OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okulabirira Ebifo mwe Tusinziza
Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka bya njawulo nnyo ku bizimbe ebirala, kubanga mwe tusinziza Yakuwa. Buli omu ku ffe ayinza atya okwenyigira mu mulimu gw’okulabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka? Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo erina omutwe, Okulabirira Ebifo mwe Tusinziza, mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Miganyulo ki egiri mu kuba n’Ekizimbe ky’Obwakabaka?
-
Lwaki kikulu Ekizimbe ky’Obwakabaka okuba nga kiyonjo era nga kiri mu mbeera nnungi?
-
Ani avunaanyizibwa ku kulabirira n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka?
-
Lwaki kikulu okwegendereza ne twewala obubenje, era ekyo kiragiddwa kitya mu vidiyo?
-
Tuyinza tutya okuwagira enteekateeka eyo mu by’ensimbi?