OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Noovemba 2019
Bye Tuyinza Okwogerako
Bye tuyinza okwogerako ebikwata ku kigendererwa ky’obulamu n’ebyo Katonda by’asuubizza okukola mu biseera eby’omu maaso.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Temwagalanga Nsi oba Ebintu Ebiri mu Nsi
Biki ebinaatuyamba obutatwalirizibwa nsi n’ebintu byamu ebisobola okutuggya ku Yakuwa?
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weewale Okutwalirizibwa Omwoyo gw’Ensi ng’Otegeka Embaga
Misingi ki egiri mu Bayibuli egisobola okubayamba okukola embaga etajja kubaleetera kulumizibwa muntu waabwe ow’omunda oba okwejjusa?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Tulina Okufuba Okusigala mu Kukkiriza
Tuyinza tutya ‘okulwanirira ennyo okukkiriza’?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Mmanyi Ebikolwa Byo”
Yesu amanyi buli kimu ekikolebwa mu kibiina era alina obuyinza ku bakadde mu kibiina.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Amanyi Bye Twetaaga
Lwaki buli lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu lubaamu ebintu bye tuba twetaaga? Kiki ekireetera enkuŋŋaana ez’awakati mu wiiki okuba nga zizzaamu amaanyi era nga zirimu ebintu ebituganyula mu bulamu?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Abeebagazi b’Embalaasi Abana
Leero ebintu ebikiikirirwa abeebagazi b’embalaasi abana aboogerwako mu Okubikkulirwa weebiri. Bakiikirira ki?
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu
Tuyinza tutya okuwaayo okuwagira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa, mu kitundu kyaffe ne mu nsi yonna?