Yakuwa Atubudaabuda nga Tugezesebwa
“Katonda ow’okubudaabuda kwonna . . . atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.”
ENNYIMBA: 38, 56
1, 2. Yakuwa atubudaabuda atya nga tugezesebwa, era bukakafu ki Bayibuli bw’etuwa?
OW’OLUGANDA akyali omuvubuka era ali obwannamunigina, gwe tujja okuyita Eduardo, yayogerako ne Stephen, ow’oluganda omufumbo era omukadde mu kibiina. Eduardo yali afumiitiriza ku ebyo ebiri mu 1 Abakkolinso 7:28 awagamba nti: “Abo abayingira obufumbo bajja kubonaabona mu mibiri gyabwe.” Eduardo yabuuza Stephen nti: “Okubonaabona okwogerwako mu kyawandiikibwa ekyo kuzingiramu ki, era singa mpasa nnyinza ntya okukwaŋŋanga?” Stephen bwe yali tannaddamu kibuuzo ekyo, yagamba Eduardo asooke alowooze ku kintu ekirala omutume Pawulo kye yayogera. Pawulo yagamba nti Yakuwa ye “Katonda ow’okubudaabuda kwonna, atubudaabuda mu kubonaabona [“kugezesebwa,” obugambo obuli wansi] kwaffe kwonna.”
2 Yakuwa ye Kitaffe atwagala era atubudaabuda nga twolekagana n’embeera enzibu. Oyinza okuba ng’ojjukira engeri Katonda gy’azze akuyambamu era n’akuwa obulagirizi ng’oyolekaganye n’embeera enzibu, nga kino okusingira ddala akikoze okuyitira mu Kigambo
3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Bwe tumanya ekyo ekiba kiviiriddeko embeera enzibu gye twolekagana nayo, kisobola okutuyamba okugyaŋŋanga. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku kubonaabona kwe tufuna mu bufumbo oba mu maka. Ebimu ku bintu ebiviirako ‘okubonaabona mu mubiri’ Pawulo kwe yayogerako bye biruwa? Byakulabirako ki ebiri mu Bayibuli n’eby’omu kiseera kyaffe ebisobola okutuyamba nga twolekagana n’embeera enzibu? Okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo kijja kutuganyula nnyo.
‘OKUBONAABONA MU MUBIRI’
4, 5. Ebimu ku bintu ebireetera omwami n‘omukyala ‘okubonaabona mu mubiri’ bye biruwa?
4 Katonda bwe yamala okutonda abantu ababiri abaasooka, yagamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.” (Lub. 2:24) Yakuwa yayogera ebigambo ebyo ng’agatta abafumbo abaasooka. Kyokka olw’okuba tetutuukiridde, abantu ababiri bwe bafumbiriganwa ne batandika okubeera awamu, wajjawo okusoomooza okutali kumu. (Bar. 3:23) Omukazi bw’aba tannafumbirwa aba akolera ku bulagirizi bwa bazadde be, naye bw’amala okufumbirwa aba alina okutandika okukolera ku bulagirizi bw’omwami we. Katonda yawa omwami obuyinza okuba omutwe gwa mukazi we. (1 Kol. 11:3) Ekyo oluusi tekiba kyangu eri abo ababa baakayingira obufumbo. Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, omukyala aba alina okukikkiriza nti kati alina okukolera ku bulagirizi bw’omwami we so si ku bwa bazadde be. Oluusi enkolagana wakati w’omwami n’omukyala abaakayingira obufumbo n’ab’eŋŋanda zaabwe eyinza okubaleetera okubonaabona mu mubiri.
5 Ate era wayinza okubaawo okweraliikirira, ng’omukyala ategeezezza bbaawe nti ali lubuto. Wadde ng’omwami n’omukyala baba beesunga okuzaala omwana waabwe, emirundi egisinga batandika okweraliikirira ebikwata ku bujjanjabi obuneetaagisa ng’omukyala ali lubuto n’oluvannyuma lw’okuzaala. Ate era bakimanya nti kati kigenda kubeetaagisa okwongera okusaasaanya ssente ng’omukyala ali lubuto n’oluvannyuma lw’omwana okuzaalibwa. Ate era wabaawo n’enkyukakyuka endala eziggyawo ng’omwana azaaliddwa. Omukyala kati ebiseera bye ebisinga obungi n’ebirowoozo bye aba abimalira ku mwana. Mu mbeera ng’eyo, abasajja abasinga obungi batandika okuwulira nti bakyala baabwe tebakyabafaako. Ate era omwana bw’azaalibwa, obuvunaanyizibwa bw’omwami bweyongerako, kubanga kati mu maka muba muzzeemu omuntu omulala gw’alina okulabirira.
