Jjanwali 13-19
OLUBEREBERYE 3-5
Oluyimba 72 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Ebizibu Ebyava mu Bulimba Obwasooka”: (Ddak. 10)
Lub 3:1-5—Sitaani yayogera eby’obulimba ku Katonda (w17.02 lup. 5 ¶9)
Lub 3:6—Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda (w00-E 11/15 lup. 25-26)
Lub 3:15-19—Katonda yabonereza abajeemu (w12-E 9/1 lup. 4 ¶2; w04 1/1 lup. 7 ¶2; it-2-E lup. 186)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 4:23, 24—Lwaki Lameka yayiiya ekitontome kino? (it-2-E lup. 192 ¶5)
Lub 4:26—Mu ngeri ki abantu b’omu kiseera kya Enosi gye bayinza okuba nga baatandika “okukoowoola erinnya lya Yakuwa”? (it-1-E lup. 338 ¶2)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 4:17–5:8 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Kiki ky’oyagadde ku nnyanjula eyo? Biki by’oyigidde ku babuulizi abo bwe kituuka ku kiseera kye bateeseteese okukoleramu okuddiŋŋana?
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 3)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe magazini eyali yaakafulumizibwa, eddamu ekibuuzo ky’abuuzizza. (th essomo 2)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Engeri y’Okutandikamu Okwogera n’Abantu nga Tukozesa Tulakiti”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo eraga engeri gye tuyinza okutandikamu okubuulira omuntu nga tukozesa tulakiti, era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 99
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 85 n’Okusaba