Obadde Okimanyi?
Kyali kituufu okuyita abasuubuzi abaali batundira ebisolo mu yeekaalu ‘abanyazi’?
ENJIRI ya Matayo egamba nti: “Yesu n’ayingira mu yeekaalu n’agobamu abo bonna abaali batundiramu ebintu n’abo abaali babigula, era n’avuunika emmeeza z’abo abaali bavungisa ssente n’entebe z’abo abaali batunda amayiba. N’abagamba nti: ‘Kyawandiikibwa nti, “Ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu,” naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.’”
Ebyafaayo biraga nti abasuubuzi mu yeekaalu babbanga abaguzi nga babatunza ebintu ku buseere. Ng’ekyokulabirako, ekiwandiiko ekimu eky’Abayudaaya ekiyitibwa Mishnah (Keritot 1:7) kigamba nti mu kyasa ekyasooka, waaliwo ekiseera bbeeyi y’enjiibwa ezaaweebwangayo nga ssaddaaka bwe yatuuka ku ddinaali emu eya zzaabu. Omuntu owa bulijjo kyali kimwetaagisa okukolera ennaku 25 okuweza ssente ezo. Abantu abaavu, bakkirizibwanga okuwaayo enjiibwa oba amayiba nga ssaddaaka, naye kati zaali zifuuse za buseere nnyo nga tebakyasobola kuzigula. (Leev. 1:14; 5:7; 12:6-8) Labbi omu ayitibwa Simeon ben Gamaliel, kyamuluma nnyo okulaba ng’abantu banyigirizibwa, bw’atyo n’akendeereza ddala omuwendo gwa ssaddaaka abantu ze baalina okuwaayo ne kiba nti bbeeyi y’amayiba yakka nnyo, amayiba abiri ne gatuuka okugula kimu kya kikumi ekya ddinaali eya zzaabu.
Bw’olowooza ku ebyo byonna okiraba nti Yesu teyali mukyamu kuyita basuubuzi abo ‘abanyazi.’