Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maayi 22-28

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Yakuwa Asobola Okukuwa Ekisingawo Ennyo ku Ekyo”: (Ddak. 10)

  • Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)

    • 2By 26:4, 5—Ekyokulabirako kya Uzziya kituyigiriza ki ku ky’okuba ne mukkiriza munnaffe akuze mu by’omwoyo asobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi? (w07 12/15 10 ¶1-2)

    • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ­ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 2By 25:1-13 (th essomo 12)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 136

  • Obulamu Obutaggwaawo Busingira Wala Ekintu Kyonna ky’Oyinza Okwefiiriza (Mak 10:29, 30): (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Ebyo Yesu bye yayogera ebiri mu Makko 10:29, 30, byandituleetedde kukola ki? Yesu yeeyisa atya baganda be mu kusooka bwe bagaana okumukkiririzaamu? Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo ku b’eŋŋanda zaffe abatali mu mazima?

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 46

  • Okufundikira (Ddak. 3)

  • Oluyimba 51 n’Okusaba