekigamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Wali oyambyeko omuntu eyali mu bwetaavu? Oboolyawo wawuliriza bulungi mukwano gwo ng’akubuulira ekizibu kye yalina. Tewawulira bulungi ng’oyambye omuntu alina ekizibu?

Tufuna essanyu lingi nnyo bwe tugaba nga tetusuubira kusasulwa. Omuwandiisi w’ebitabo omu yagamba nti: “Tekisoboka kugaba n’otafuna kisinga ku ekyo ky’ogabye​—nnaddala singa ogaba nga tosuubira kusasulwa kintu kyonna.” Bwe tuyamba abalala, nnaddala abo abatasobola kutusasula, tufuna empeera. Mu ngeri eyo tuba tulowoozezza ku bantu abalala. Mu butuufu, tuba tukolera wamu ne Katonda, era bwe tukolera abalala ebirungi, akitwala nti tuba tumuwoze. (Engero 19:17) Asiima nnyo ebyo bye tukolera abali mu bwetaavu, era asuubiza okutuwa empeera esingiridde ey’obulamu obutaggwaawo!​—Zabbuli 37:29; Lukka 14:12-14. *

N’ekisinga obukulu, Bayibuli etuyigiriza nti bwe tusinza Yakuwa Katonda ow’amazima, tusobola okuba n’obulamu obw’amakulu. Bayibuli etukubiriza okumugondera n’okumuwa ekitiibwa n’ettendo. (Omubuulizi 12:13; Okubikkulirwa 4:11) Bwe tukola bwe tutyo, tusanyusa Omutonzi waffe. Katonda atukubiriza nti: “Beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange.” (Engero 27:11) Kirowoozeeko ekyo! Bwe tugoberera amagezi agali mu Bayibuli nga tulina kye tusalawo, tusanyusa omutima gwa Kitaffe ow’omu ggulu. Lwaki? Kubanga atufaako era ayagala tugoberere obulagirizi bw’atuwa. (Isaaya 48:17, 18) Waliwo ekisinga okusinza Omufuzi w’obutonde bwonna, n’okweyisa mu ngeri esanyusa omutima gwe?

2 OKUBA N’ENKOLAGANA ENNUNGI N’OMUTONZI WAFFE

Bayibuli etubuulira kye tuyinza okukola okusobola okuba n’enkolagana ennungi n’Omutonzi waffe. Egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:8) Naye ddala tusobola okuba mikwano gya Katonda omuyinza w’ebintu byonna? Bayibuli etukakasa nti bwe ‘tunoonya Katonda’ tusobola ‘okumuzuula’ kubanga “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Okubeera mikwano gya Katonda kikwata nnyo ku biseera byaffe eby’omu maaso. Mu ngeri ki?

Lowooza ku kino: Okufa Bayibuli ekuyita “omulabe,” era ku lwaffe tetusobola kwewala mulabe oyo. (1 Abakkolinso 15:26) Naye Katonda ye abeerawo emirembe gyonna, era ayagala mikwano gye nabo babeerewo emirembe gyonna. Bayibuli eraga ekyo Yakuwa ky’ayagaliza mikwano gye. Egamba nti: “Ka banyumirwe obulamu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 22:26.

Kati olwo, oyinza otya okufuuka mukwano gwa Katonda? Weeyongere okusoma Bayibuli osobole okuyiga ebimukwatako. (Yokaana 17:3; 2 Timoseewo 3:16) Musabe akuyambe okutegeera ebyawandiikibwa. Bayibuli etukakasa nti bwe ‘tusaba Katonda’ atuwe amagezi, ajja kugatuwa. * (Yakobo 1:5) Ate era fuba okukolera ku ebyo by’oyiga, ekigambo kya Katonda kibeere ‘ettaala emulisiza ebigere byo’ era ‘ekitangaala ekimulisa ekkubo lyo.’​—Zabbuli 119:105.

^ lup. 8 Okumanya ebisingawo ebikwata ku kisuubizo kya Katonda eky’obulamu obutaggwaawo, laba essuula 3 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 13 Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu Bayibuli ku bwereere, era basobola okukuyamba okutegeera ebyawandiikibwa. Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba vidiyo erina omutwe ogugamba nti Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? Osobola okugisanga ku mukutu jw.org/lg.

Katonda abeerawo emirembe gyonna, era ayagala mikwano gye nabo babeerewo emirembe gyonna