OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Batendeke Basobole Okweyongera Okuweereza Yakuwa
Ebibaddewo biraga nti ababuulizi abapya abatendekebwa okuva ku ntandikwa, batera okuba ababuulizi abalungi era abanyiikivu. (Nge 22:6; Baf 3:16) Ka tulabe agamu ku magezi ge tusobola okukozesa okuyamba abayizi baffe okufuuka ababuulizi abalungi:
-
Omuyizi wo bw’aba nga yaakafuuka omubuulizi, tandikirawo okumutendeka. (km 8/15 1) Mubuulire obukulu bw’okuba n’enteekateeka ey’okubuulira buli wiiki. (Baf 1:10) Toyogera bubi ku bantu b’omu kitundu kye mubuuliramu. (Baf 4:8) Mukubirize okukolera awamu n’omulabirizi w’ekibinja era n’ababuulizi abalala asobole okuganyulwa mu bumanyirivu bwe balina.—Nge 1:5; km 10/12 6 ¶3
-
Omuyizi wo bw’amala okubatizibwa, weeyongere okumuzzaamu amaanyi n’okumutendeka mu buweereza, nnaddala nga tannamalako katabo, “Kwagala kwa Katonda.”—km 12/13 7
-
Bw’oba obuulira n’omubuulizi omupya, kozesa ennyanjula ennyangu. Bw’amala okubuulira omuntu, musiime era bwe kiba kyetaagisa, omuwe amagezi ku ngeri gy’ayinza okulongoosaamu.—km 5/10 7