Jjuuni 10-16
ZABBULI 48-50
Oluyimba 126 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okwesiga Ekibiina kya Yakuwa
(Ddak.10)
Muyambe abaana bammwe okusemberera Yakuwa n’ekibiina kye (Zb 48:12, 13; w22.03 lup. 22 ¶11; w11 3/15 lup. 19 ¶5-7)
Muyigirize abaana bammwe ku byafaayo by’ekibiina kya Yakuwa (w12 8/15 lup. 12 ¶5)
Tendeka ab’omu maka go okukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa ng’obateerawo ekyokulabirako (Zb 48:14)
KYE MUYINZA OKUKOLAKO MU KUSINZA KW’AMAKA: Oluusi n’oluusi mulabeyo vidiyo okuva mu kitundu “Ekibiina Kyaffe,” ekiri ku jw.org era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 49:6, 7—Kiki Abayisirayiri kye baalina okujjukiranga ku bikwata ku by’obugagga bye baalina? (it-2-E lup. 805)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 50:1-23 (th essomo 11)
4. Totya Kubuulira—Ekyo Yesu Kye Yakola
(Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku lmd essomo 6 akatundu 1-2.
5. Totya Kubuulira—Koppa Yesu
(Ddak. 8) Mukubaganye ebirowoozo ku lmd essomo 6 akatundu 3-5 ne “Laba ne.”
Oluyimba 73
6 Ebyetaago by’Ekibiina
(Ddak. 15)
7. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 11 ¶1-4, ennyanjula ekitundu 4, n’obusanduuko ku lup. 98-99