Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Agusito 19-25

ZABBULI 75-77

Agusito 19-25

Oluyimba 120 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Lwaki Tetusaanidde Kwegulumiza?

(Ddak. 10)

Katonda tasanyukira abo abeegulumiza (Zb 75:4; 1Ti 3:6; w18.01 lup. 28 ¶4-5)

Enkizo oba obuvunaanyizibwa bye tufuna mu kibiina, kiba kirabo okuva eri Yakuwa era tetukifuna lwa busobozi bwaffe (Zb 75:​5-7; w06 9/1 lup. 9 ¶2)

Abo abooleka amalala nga ag’abakulembeze b’ensi, Yakuwa ajja kubakkakkanya (Zb 76:12)

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 76:10—“Obusungu bw’abantu” buyinza butya okuleetera Yakuwa ettendo? (w06 9/1 lup. 9 ¶3)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mulage vidiyo mu lulimi lw’ayagala okuva ku jw.org oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo. (lmd essomo 1 akatundu 4)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Kyusa mu by’oyogera osobole okutuukana n’embeera y’omuntu akugambye nti takkiririza mu Katonda. (lmd essomo 2 akatundu 5)

6. Okufuula Abantu Abayigirizwa

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 127

7. Beera Mwesigwa Nga Bakutenderezza

(Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo.

Mulabe VIDIYO Beera Mwesigwa nga Yesu Bwe Yali—Ng’Abalala Bamutenderezza. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Kiki ky’oyigidde ku ngeri Sergei gy’azzeemu n’obwetoowaze abo ababadde bamuwaana?

8. Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli mu Ssebutemba nga tukozesa brocuwa oba ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

(Ddak. 8) Okwogera kuno kwa kuweebwa omulabirizi w’obuweereza. Baleetere okwesunga okwenyigira mu kaweefube oyo era babuulire enteekateeka ezikoleddwa ekibiina kyammwe ezikwata ku kaweefube oyo.

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira(Ddak. 3) | Oluyimba 95 n’Okusaba