Yakuwa Akulembera Abantu Be
“Yakuwa ajja kubakulemberanga ekiseera kyonna.”
ENNYIMBA: 152, 22
1, 2. (a) Abajulirwa ba Yakuwa baawukana batya ku madiini amalala? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako?
ABANTU batera okubuuza Abajulirwa ba Yakuwa nti: “Omukulembeze wammwe y’ani?” Babuuza ekibuuzo ekyo kubanga mu madiini mangi wabeerawo omusajja oba omukazi abakulembera. Naye tuba basanyufu okubategeeza nti Omukulembeze waffe si muntu buntu atatuukiridde, wabula nti ye Yesu Kristo. Era tubategeeza nti Yesu naye akolera ku bulagirizi bw’Omukulembeze era Kitaawe, Yakuwa.
2 Kyokka waliwo abasajja abatonotono, abayitibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” abatwala obukulembeze mu bantu ba Katonda ku nsi leero. (Mat. 24:45) Naye tumanya tutya nti Yakuwa atukulembera ng’ayitira mu Mwana we? Mu kitundu kino n’ekiddako tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’azze akozesaamu abantu abatali bamu okukulembera abantu be. Ebitundu bino byombi bigenda kulaga ebintu bisatu ebitukakasa nti ddala Yakuwa y’abadde akozesa abasajja abo, era ekyo kijja kutukakasa nti okuva edda n’edda Yakuwa abadde akulembera abantu be era nti akyabakulembera.
OMWOYO OMUTUKUVU GWABAYAMBA
3. Kiki ekyasobozesa Musa okukulembera Abayisirayiri?
3 Omwoyo omutukuvu gwayamba abasajja Katonda be yakozesa. Lowooza ku Musa, Yakuwa gwe yalonda okukulembera Abayisirayiri. Kiki ekyayamba Musa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi obwamukwasibwa? Yakuwa yamuwa “omwoyo gwe omutukuvu.” (Soma Isaaya 63:11-14.) Okuva bwe kiri nti Yakuwa yawa Musa omwoyo gwe omutukuvu, kiraga nti Yakuwa ye yali akulembera abantu be.
4. Kiki ekiraga nti Musa yalina omwoyo gwa Katonda? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.)
4 Okuva bwe kiri nti omwoyo omutukuvu tegulabika, Abayisirayiri banditegedde batya nti Musa yalina omwoyo omutukuvu? Omwoyo omutukuvu gwasobozesa Musa okukola ebyamagero n’okumanyisa Falaawo erinnya lya Yakuwa. (Kuv. 7:1-3) Ate era omwoyo omutukuvu gwayamba Musa okwoleka engeri ennungi, gamba ng’okwagala, obwetoowaze, n’obugumiikiriza, ekyo ne kimusobozesa okukulembera obulungi Abayisirayiri. Musa yali wa njawulo nnyo ku bakulembeze b’amawanga amalala abaali abakambwe era nga beerowoozaako bokka! (Kuv. 5:2, 6-9) Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa yali alonze Musa okukulembera abantu be.
5. Baani abalala Yakuwa be yawa omwoyo gwe omutukuvu okukulembera abantu be?
5 Waliwo n’abasajja abalala Yakuwa be yawa omwoyo gwe omutukuvu n’abakozesa okukulembera abantu be. “Yoswa mutabani wa Nuuni yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi.” (Ma. 34:9) ‘Omwoyo gwa Yakuwa gwajja ku Gidiyoni.’ (Balam. 6:34) Era ‘omwoyo gwa Yakuwa gwakolera ku Dawudi.’ (1 Sam. 16:13) Omwoyo gwa Katonda gwe gwayamba abasajja abo bonna ne basobola okukola ebintu bye batandisobodde kukola mu maanyi gaabwe. (Yos. 11:16, 17; Balam. 7:7, 22; 1 Sam. 17:37, 50) Bwe kityo, Yakuwa ye yaweebwa ettendo n’ekitiibwa olw’ebyo bye baakola.
6. Lwaki Katonda yali yeetaagisa abantu be okugondera abasajja be yalonda okubakulembera?
6 Abayisirayiri baalina kweyisa batya oluvannyuma lw’okukiraba nti abasajja abo baaliko omwoyo omutukuvu? Abayisirayiri bwe beemulugunya ku Musa, Yakuwa yabuuza nti: “Abantu bano balituusa wa obutanzisaamu kitiibwa?” (Kubal. 14:2, 11) Mu butuufu, Yakuwa yalonda Musa, Yoswa, Gidiyoni, ne Dawudi okukulembera abantu be. N’olwekyo, Abayisirayiri baalina okugondera abasajja abo, era ekyo bwe bandikikoze kyandiraze nti bakkirizza Yakuwa okuba Omufuzi waabwe.
