Musa Yagoberera Obulagirizi Bwonna Obwamuweebwa
Musa yagoberera obulagirizi bwonna Yakuwa bwe yamuwa obukwata ku kuzimba n’okusimba weema entukuvu. Naffe tusaanidde okugoberera obulagirizi bwonna obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa era n’obutalwawo kubukolerako. Tusaanidde okubugoberera ne bwe bulabika ng’obutali bukulu oba nga tetutegeera nsonga lwaki butuweereddwa.—Luk 16:10.
Lwaki tusaanidde okuwuliriza era n’okugoberera obulagirizi obuba butuweereddwa . . .
-
mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira?
-
obukwata ku kwetegekera embeera eyinza okutwetaagisa okufuna obujjanjabi obw’amangu?
-
obukwata ku kwetegekera obutyabaga?