Jjuuni 3-9
ABAGGALATIYA 4-6
Oluyimba 16 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“‘Ebintu eby’Akabonero’ Ebirina Amakulu Gye Tuli”: (Ddak. 10)
Bag 4:24, 25—Agali yali akiikirira eggwanga lya Isirayiri eryali wansi w’endagaano y’Amateeka (it-1-E lup. 1018 ¶2)
Bag 4:26, 27—Saala yali akiikirira “Yerusaalemi ekya waggulu,” ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa (w14 10/15 lup. 10 ¶11)
Bag 4:28-31—“Abaana” ba Yerusaalemi ekya waggulu bajja kuleetera abantu abeesigwa emikisa
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bag 4:6—Ekigambo “Abba” eky’Olwebbulaniya oba eky’Olulamayiki kirina makulu ki? (w09-E 4/1 lup. 13)
Bag 6:17—Omutume Pawulo ayinza kuba nga yali ategeeza ki bwe yagamba nti, “nnina enkovu ku mubiri gwange olw’okubeera omuddu wa Yesu”? (w10-E 11/1 lup. 15)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bag 4:1-20 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ssomo 6 erya brocuwa Okuyigiriza.
Okwogera: (Ddak. 5 oba obutawera) w12 3/15 lup. 30-31—Omutwe: Lwaki Abakristaayo Basaanidde Okwewalira Ddala Okulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu? (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 8)
Ebikolebwa Ekibiina: (Ddak. 7) Mulabe vidiyo, Ebikolebwa Ekibiina eya Jjuuni.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 69
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 40 n’Okusaba