Apuli 12-18
OKUBALA 20-21
Oluyimba 114 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Sigala ng’Oli Muwombeefu ng’Oyolekaganye n’Embeera Esoomooza”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kbl 20:23-27—Biki bye tuyigira ku ngeri Alooni gye yeeyisaamu ng’akangavvuddwa era ne ku ngeri Yakuwa gye yamutwalamu wadde nga yali akoze ensobi? (w14 6/15 lup. 26 ¶12)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Kbl 20:1-13 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 12)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 3)
Okwogera: (Ddak. 5) g-E 1/15 lup. 9—Omutwe: Nnyinza Ntya Okufuga Obusungu? (th essomo 16)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yogera Ebigambo ‘Ebirungi Ebisobola Okuzimba Abalala’: (Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Omuntu bw’aba nga yeemulugunya oba ng’akozesa ebigambo ebibi kikwata kitya ku balala? Kiki ekyayamba ow’oluganda abadde mu vidiyo okukola enkyukakyuka?
Ziyiza Okupikirizibwa!: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo ya bukatuuni, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Kupikirizibwa ki abasinga obungi kwe boolekagana nakwo? Magezi ki agali mu Okuva 23:2? Bintu ki ebina ebisobola okutuyamba okuziyiza okupikirizibwa?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 7 ¶16-23
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 129 n’Okusaba