6-8. Obutazaala kiyinza kitya okuleetawo ennaku mu bufumbo?
6 Waliwo ekintu ekirala ekireetera abafumbo abamu okuba n’okubonaabona mu mubiri. Abamu baba baagala nnyo okuzaala naye omwana n’abula. Omukyala bw’alemwa okufuna olubuto, kiyinza okumuyisa obubi ennyo. Kyo kituufu nti okuyingira obufumbo oba okuzaala abaana tekimalaawo kweraliikirira, naye abafumbo abaagala omwana ne batamufuna baba ‘n’okubonaabona mu mubiri.’ (Nge. 13:12) Mu biseera by’edda, eky’okuzaala omwana kyatwalibwanga nga kikulu nnyo. Laakeeri, mukyala wa Yakobo, yanakuwala nnyo okulaba nga muganda we yali azaala ng’ate ye tazaala. (Lub. 30:1, 2) Abaminsani abaweereza mu nsi okuzaala gye kutwalibwa ng’ekintu ekikulu ennyo, batera okubabuuza ensonga lwaki tebalina baana. Ne bwe bafuba batya okunnyonnyola abantu, abantu batera okubagamba nti, “Bambi! Ka tubasabire!”
7 Ate lowooza ku mwannyinaffe omu mu Bungereza eyali ayagala ennyo okuzaala naye ne kitasoboka. Mwannyinaffe oyo agamba nti kyamuyisa bubi nnyo okukimanya nti yali tajja kusobola kuzaala mwana mu nteekateeka y’ebintu eno. Ye n’omwami we baasalawo okufunayo omwana gwe baba bakuza. Kyokka mwannyinaffe oyo yagamba nti: “Wadde ng’ekyo twakikola, nnasigala nkyali mwennyamivu. Nnali nkimanyi nti okukuza omwana gw’otozaala kyawukana ku kukuza omwana gwe weezaalidde.”
8 Bayibuli egamba nti “omukazi ajja kukuumibwanga okuyitira mu kuzaala.” (1 Tim. 2:15) Ekyo tekitegeeza nti okuzaala kuleetera omukazi okufuna obulamu obutaggwaawo. Wabula kitegeeza nti omukazi bw’aba n’abaana ab’okulabirira nga kw’otadde n’emirimu emirala gy’aba nagyo awaka, kiyinza okumuyamba obuteenyigira mu lugambo n’okweyingiza mu nsonga ezitamukwatako. (1 Tim. 5:13) Kyokka omukazi ne bw’azaala ayinza okuba n’ebizibu ebirala ebibaawo mu bufumbo.
9. Lwaki okufiirwa munno mu bufumbo kigezo kya maanyi?
9 Bwe tuba tulowooza ku kubonaabona okubaawo mu bufumbo, emirundi egisinga tetutera kulowooza ku kufa kw’omu ku bafumbo. Omuntu bw’afiirwa omwami we oba mukyala we, afuna obulumi obutagambika. Oyo aba asigaddewo ayinza okuba nga yali tasuubira kwolekagana na kubonaabona okwo mu nteekateeka y’ebintu eno. Abakristaayo bakkiririza mu kisuubizo kya Yesu ekikwata ku kuzuukira. (Yok. 5:28, 29) Ekisuubizo ekyo kikwata kitya ku oyo aba afiiriddwa munne mu bufumbo? Kimubudaabuda nnyo. Eyo y’emu ku ngeri Kitaffe atwagala ennyo gy’abudaabudamu abo ababonaabona ng’akozesa Ekigambo kye. Kati ka tulabe engeri Katonda gye yabudaabudamu abamu ku baweereza be.
