Ssebutemba 27–Okitobba 3
YOSWA 6-7
Oluyimba 144 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Weewale Ebintu Ebitaliimu Nsa”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Yos 6:20—Bukakafu ki obulaga nti ekibuga Yeriko kyawambibwa mu kiseera kitono nnyo oluvannyuma lw’okukizingiza? (w15 11/15 lup. 13 ¶2-3)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Yos 6:1-14 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 12)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Beera ng’amulaga vidiyo, Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? (th essomo 9)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lffi essomo 01, akatundu 3 (th essomo 8)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebikolebwa Ekibiina: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo, Ebikolebwa Ekibiina eya Ssebutemba.
Okujeemera Yakuwa Kivaamu Emitawaana: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, ‘Tewali Kigambo na Kimu Ekitatuukiridde.’—Katundu Kaayo. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Bulagirizi ki Yakuwa bwe yawa obukwata ku kibuga Yeriko? Kiki Akani n’ab’omu maka ge kye baakola, era lwaki? Ebyo ebyaliwo bituyigiriza ki? Bakubirize okulaba vidiyo yonna.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 14 ¶8-14, akas. 13A
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 88 n’Okusaba