Maaki 30–Apuli 5
OLUBEREBERYE 29-30
Oluyimba 93 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakobo Awasa”: (Ddak. 10)
Lub 29:18-20—Yakobo yakkiriza okukolera Labbaani okumala emyaka musanvu asobole okuwasa Laakeeri (w03-E 10/15 lup. 29 ¶6)
Lub 29:21-26—Labbaani yawa Yakobo Leeya mu kifo kya Laakeeri (w07-E 10/1 lup. 8-9; it-2-E lup. 341 ¶3)
Lub 29:27, 28—Yakobo yagumira embeera enzibu
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 30:3—Lwaki abaana Yakobo be yazaala mu Biruka Laakeeri yabayita babe? (it-1-E lup. 50)
Lub 30:14, 15—Nsonga ki eyinza okuba nga ye yaleetera Laakeeri okusalawo okutwala amadudayimu mu kifo ky’okusula ne bbaawe? (w04 2/1 lup. 16 ¶7)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 30:1-21 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Ebizimba era Ebizzaamu Amaanyi, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ssomo 16 erya brocuwa Okuyigiriza.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) bhs lup. 59 ¶21-22 (th essomo 18)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Bamuzibe”: (Ddak. 10) Kitundu kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Buuza abawuliriza ebibuuzo bino: Lwaki kikulu okufaayo ku bamuzibe? Wa we tuyinza okubasanga? Tuyinza tutya okulaga nti tubafaako era biki bye tuyinza okwogerako nga tubabuulira? Biki bye tuyinza okukozesa okubayamba okukulaakulana mu by’omwoyo?
Ebikolebwa Ekibiina: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo, Ebikolebwa Ekibiina eya Maaki.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 110
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 30 n’Okusaba