Jjuuni 4-10
MAKKO 15-16
Oluyimba 95 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yesu Yatuukiriza Obunnabbi”: (Ddak. 10)
Mak 15:3-5—Yasirika nga bamulumiriza
Mak 15:24, 29, 30—Ebyambalo bye baabikubira akalulu, era baamuvuma (“ne bagabana ebyambalo bye eby’okungulu” awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 15:24, nwtsty; “ne banyeenya emitwe” awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 15:29, nwtsty)
Mak 15:43, 46—Yaziikibwa n’abagagga (“Yusufu” awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 15:43, nwtsty)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mak 15:25—Lwaki ekiseera kye baakomerererako Yesu Makko kye yawandiika kirabika ng’ekikontana n’eky’abawandiisi b’Enjiri abalala? (“ku ssaawa ssatu” awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 15:25, nwtsty)
Mak 16:8—Lwaki Enjiri ya Makko tekomekkereza na kufundikira okuwanvu oba okumpi, mu Enkyusa ey’Ensi Empya? (“baali batidde nnyo” awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 16:8, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mak 15:1-15
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) jl essomo 2
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Tambulira mu Bigere bya Kristo”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Erinnya lya Yakuwa lye Lisinga Obukulu.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 23, akasanduuko “Okukwatibwa Dayimooni”
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 140 n’Okusaba