‘Ebintu eby’Akabonero’ Ebirina Amakulu Gye Tuli
Omutume Pawulo yayogera ku ‘bintu eby’akabonero’ okulaga engeri endagaano empya gye yali esingamu endagaano y’Amateeka. Yesu n’abo b’anaafuga nabo bajja kusumulula abantu okuva mu kibi n’okufa, era babayambe okufuuka abatuukiridde.—Is 25:8, 9.
AGALI—OMUZAANA Akiikirira eggwanga lya Isirayiri eryali wansi w’endagaano y’Amateeka, era Yerusaalemi kye kyali ekibuga ky’eggwanga eryo ekikulu |
SAALA—OMUKAZI OW’EDDEMBE Akiikirira Yerusaalemi ekya waggulu, nga kye kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Katonda |
“ABAANA” BA AGALI Bakiikirira Abayisirayiri (abeeyama okukwata endagaano y’Amateeka), naye baagaana Yesu era ne bamuyigganya |
“ABAANA” BA SAALA Bakiikirira Kristo n’Abakristaayo 144,000 abaafukibwako amafuta |
OKUBEERA MU BUDDU BW’ENDAGAANO Y’AMATEEKA Amateeka gajjukizanga Abayisirayiri nti baali baddu ba kibi |
ENDAGAANO EMPYA EREETA EMIREMBE Abantu bwe bakkiririza mu kinunulo kya Kristo, basumululwa okuva mu kibi |