Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

August 18-24

ENGERO 27

August 18-24

Oluyimba 102 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Engeri gye Tuganyulwa mu Kuba n’Emikwano Egya Nnamaddala

(Ddak. 10)

Emikwano egya nnamaddala gituwabula we kiba kyetaagisizza (Nge 27:5, 6; w19.09 lup. 5 ¶12)

Emikwano egya nnamaddala oluusi giba gisobola okutuyamba okusinga ab’eŋŋanda (Nge 27:10; it-2 lup. 491 ¶3)

Emikwano egya nnamaddala gituzimba (Nge 27:17; w23.09 lup. 10 ¶7)

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Nge 27:21—Okutenderezebwa kuyinza kutya okutugezesa? (w06 11/1 lup. 11 ¶11)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

(Ddak. 4) Nge 27:1-17 (th essomo 5)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Eddiini omuntu gy’alimu tekkiririza mu Yesu. (lmd essomo 6 akatundu 5)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mulage emu ku vidiyo eziri mu Bye Tukozesa Okuyigiriza. (lmd essomo 8 akatundu 3)

6. Okwogera

(Ddak. 5) ijwyp ekitundu 75—Omutwe: Watya Singa Mukwano Gwange Akola Oba Ayogera Ekintu Ekinnumya? (th essomo 14)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 109

7. ‘Ow’Oluganda mu Biro eby’Okulaba Ennaku’

(Ddak. 15) Kukubaganya Birowoozo.

Yakuwa atuwadde oluganda olw’ensi yonna mwe tusobola okufuna emikwano egya nnamaddala. Oyinza okuba ng’olina emikwano mingi mu kibiina; naye ku mikwano egyo, olinako emeka egy’oku lusegere? Okusobola okunyweza omukwano, buli omu alina okuba ng’ategeera bulungi munne, ng’amwesiga, ng’amubuulira ekimuli ku mutima, by’ayiseemu, era ng’akiraga nti amufaako. N’olwekyo, kyetaagisa ebiseera n’okufuba okusobola okukola emikwano n’okuginyweza.

Soma Engero 17:17. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Lwaki kya magezi okuba n’emikwano egy’oku lusegere mu kiseera kino ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatuuka?

Soma 2 Abakkolinso 6:12, 13. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Amagezi agali mu kyawandiikibwa ekyo gayinza gatya okutuyamba okukola emikwano?

Mulabe VIDIYO “Buli Kintu Kiba n’Ekiseera Kyakyo”—Kitwala Ekiseera Okufuna Emikwano Egya Nnamaddala. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Mu vidiyo eyo, kiki ky’oyize ekikwata ku kukola omukwano?

Oyinza okutandika okukola omukwano n’omuntu ng’omumwenyeza oba ng’omubuuza mu ngeri eyoleka omukwano, era n’ozimba omukwano ogwo ng’okiraga nti omufaako. Kitwala ekiseera omukwano okunywera, n’olwekyo beera mugumiikiriza. Bw’ofuba okunyweza omukwano gwammwe, gusobola okuba ogw’olubeerera.

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) lfb essomo 10-11

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 118 n’Okusaba