Yesu Abuulira Omukazi Omusamaliya
Kiki ekyasobozesa Yesu okubuulira embagirawo?
-
4:7—Bwe yali atandika okwogera, teyasooka kwogera ku Bwakabaka oba okweyogerako nga Masiya, wabula yasooka kusaba mazzi ag’okunywa
-
4:9—Eky’okuba nti omukazi oyo yali Musamaliya tekyagaana Yesu kumubuulira
-
4:9, 12—Omukazi bwe yayogera ku njawukana ezaaliwo wakati w’Abayudaaya n’Abasamaliya, Yesu teyawugulibwa, wabula yanywerera ku nsonga gye yali ayogerako.—cf-E lup. 77 ¶3
-
4:10—Yatandika n’ekyokulabirako ekikwata ku bintu ebya bulijjo omukazi bye yakolanga
-
4:16-19—Wadde ng’omukazi oyo yali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, Yesu yayogera naye mu ngeri eweesa ekitiibwa
Ebyogerwako mu nnyiriri ezo, biraga bitya nti kikulu okubuulira embagirawo?