OKUBUDAABUDIBWA NGA TWOLEKAGANA N’EBIZIBU
10. Kaana yabudaabudibwa atya ng’alina ekizibu eky’amaanyi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 4.)
10 Kaana, mukyala wa Erukaana, yalina ekizibu eky’amaanyi. Yali mugumba ate nga muggya we Penina ye azaala abaana. (Soma 1 Samwiri 1:4-7.) Penina yayeeyanga Kaana mwaka ku mwaka. Ekyo kyaleetera Kaana ennaku nnyingi. Kaana ensonga eyo yagitegeezaako Yakuwa. Yasaba Yakuwa “okumala ekiseera kiwanvu.” Ddala Kaana yali asuubira Yakuwa okuddamu okusaba kwe? K’abe nga yali akisuubira oba nedda, Kaana ‘yalekera awo okuba omunakuwavu.’ (1 Sam. 1:12, 17, 18) Yali mukakafu nti Yakuwa yandimusobozesezza okuzaala omwana oba nti yandimuyambye mu ngeri endala yonna.
11. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okubudaabudibwa?
11 Nga tukyali abantu abatatuukiridde era nga tuli mu nsi ya Sitaani eno, tujja kweyongera okwolekagana n’okugezesebwa okutali kumu. (1 Yok. 5:19) Kyokka kitusanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa ye “Katonda ow’okubudaabuda kwonna”! Ekintu ekimu ekisobola okutuyamba nga twolekagana n’okugezesebwa kwe kusaba. Kaana yeeyabiza Yakuwa. Naffe bwe tufuna ebizibu, tetusaanidde kukoma ku kutegeeza butegeeza Yakuwa kizibu kyaffe. Tusaanidde okumwegayirira, ne tumubuulira ekyo ddala ekituli ku mutima.
12. Kiki ekyayamba nnamwandu ayitibwa Ana okufuna essanyu?
12 Ne bwe tuba nga tulina ennaku ku mutima olw’obutasobola kuzaala oba olw’okufiirwa omuntu waffe, tusobola okubudaabudibwa. Mu kiseera kya Yesu, waaliwo nnabbi omukazi eyali ayitibwa Ana eyafiirwa bbaawe nga yaakabeera naye emyaka musanvu gyokka. Bayibuli teraga nti Ana yalina abaana. Naye kiki Ana kye yali akyakola ne bwe yali nga wa Lukka 2:37 wagamba nti: “Teyayosanga kugenda mu yeekaalu, nga yeenyigira mu buweereza obutukuvu emisana n’ekiro, ng’asiiba era nga yeegayirira Katonda.” Okusinza Yakuwa kyayamba Ana okubudaabudibwa n’okufuna essanyu.
myaka 84?13. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri emikwano egya nnamaddala gye giyinza okutubudaabuda ng’ab’eŋŋanda zaffe bavudde ku Yakuwa.
13 Bwe tuteeyawula ku bakkiriza bannaffe kisobola okutuyamba okufuna emikwano egy’oku lusegere abasobola okutubudaabuda. (Nge. 18:24) Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Paula yanakuwala nnyo maama we bwe yava ku Yakuwa. Paula tekyamwanguyira kwaŋŋanga mbeera eyo. Naye payoniya omu ayitibwa Ann eyali mu kibiina kye bwe yakiraga nti amufaako kyamuzzaamu nnyo amaanyi. Paula agamba nti: “Wadde nga Ann simulinaku luganda, yannyamba nnyo. Yannyamba okweyongera okuweereza Yakuwa.” N’okutuusa leero, Paula akyaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ate era musanyufu nnyo okulaba nti kati ne maama we yaddamu okuweereza Yakuwa. Ann naye musanyufu olw’okuba yali nga maama wa Paula mu by’omwoyo.
14. Abo abafaayo ku balala baganyulwa batya?
14 Bwe tufaayo ku balala nakyo kisobola okutuyamba okubudaabudibwa. Bannyinaffe, abafumbo n’abatali bafumbo, bakirabye nti kibaleetera essanyu lingi okukolera awamu ne Katonda nga babuulira abalala amawulire amalungi. Bakola Katonda by’ayagala okusobola Baf. 2:4) Omutume Pawulo yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Pawulo yalinga “maama ayonsa” eri abo abaali mu kibiina ky’e Ssessalonika era yalinga kitaabwe mu by’omwoyo.
