Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 6-7

Ssaddaaka Eyaweebwangayo Okwebaza Yakuwa

Ssaddaaka Eyaweebwangayo Okwebaza Yakuwa

7:11-15, 20

Ssaddaaka ez’emirembe Abayisirayiri ze baawangayo zitujjukiza obukulu bw’okulaga nti tusiima ebyo Yakuwa by’atukolera, nga tuyitira mu kusaba ne mu ngeri gye tweyisaamu.​—Baf 4:6, 7; Bak 3:15.

  • Bwe tuba tusaba, bintu ki bye tusobola okwebaza Yakuwa?​—1Se 5:17, 18

  • Okwoleka okusiima kituganyula kitya?

  • Omuntu ayinza atya okulya ku “mmeeza ya badayimooni,” era ekyo kiraga kitya nti tasiima ebyo Yakuwa by’amukolera?​—1Ko 10:20, 21