Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okudiŋŋaana

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okudiŋŋaana

LWAKI KIKULU?: Abantu bangi abasiima obubaka bwaffe baba banoonya amazima agakwata ku Katonda. (Is 55:6) Okusobola okuyigiriza abantu ng’abo ne bakulaakulana, tulina okubaddiŋŋana enfunda n’enfunda. Ebizibu abantu bye bayitamu si bye bimu, n’olwekyo engeri gye tunaabayambamu okwongera okusiima obubaka bwaffe ejja kusinziira ku mbeera ya buli muntu. Kyokka tujja kusobola okubayamba singa tweteekateeka bulungi, era ne tuba n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Bayibuli.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Fuba okuddayo amangu eri omuntu eyasiima obubaka bwaffe, oboolyawo oluvannyuma lw’ennaku ntono.​—Mat 13:19

  • Beera wa mukwano gy’ali era muwe ekitiibwa. Yogera mu ngeri yo eya bulijjo

  • Sooka omulamuse era kozesa erinnya lye. Mujjukize ensonga lwaki omuddidde​—oboolyawo ozzeeyo okumuddamu ekibuuzo, okumutwalira magazini empya, okumulaga omukutu gwaffe, okumulaga vidiyo, oba okumulaga engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. Bw’atandika okwogera ku nsonga endala, kyusaamu mwogere ku nsonga eyo.​—Baf 2:4

  • Fukirira ensingo ez’amazima ze wasiga mu mutima gwe ng’omusomerayo ekyawandiikibwa oba ng’omulekera eky’okusoma. (1Ko 3:6) Gezaako okumufuula mukwano gwo

  • Lekawo kye munaayogerako omulundi omulala