BAMALAYIKA BAABAYAMBA
7. Bamalayika baayamba batya Musa?
7 Bamalayika baayamba abasajja Katonda be yakozesa. (Soma Abebbulaniya 1:7, 14.) Yakuwa yakozesa bamalayika okuwa Musa obulagirizi. Bayibuli egamba nti Yakuwa yatuma Musa “okubeera omufuzi era omununuzi ng’ayitira mu malayika eyamulabikira mu kisaka.” (Bik. 7:35) Amateeka Katonda ge yawa Musa ‘yagayisa mu bamalayika’ era Musa yagakozesa okuyigiriza Abayisirayiri. (Bag. 3:19) Yakuwa era yagamba Musa nti: “Genda otwale abantu mu kifo kye nnakutegeezaako. Laba! Malayika wange agenda kukukulemberamu.” (Kuv. 32:34) Bayibuli tekiraga nti Abayisirayiri baalaba n’amaaso gaabwe malayika ng’akola ebintu ebyo. Naye engeri Musa gye yali abayigirizaamu n’engeri gye yabawaamu obulagirizi yali ekiraga nti ddala bamalayika baali bamuyamba.
8. Bamalayika baayamba batya Yoswa ne Keezeekiya?
8 Bayibuli eraga nti, “omulangira w’eggye lya Yakuwa” yayamba Yoswa okulwanyisa Abakanani n’abawangula. (Yos. 5:13-15; 6:2, 21) Ate era, mu kiseera kya Kabaka Keezeekiya, eggye lya Bwasuli eddene ennyo bwe lyali lyagala okulumba Yerusaalemi, mu kiro kimu, ‘malayika wa Yakuwa yagenda mu lusiisira lw’Abaasuli n’atta abasajja 185,000.’
9. Okuba nti abasajja Yakuwa be yakozesa okukulembera abantu be baali tebatuukiridde, kyandireetedde Abayisirayiri okubajeemera? Nnyonnyola.
9 Wadde nga bamalayika baali batuukiridde, abasajja abo be baayamba baali tebatuukiridde. Lumu Musa teyatukuza linnya lya Yakuwa. (Kubal. 20:12) Yoswa yakola endagaano n’Abagibiyoni nga tasoose kwebuuza ku Yakuwa. (Yos. 9:14, 15) Ate ye Keezeekiya waliwo ekiseera ‘omutima gwe lwe gwafuna amalala.’ (2 Byom. 32:25, 26) Wadde ng’abasajja abo baali tebatuukiridde, Yakuwa yali yeetaagisa Abayisirayiri okubagondera. Yakuwa yali ayamba abasajja abo ng’akozesa bamalayika be. Kyeyoleka lwatu nti, Yakuwa yali akulembera abantu be.
BAAKOLERANGA KU BULAGIRIZI OBULI MU KIGAMBO KYA KATONDA
10. Musa yakolera atya ku Mateeka ga Katonda?
10 Abantu Katonda be yakozesa baakoleranga ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye. Bayibuli eraga nti Amateeka agaaweebwa Abayisirayiri gayitibwa ‘Amateeka ga Musa.’ (1 Bassek. 2:3) Kyokka Bayibuli eraga nti Yakuwa ye yawa Abayisirayiri amateeka ago era ne Musa yalina okugagondera. (2 Byom. 34:14) Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yagamba Musa okuzimba weema entukuvu, “Musa yakola byonna nga Yakuwa bwe yamulagira. Bw’atyo bwe yakolera ddala.”
11, 12. (a) Kiki Yoswa ne bakabaka abaafuganga abantu ba Katonda kye baalina okukola? (b) Ekigambo kya Katonda kyayamba kitya abasajja abaakulemberanga abantu ba Katonda?
11 Yoswa bwe yatandika okukulembera Abayisirayiri, Katonda yamulagira okusoma Ekigambo kye. Yamugamba nti: “Onookisomanga n’okifumiitirizangako emisana n’ekiro, osobole okukolera ku ebyo byonna ebikirimu.” (Yos. 1:8) Era oluvannyuma ne bakabaka abaafuga abantu ba Katonda ekyo baalina okukikola. Baalina okusoma Amateeka ga Katonda buli lunaku, okugakoppolola, ‘n’okukwata ebigambo byonna eby’Amateeka ago n’ebiragiro nga babikolerako.’
