Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjulaayi 13-19

OKUVA 8-9

Jjulaayi 13-19

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Falaawo Eyali ow’Amalala Yali Tamanyi nti Atuukiriza Ekigendererwa kya Katonda”: (Ddak. 10)

    • Kuv 8:15​—Falaawo yakakanyaza omutima gwe n’agaana okuwuliriza Musa ne Alooni (it-2-E lup. 1040-1041)

    • Kuv 8:18, 19​—Wadde nga bakabona ba Falaawo abaakolanga eby’obufumu bakkiriza nti tebasobola kukola kyamagero Yakuwa kye yali akoze, Falaawo yagaana okuwuliriza

    • Kuv 9:15-17​—Yakuwa yagulumiza erinnya lye bw’atazikiririzaawo Falaawo (it-2-E lup. 1181 ¶3-5)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)

    • Kuv 8:21​—Kika ki ekya kawawa ekyogerwako mu lunyiriri luno? (it-1-E lup. 878)

    • Kuv 8:25-27​—Lwaki Musa yagamba nti ebiweebwayo by’Abayisirayiri byandibadde ‘bya muzizo eri Abamisiri’? (w04 4/1 lup. 9 ¶9)

    • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 8:1-19 (th essomo 12)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Omubuulizi azzeemu atya omuntu abadde tayagala kuwuliriza? Singa omubuulizi abadde wa kuwa nnyinimu akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli, yandikanjudde atya?

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 6)

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 3)

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 12)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO