KUBUUZA BIBUUZO | ANTONIO DELLA GATTA
Ensonga Lwaki Omusosodooti Yava mu Ddiini Ye
OLUVANNYUMA lw’okumala emyaka mwenda ng’asoma mu Rooma, Antonio Della Gatta yatikkirwa ng’omusosodooti mu 1969. Oluvannyuma yakulirako essomero erimu eritendeka abasosodooti eriri okumpi n’ekibuga Naples, mu Yitale. Naye oluvannyuma lw’okusoma ennyo n’okufumiitiriza, yakiraba nti enzikiriza z’eddiini y’Ekikatuliki tezeesigamiziddwa ku Bayibuli. Yayogerako n’abawandiisi ba Awake! ku ngeri gye yafubamu okunoonya amazima.
Tubuulire ebikukwatako.
Nnazaalibwa mu Yitale mu 1943. Nnakulira wamu ne baganda bange ne bannyinaze mu kaalo akamu mu Yitale. Taata yali mulimi era nga mubazzi. Bazadde baffe baali Bakatuliki era baafuba nnyo okututendeka mu ddiini y’Ekikatuliki.
Lwaki wayagala okufuuka omusosodooti?
Bwe nnali omuto, nnayagalanga nnyo okuwuliriza abasosodooti nga bayigiriza. Nnanyumirwanga nnyo engeri gye baayogerangamu, n’ebintu bye baakolanga. Bwe kityo nange nnawulira nga njagala okuba omusosodooti. Bwe nnali wa myaka 13, maama yantwala mu ssomero ly’ekisulo eryali ery’abalenzi bokka, era eryali litendeka abaana abaali baagala okufuuka abasosodooti nga bakuze.
Mwakozesanga Bayibuli mu kutendekebwa kwammwe?
Nedda. Naye bwe nnali wa myaka 15, omu ku basomesa bange yampa ekitabo ekyalimu ebitabo by’Enjiri ebyogera ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe, era nnakisoma enfunda n’enfunda. Bwe nnali wa myaka 18, nnagenda mu Rooma okusomera mu emu mu yunivasite ezikulirwa ppaapa. Nnasoma Olulattini, Oluyonaani, ebyafaayo, obufirosoofo, embeera z’abantu, n’eby’eddiini. Wadde nga waliwo ennyiriri ezimu okuva mu Bayibuli ze twayogeranga ng’ebikwate, era nga twawuliranga n’ebitundu ebimu okuva mu Bayibuli nga bisomebwa ku Ssande, tetwayigirizibwa Bayibuli.
Wali okulira ettendekero erimu ery’abasosodooti, obuvunaanyizibwa obwo bwali buzingiramu n’okuyigiriza?
Okusingira ddala obuvunaanyizibwa bwange bwali bwa kuddukanya ttendekero eryo. Naye nnasomesaako ku ssomo erikwata mateeka g’ekkereziya.
Lwaki watandika okubuusabuusa eddiini y’Abakatuliki?
Waliwo ebintu bisatu ebyambobbyanga omutwe. Kkereziya yali yeenyigira mu by’obufuzi. Ebikolwa ebibi ebyakolebwanga abasosodooti n’abalala abaabeeranga mu kigo byalinga bibuusibwa amaaso. Ate era enjigiriza ezimu ez’Abakatuliki zaali tezikola makulu gye ndi. Ng’ekyokulabirako, ddala Katonda alina okwagala asobola okubonereza abantu emirembe gyonna oluvannyuma lw’okufa? Ddala Katonda ayagala tumusabe nga tuddiŋŋana ebigambo bye bimu nga tukozesa ssappuli? *
Kiki kye wakola?
Nnasaba Katonda ampe obulagirizi nga bwe nkulukusa amaziga. Ate era nnagula enkyusa ya Bayibuli ey’Abakatuliki eyitibwa Jerusalem Bible, eyali yaakafulumizibwa mu Luyitale, era ne ntandika okugisoma. Lumu ku Ssande ku makya, bwe nnali nnaakaggyamu ebyambalo byange oluvannyuma lw’okusoma Mmisa, abasajja babiri bajja ku ttendekero we nnali mbeera. Banneeyanjulira nti baali Bajulirwa ba Yakuwa. Twakubaganya ebirowoozo okumala essaawa esukka mu emu ku Bayibuli, ne ku ekyo ky’eyogera ku bubonero obulaga eddiini ey’amazima.
Kiki ekyakukwatako mu kukubaganya ebirowoozo n’abagenyi abo?
Nnayagala nnyo engeri gye baayogerangamu nga beekakasa era n’engeri gye baayanguyirwanga okukozesa Bayibuli eyavvuunulwa Abakatuliki. Oluvannyuma Omujulirwa wa Yakuwa omulala eyali ayitibwa Mario, yatandika okunkyaliranga. Yali mugumiikiriza era ng’akolera ku bigambo bye. Buli Lwamukaaga ku makya, enkuba k’ebe ng’etonnye, yanyiganga akade k’oluggi ku ssaawa ssatu.
Abasosodooti abalala baalina ndowooza ki ku kukyala kwa Mario?
Nnabayita okunneegattako mu kukubaganya ebirowoozo, naye tewali n’omu eyakitwala nti kikulu okuyiga Bayibuli. Kyokka nze nnanyumirwanga nnyo. Nnayiga ebintu ebikulu gamba ng’ensonga lwaki Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo n’ensonga lwaki aleka abantu okubonaabona, ekintu kye nnali mmaze ekiseera nga nneebuuza.
Abo abaali bakusingako obuyinza baagezaako okukulemesa okuyiga Bayibuli?
Mu 1975, nnagenda e Rooma enfunda eziwera okubannyonnyola ebyo bye nnali njize. Baagezaako okukyusa endowooza yange naye tewali n’omu ku bo yali akozesa Bayibuli. Nga Jjanwali 9, 1976, nnawandiika ebbaluwa e Rooma nga mbategeeza nti nnali sikyali Mukatuliki. Oluvannyuma lw’ennaku bbiri, nnava mu ttendekero ne nninnya eggaali y’omukka okusobola okubaawo ku lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa lwe nnasooka okubeeramu. Nnakizuula nti lwali lukuŋŋaana lunene, ng’ebibiina eby’enjawulo eby’Abajulirwa ba Yakuwa bikuŋŋaanye wamu. Buli kintu kyali kya njawulo nnyo ku ebyo bye nnali mmanyidde! Buli Mujulirwa wa Yakuwa yalina Bayibuli ng’agoberera aboogezi nga boogera ku bintu eby’enjawulo.
Ab’eŋŋanda zo baalina ndowooza ki ku ekyo kye wasalawo?
Abasinga obungi ku bo baagezaako okunnemesa. Kyokka nnakizuula nti omu ku baganda bange yali ayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa mu Lombardy, ekiri mu bukiikakkono bwa Yitale. Nnagendayo okumulaba, era Abajulirwa ba Yakuwa abaaliyo bannyamba okufuna eky’okukola, n’ekifo aw’okubeera. Oluvannyuma mu mwaka ogwo, nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.
Kyaddaaki nnatandika okuwulira nti nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda
Olina kye wejjusa?
Nedda. Kyaddaaki nnatandika okuwulira nti nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, kubanga bye mmumanyiiko byesigamiziddwa ku Bayibuli, so si ku bufirosoofo oba ku bulombolombo bwa kkereziya. Kati njigiriza abantu mu bwesimbu era nga nneekakasa.
^ lup. 13 Bayibuli eddamu ebibuuzo ebyo n’ebirala bingi mu ngeri etegeerekeka obulungi. Laba wansi wa, ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > EBIBUUZO BAYIBULI BY’EDDAMU.