12 Ekigambo kya Katonda kyayamba kitya abasajja abaakulemberanga abantu ba Katonda? Lowooza ku Kabaka Yosiya. Ekiwandiiko okwali Amateeka ga Musa bwe kyazuulibwa, omuwandiisi wa Yosiya yakimusomera. * Ebyo bye baamusomera byamukwatako bitya? Bayibuli egamba nti: “Kabaka olwawulira ebigambo ebiri mu kitabo ky’Amateeka, n’ayuza ebyambalo bye.” Kyokka waliwo n’ekintu ekirala kye yakola. Ng’akolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, Yosiya yasaanyaawo ebifaananyi ebyali bisinzibwa era n’ategeka embaga ey’Okuyitako ku kigero ekyali kitabangawo okuviira ddala mu biseera by’abalamuzi. (2 Bassek. 22:11; 23:1-23) Olw’okuba Yosiya n’abasajja abalala abeesigwa baakolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, baali beetegefu okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa mu bulagirizi bwe baali bawa abantu ba Katonda. Ekyo kyayamba abantu ba Katonda okukola Katonda by’ayagala.
13. Njawulo ki eyaliwo wakati w’abakulembeze b’abantu ba Katonda n’abakulembeze b’amawanga amalala?
13 Bakabaka abeesigwa abaakulemberanga abantu ba Katonda baali ba njawulo nnyo ku bakabaka b’amawanga amalala. Bakabaka b’amawanga amalala baakoleranga ku magezi g’abantu! Ng’ekyokulabirako, bakabaka ba Kanani n’abantu be baafuganga, baakolanga ebintu ebibi ennyo, gamba ng’okwegatta n’abantu be baalinako oluganda, okulya ebisiyaga, okwegattanga n’ensolo, okusaddaaka abaana, n’okusinza ebifaananyi. (Leev. 18:6, 21-25) Ate era abafuzi ba Babulooni ne Misiri tebaalina mateeka agakwata ku buyonjo ng’ago Katonda ge yawa Abayisirayiri. (Kubal. 19:13) Kyokka bo abasajja abeesigwa abaakulemberanga abantu ba Katonda baakubirizanga abantu okusigala nga bayonjo mu by’omwoyo, mu mpisa, ne mu mubiri. Mu butuufu, Yakuwa yali abakozesa okukulembera abantu be.
14. Lwaki Yakuwa yabonereza abamu ku bakulembeze b’abantu be?
14 Kyokka tekiri nti abasajja bonna abaakulemberanga abantu ba Katonda baakwatanga amateeka ge. Abo abataagondera Katonda baagaana okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda, ku bulagirizi bwa bamalayika be, ne ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye. Abamu ku bo Katonda yababonereza, ate abalala yabaggyako obukulembeze n’abukwasa abalala. (1 Sam. 13:13, 14) Kyokka ekiseera kyatuuka Katonda n’alonda omukulembeze atuukiridde okukulembera abantu be.
YAKUWA ALONDA OMUKULEMBEZE ATUUKIRIDDE
15. (a) Bannabbi baakiraga batya nti Yakuwa yandironze omukulembeze ow’enjawulo okukulembera abantu be? (b) Omukulembeze oyo y’ani?
15 Okumala ebyasa bingi, Yakuwa yakozesa bannabbi be okulaga nti ekiseera kyandituuse n’alonda omukulembeze ow’enjawulo okukulembera abantu be. Musa yagamba Abayisirayiri nti: “Yakuwa Katonda wo alikuwa nnabbi okuva mu baganda bo alinga nze. Omuwulirizanga.” (Ma. 18:15) Isaaya yagamba nti Oyo yali ajja kuba “mukulembeze era mufuzi.” (Is. 55:4) Ne Danyeri yagamba nti Masiya yali ajja kuba ‘Mukulembeze.’ (Dan. 9:25) Yesu Kristo kennyini yakiraga nti ‘Mukulembeze’ w’abantu ba Katonda. (Soma Matayo 23:10.) Abayigirizwa ba Yesu baamugoberera awatali kuwalirizibwa era baali bakakafu nti ddala Yakuwa yali amulonze okubakulembera. (Yok. 6:68, 69) Biki ebyabakakasa nti Yakuwa yali akozesa Yesu Kristo okubakulembera?
16. Kiki ekiraga nti Yesu yaliko omwoyo omutukuvu?
16 Omwoyo omutukuvu gwasobozesa Yesu okukola ebintu ebitali bimu. Yesu bwe yabatizibwa, Yokaana Omubatiza “yalaba eggulu nga libikkuka, era n’omwoyo nga [gukka ku Yesu] nga gulinga ejjiba.” Oluvannyuma, omwoyo gwaleetera Yesu okugenda mu ddungu. (Mak. 1:10-12) Era omwoyo gwasobozesa Yesu okukola ebyamagero n’okubuulira. (Bik. 10:38) Ate era, omwoyo gwasobozesa Yesu okwoleka engeri ennungi, gamba ng’okwagala, essanyu, n’okukkiriza okw’amaanyi. (Yok. 15:9; Beb. 12:2) Tewali mufuzi mulala yali nga Yesu. Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa yali alonze Yesu okukulembera abantu be.
