Omwoyo Omutukuvu Gufukibwa ku Kibiina Ekikristaayo
Abayudaaya bangi abaali mu Yerusaalemi ku Pentekooti 33 E.E, baali bavudde mu mawanga amalala. (Bik 2:9-11) Wadde nga baakwatanga amateeka ga Musa, bayinza okuba nga baabeeranga mu mawanga ago. (Yer 44:1) N’olwekyo, abamu ku bo bayinza okuba nga baali boogera ennimi z’amawanga ago okusinga olulimi lwabwe. Abantu 3,000 bwe baabatizibwa, ekibiina Ekikristaayo kyatandika okubeeramu abantu abava mu mawanga ag’enjawulo. Wadde nga baali bava mu mbeera za njawulo, “baakuŋŋaaniranga mu yeekaalu nga bonna bassa kimu.”—Bik 2:46.
Oyinza otya okulaga nti ofaayo ku . . .
-
bantu b’omu kitundu kyo abava mu mawanga amalala?
-
b’oluganda abali mu kibiina kyo abava mu mawanga amalala?