Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olowooza Otya?

Olowooza Otya?

Bayibuli esobola okukuyamba okubeera mukwano gwa Katonda?

ABANTU ABAMU BAGAMBA NTI . . .

tebasobola kubeera mikwano gya Katonda kubanga bawulira nga boonoonyi nnyo era tebasaanira. Ate abalala bagamba nti Katonda tatufaako. Ggwe olowooza otya?

BAYIBULI KY’EGAMBA

Abagolokofu Katonda “abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” (Engero 3:32) Bwe tugondera Katonda, tusobola okubeera mikwano gye.

BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?

  • Katonda ayagala okubeera mukwano gwaffe.​—Yakobo 4:8.

  • Katonda mwetegefu okutuyamba n’okutusonyiwa ebibi byaffe.​—Zabbuli 86:5.

  • Mikwano gya Katonda baagala ebyo by’ayagala, era bakyawa ebyo by’akyawa.​—Abaruumi 12:9.