17. Bintu ki bamalayika bye baakola okuyamba Yesu?
17 Bamalayika baayamba Yesu. Bwe waali wayise ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yesu okubatizibwa, ‘bamalayika bajja ne bamuweereza.’ (Mat. 4:11) Era Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, ‘malayika yava mu ggulu n’amulabikira, n’amuzzaamu amaanyi.’ (Luk. 22:43) Yesu yali mukakafu nti Yakuwa yandimusindikidde bamalayika okumuyamba ekiseera kyonna we yandyetaagidde obuyambi.
18, 19. Kiki ekiraga nti Yesu yanywerera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda mu bye yakolanga ne bye yayigirizanga?
18 Yesu yakolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Mu bbanga lyonna lye yamala ng’aweereza ku nsi, Yesu yakoleranga ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa. (Mat. 4:4) Mu butuufu, mu bigambo Yesu bye yasembayo okwogera nga tannaffa, yajuliza ebyawandiikibwa ebitali bimu ebyogera ku Masiya. (Mat. 27:46; Luk. 23:46) Kyokka bo abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali tebassa kitiibwa mu Kigambo kya Katonda. Ng’ajuliza ebigambo Yakuwa bye yayogera okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yesu yagamba nti: “Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala. Batawaanira bwereere okunsinza, kubanga bayigiriza biragiro bya bantu.” (Mat. 15:7-9) Ddala Yakuwa yali asobola okulonda omu ku basajja abo okukulembera abantu be?
19 Yesu yanywerera ku Kigambo kya Katonda mu bye yakolanga ne mu bye yayigirizanga. Abakulembeze b’eddiini bwe baamuwakanyanga, teyakozesanga magezi ge okubaddamu. Mu kifo ky’ekyo, yakozesanga Ebyawandiikibwa okubaddamu. (Mat. 22:33-40) Era mu kifo ky’okudda awo okusamaaliriza abantu ng’abanyumiza emboozi ezikwata ku bulamu bwe yalimu ng’ali mu ggulu oba ku ngeri omulimu gw’okutonda gye gwatambulamu, ‘yaggula ebirowoozo byabwe basobole okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa.’ (Luk. 24:32, 45) Yesu yali ayagala nnyo Ekigambo kya Katonda era yali ayagala nnyo okukibuulirako abalala.
20. (a) Yesu yakiraga atya nti assa ekitiibwa mu Katonda? (b) Njawulo ki eyaliwo wakati wa Yesu ne Kerode Agulipa I, era ekyo kiraga ki?
20 Wadde ng’abantu beewuunyanga Yesu ‘olw’ebigambo ebirungi’ bye yayogeranga, ettendo n’ekitiibwa Yesu yabiwanga Omuyigiriza we, Yakuwa. (Luk. 4:22) Lumu omusajja omugagga bwe yagezaako okugulumiza Yesu n’amuyita “Omuyigiriza Omulungi,” Yesu yayoleka obwetoowaze n’agamba omusajja oyo nti: “Lwaki ompita omulungi? Teri mulungi, okuggyako Katonda.” (Mak. 10:17, 18) Kyokka, nga wayise emyaka nga munaana, Kerode Agulipa I yafuuka kabaka wa Buyudaaya. Kerode yali wa njawulo nnyo ku Yesu! Lumu, ku lukuŋŋaana olw’enjawulo, Kerode yayambala “ekyambalo ky’obwakabaka.” Abantu bwe baamulaba era ne bawulira by’ayogera baayogerera waggulu nti: “Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu!” Olw’okuba Kerode yali ayagala nnyo okutenderezebwa, teyawa Katonda kitiibwa. Bwe kityo, ‘malayika wa Yakuwa yamulwaza, n’aliibwa envunyu n’afa.’ (Bik. 12:21-23) Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa yali talonze Kerode kuba mukulembeze w’abantu be. Naye Yesu yakyoleka kaati nti Yakuwa yali amulonze okuba omukulembeze. Yawanga Yakuwa ekitiibwa n’ettendo n’akiraga nti Yakuwa ye yali Omukulembeze ow’oku ntikko ow’abantu be.
21. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
21 Yakuwa yali ayagala Yesu akulembere abantu be okumala emyaka mitono? Nedda. Bwe yamala okuzuukira, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” Yagattako nti: “Laba! Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:18-20) Naye Yesu yandisobodde atya okukulembera abantu ba Katonda ate ng’ali mu ggulu? Baani Yakuwa be yandikozesezza okukiikirira Yesu ku nsi okukulembera abantu be? Era Abakristaayo bandisobodde batya okutegeera abantu abo? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
^ lup. 12 Kirabika kino kye kiwandiiko Musa kennyini kye yawandiika.