Mweyambuleko Omuntu ow’Edda, Mwambale Omuntu Omuggya
Olina enkyukakyuka ez’amaanyi ze wakola bwe wayiga amazima? Beera mukakafu nti Yakuwa yasanyuka nnyo olw’enkyukakyuka ezo ze wakola. (Ezk 33:11) Kyokka, kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okwewala engeri embi ze twaleka, n’okweyongera okwoleka engeri ennungi. Ddamu ebibuuzo bino olabe we weetaaga okweyongera okulongoosaamu:
-
Waliwo omuntu eyannyiiza gwe nsibidde ekiruyi?
-
Njoleka obugumiikiriza ne bwe mba mu bwangu oba nga nkooye?
-
Bwe nfuna ekirowoozo ekibi, nkyeggyamu mangu?
-
Nnina endowooza enkyamu ku bantu ab’amawanga amalala?
-
Gye buvuddeko waliwo omuntu gwe nnayogera naye mu ngeri etali ya kisa oba gwe nnakambuwalira?