Agusito 11-17
ENGERO 26
Oluyimba 88 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Weewale Omuntu ‘Omusirusiru’
(Ddak. 10)
Omuntu ‘omusirusiru’ tasaana kuweebwa kitiibwa (Nge 26:1; it-2 lup. 729 ¶6)
Abantu ‘abasirusiru’ beetaaga okukangavvulwanga (Nge 26:3; w87 10/1 lup. 19 ¶12)
Omuntu ‘omusirusiru’ teyeesigika (Nge 26:6; it-2 lup. 191 ¶4)
KYE KITEGEEZA: Mu Bayibuli, ekigambo ‘omusirusiru’ kitegeeza omuntu agaana okukolera ku magezi agaba gamuweereddwa n’akola ebintu ebikontana n’amateeka ga Katonda.
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
Nge 26:4, 5—Lwaki ebyo ebiri mu nnyiriri ezo tebikontana? (it-1 lup. 846)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Nge 26:1-20 (th essomo 5)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Tandika okunyumya n’omuntu ng’okozesa tulakiti. (lmd essomo 1 akatundu 5)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Weeyongere okunyumya n’omuntu ng’okozesa tulakiti gye wamulekera. (lmd essomo 7 akatundu 4)
6. Okufuula Abantu Abayigirizwa
(Ddak. 5) Yamba omuyizi wo okweteekateeka okubuulira omu ku b’eŋŋanda ze. (lmd essomo 11 akatundu 5)
Oluyimba 94
7. Beera ‘Mugezi Osobole Okufuna Obulokozi’ Okuyitira mu Kwesomesa
(Ddak. 15) Kukubaganya Birowoozo.
Omutume Pawulo yajjukiza Timoseewo obukulu bw’Ebyawandiikibwa ebitukuvu bye yayiga okuva mu buto bwe. Ebyawandiikibwa ebyo byayamba Timoseewo okuba ‘omugezi asobole okufuna obulokozi.’ (2Ti 3:15) Olw’okuba amazima agali mu Bayibuli ga muwendo nnyo, kikulu buli Mukristaayo okuwaayo obudde okwesomesa Bayibuli. Naye watya singa tetunyumirwa kwesomesa Bayibuli?
Soma 1 Peetero 2:2. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
Okwesomesa Bayibuli kusobola okutunyumira?
Kiki kye tuyinza okukola okusobola ‘okwegomba nga’ okusoma Ekigambo kya Katonda?—w18.03 lup. 29 ¶6
Ebintu nga JW Library® ebiteereddwawo ekibiina kyaffe biyinza bitya okutuyamba okwongera okuganyulwa mu kwesomesa Bayibuli?
Mulabe VIDIYO Ebikolebwa Ekibiina—Amagezi ku Ngeri y’Okukozesaamu JW Library. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
Oganyuddwa otya mu kukozesa JW Library®?
Bintu ki by’onyumiddwa okukozesa mu JW Library®?
Bintu ki mu JW Library® by’oyagala okuyiga era otandike okubikozesa?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) lfb essomo 8-9