Jjuuni 1-7
OLUBEREBERYE 44-45
Oluyimba 130 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yusufu Asonyiwa Baganda Be”: (Ddak. 10)
Lub 44:1, 2—Yusufu yagezesa baganda be okusobola okumanya ebigendererwa byabwe (w15 5/1 lup. 14-15)
Lub 44:33, 34—Yuda yeegayirira Yusufu aleke Benyamini agende
Lub 45:4, 5—Yusufu yakoppa Yakuwa n’asonyiwa baganda be
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 44:13—Omuntu okuyuza ekyambalo kye kyalina makulu ki? (it-2-E lup. 813)
Lub 45:5-8—Kiki ekiyinza okutuyamba okugumiikiriza nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya? (w04 9/1 lup. 11 ¶15)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 45:1-15 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Ebiganyula Abakuwuliriza, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ssomo 18 erya brocuwa Okuyigiriza.
Okwogera: (Ddak. 5 oba obutawera) w06-E 2/1 lup. 31—Omutwe: Ebiri mu Olubereberye 44:5, 15 biraga nti Yusufu yakozesanga ekikopo ekya ffeeza okulagula? (th essomo 18)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 10)
Ebikolebwa Ekibiina: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo, Ebikolebwa Ekibiina eya Jjuuni.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 117
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 19 n’Okusaba