OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Basobole Okusanyusa Yakuwa
Abaana Yakuwa abatwala nga ba muwendo nnyo. Alaba engeri gye bakulaakulanamu mu by’omwoyo n’engeri gye boolekamu obugumiikiriza. (1Sa 2:26; Luk 2:52) Abaana ne bwe baba nga bato nnyo, basobola okusanyusa Yakuwa mu ngeri gye beeyisaamu. (Nge 27:11) Ng’akozesa ekibiina kye, Yakuwa atuwadde ebitabo ne vidiyo okusobola okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe okumwagala n’okumugondera.
MULABE VIDIYO ABAANA, OBUGUMIIKIRIZA BWAMMWE BUSANYUSA YAKUWA! OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Bintu ki Yakuwa by’atuwadde okumala emyaka mingi okusobola okuyamba abaana?
-
Biki abazadde bye basobola okukozesa okuyamba abaana baabwe?
-
Abaana, biki Yakuwa by’atuwadde ebibayambye, era lwaki?