“Yakolera Ddala bw’Atyo”
Teeberezaamu emirimu Nuuwa n’ab’omu maka ge gye baalina okukola okusobola okuzimba eryato nga tebalina byuma bikozesebwa ebiriwo leero.
-
Eryato eryo lyali ddene nnyo, nga lya ffuuti nga 437 (mita 133) obuwanvu, ffuuti 73 (mita 22) obugazi, ne ffuuti 44 (mita 13) obugulumivu
-
Emiti gyalina okutemebwa, okusalibwamu embaawo, n’okutwalibwa we baali bagenda okuzimbira eryato
-
Eryato lyalina okusiigibwa envumbo munda ne ku kungulu
-
Baalina okukuŋŋaanya emmere yaabwe n’ey’ebisolo, eyandibamazizzaako omwaka mulamba
-
Omulimu gw’okuzimba eryato guyinza okuba nga gwabatwalira wakati w’emyaka 40 ne 50
Ebikwata ku Nuuwa biyinza bitya okutuzzaamu amaanyi bwe tuwulira nga kituzibuwalidde okutuukiriza obuvunaayizibwa Yakuwa bw’aba atuwadde?