Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 PEETERO 1-3

‘Mukuumire mu Birowoozo Byammwe Okujja kw’Olunaku lwa Yakuwa’

‘Mukuumire mu Birowoozo Byammwe Okujja kw’Olunaku lwa Yakuwa’

3:11, 12

Yakuwa ajja kusala omusango mu bwenkanya mu kiseera kye ekigereke. Ebikolwa byaffe biraga nti twetegekedde olunaku lwa Yakuwa olugenda okujja?

Kitegeeza ki ‘okuba n’empisa entukuvu era n’okukola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda’?

  • Tulina okugoberera emitindo gya Yakuwa egy’empisa era n’okulwanirira okukkiriza kwaffe

  • Tulina okwenyigira mu bintu eby’omwoyo obutayosa ka tube nga tuli ffekka oba nga tuli n’abalala