OKUBUDAABUDIBWA MU MAKA
15. Okusingira ddala baani abalina obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abaana amazima?
15 Abantu abalala be tusaanidde okufaako beebo abalina amaka. Oluusi abantu abapya mu kibiina bayinza okusaba ababuulizi abakulu okubayambako mu kuyigiriza abaana baabwe Bayibuli. Ebyawandiikibwa biraga nti abazadde be baakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza n’okutendeka abaana baabwe. (Nge. 23:22; Bef. 6:1-4) Kyokka mu mbeera ezimu kiba kyetaagisa okuyamba ku bazadde abamu okuyigiriza abaana baabwe era obuyambi obwo busiimibwa nnyo. Naye ekyo tekiggyawo buvunaanyizibwa Katonda bwe yawa abazadde. Kikulu abazadde okwogerangako n’abaana baabwe.
16. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga tuyigiriza abaana?
16 Singa omuzadde abaako omuntu gw’asaba okuyigiriza abaana be, oyo gwe baba bakwasizza omulimu ogwo talina kwezza buvunaanyizibwa bwa muzadde. Oluusi Abajulirwa ba Yakuwa abamu basabibwa okuyigiriza abaana abalina bazadde baabwe abatayagala kuyiga Bayibuli. Abo ababa bakwasiddwa obuvunaanyizibwa obwo basaanidde okukijjukira nti, wadde nga bayamba abaana abo mu by’omwoyo, ekyo tekibafuula bazadde b’abaana abo. Ate era bwe baba basoma n’abaana abo kyandibadde kya magezi ne basomera awaka w’abaana abo nga bazadde baabwe weebali oba nga bali wamu n’omubuulizi omulala omukulu oba nga bali mu kifo ekya lukale. Mu ngeri eyo, kiba kizibu abantu abalala okutandika okutulowooleza ebintu ebikyamu nga tuyiga n’abaana abo. Kisuubirwa nti ekiseera bwe kigenda kiyitawo, bazadde b’abaana abo bajja kusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yabakwasa obw’okuyamba abaana baabwe mu by’omwoyo.
17. Abaana bayinza batya okuyamba ab’omu maka okubudaabudibwa?
17 Abaana abaagala Katonda era abakwata amateeka ge basobola okuleetera ab’omu maka okubudaabudibwa. Ekyo basobola okukikola nga bassa ekitiibwa mu bazadde baabwe era nga babayamba mu bintu ebitali bimu. Ate era basobola okuganyula ab’omu maka mu by’omwoyo. Amataba bwe gaali tegannabaawo omusajja ayitibwa Lameka, muzzukulu wa Seezi, yali asinza Yakuwa. Bwe yali ayogera ku mutabani we Nuuwa, Lameka yagamba nti: “Ono y’alituleetera okubudaabudibwa mu mirimu gyaffe ne mu kutegana kw’emikono gyaffe okw’obulumi, olw’ettaka Yakuwa lye yakolimira.” Obunnabbi obwo bwatuukirizibwa Yakuwa bwe yaggyawo ekikolimo ekikwata ku ttaka. (Lub. 5:29; 8:21) Ne leero, abaana abaweereza Yakuwa n’obwesigwa basobola okuleetera ab’omu maka gaabwe okubudaabudibwa. Basobola okubayamba okugumira ebizibu ebiriwo mu nsi leero n’ebyo ebijja mu maaso.
18. Biki ebisobola okutuyamba okugumira ebizibu bye tufuna?
18 Okusaba, okufumiitiriza ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli, n’okubeera awamu n’abantu ba Yakuwa, kiyambye abantu bangi nnyo leero okubudaabudibwa. (Soma Zabbuli 145:18, 19.) Okukimanya nti Yakuwa ye nsibuko y’okubudaabuda kwonna kituyamba okugumira ebizibu byonna bye twolekagana nabyo kati era kijja kutuyamba okugumira n’ebizibu ebijja mu maaso.