Noovemba 25–Ddesemba 1
OKUBIKKULIRWA 4-6
Oluyimba 22 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Abeebagazi b’Embalaasi Abana”: (Ddak. 10)
Kub 6:2—Omwebagazi w’embalaasi enjeru ‘yagenda ng’awangula’ (wp17.3 lup. 4 ¶3, 5)
Kub 6:4-6—Yali agobererwa omwebagazi w’embalaasi emmyufu n’ow’enzirugavu (wp17.3 lup. 5 ¶2, 4-5)
Kub 6:8—Oluvannyuma omwebagazi w’embalaasi ensiiwuufu yabagoberera era amagombe gaali gamuvaako emabega (wp17.3 lup. 5 ¶8-10)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Kub 4:4, 6—Abakadde 24 bakiikirira ki era n’ebiramu 4 bikiikirira ki? (re-E lup. 76-77 ¶8; lup. 80 ¶19)
Kub 5:5—Lwaki Yesu ayitibwa “Empologoma y’omu kika kya Yuda”? (cf-E lup. 36 ¶5-6)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kub 4:1-11 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 4)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) lvs lup. 53 ¶15 (th essomo 2)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Yakuwa Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu”: (Ddak. 15) Kitundu kya kukubaganya birowoozo era nga kya kukubirizibwa mukadde. Musooke mulabe vidiyo, Engeri y’Okuwaayo nga Tukozesa Omukutu Gwaffe. Tegeeza ababuulizi nti basobola okumanya ebikwata ku kuwaayo nga bagenda awali ekigambo Donations ku jw.org ne ku JW Library oba okugenda ku mukutu donate.jw.org. Soma ebbaluwa eva ku ofiisi y’ettabi eraga okusiima olw’ebyo ebyaweebwayo omwaka gw’obuweereza oguwedde. Basiime olw’omwoyo omugabi gwe booleka.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 92
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 43 n’Okusaba