Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | AMOSI 1-9

“Munoonye Yakuwa Musobole Okusigala nga Muli Balamu”

“Munoonye Yakuwa Musobole Okusigala nga Muli Balamu”

5:6, 14, 15

Okunoonya Yakuwa kitegeeza ki?

  • Kitegeeza okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, n’okukola by’ayagala

Kiki ekyatuuka ku Bayisirayiri bwe baalekera awo okunoonya Yakuwa?

  • Baalekera awo ‘okukyawa ekibi era ne balekera awo okwagala ekirungi’

  • Ebirowoozo byabwe baabimalira ku kwesanyusa bokka

  • Tebaafangayo ku ebyo Yakuwa bye yabagambanga

Biki Yakuwa by’atuwadde okutuyamba okumunoonya?