Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

‘Pawulo Yeebaza Katonda n’Aguma’

‘Pawulo Yeebaza Katonda n’Aguma’

Ab’oluganda mu kibiina ky’e Rooma bwe baawulira nti Pawulo ajja, baatambula mayiro 40 ne bagenda okumusisinkana. Okwagala okwo kwe baamulaga kwamukwatako kutya? Bayibuli egamba nti: “Pawulo olwabalaba ne yeebaza Katonda n’aguma.” (Bik 28:15) Wadde nga Pawulo yali amanyiddwa ng’omulabirizi azzaamu ebibiina amaanyi, ku mulundi guno ye yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi kubanga yali musibe.​—2Ko 13:10.

Leero abalabirizi bakyalira ebibiina okusobola okuzzaamu ab’oluganda amaanyi. Okufaananako abaweereza ba Katonda abalala, nabo bakoowa, bafuna ebibeeraliikiriza, era baggwaamu amaanyi. Omulundi omulala omulabirizi w’ekitundu ne mukyala we lwe banaddamu okukyalira ekibiina kyo, kiki ky’oyinza okukola okusobola ‘okubazzaamu amaanyi’?​—Bar 1:11, 12.

  • Beerawo mu nkuŋŋaana z’okugenda okubuulira. Omulabirizi azzibwamu amaanyi ababuulizi bwe babaako bye beefiiriza okusobola okuganyulwa mu nteekateeka ya wiiki eyo ey’enjawulo. (1Se 1:2, 3; 2:20) Lowooza ku ky’okuweereza nga payoniya omuwagizi mu mwezi ogwo. Oyinza okubuulirako n’omulabirizi w’ekitundu oba ne mukyala we, oba okutwala omu ku bo ku muyizi wo owa Bayibuli. Kibasanyusa nnyo okubuulirako n’ababuulizi ab’enjawulo, nga mw’otwalidde n’abapya oba abo abatannafuna bumanyirivu mu buweereza.

  • Basembeze. Osobola okubasuza? Ekyo bw’okikola kibalaga nti obaagala. Tebasuubira nti ojja kabategekera ebintu bingi.​—Luk 10:38-42.

  • Wuliriza amagezi g’akuwa era ogakolereko. Omulabirizi w’ekitundu asobola okutuyamba okulaba engeri gye tusobola okulongoosa mu buweereza bwaffe. Oluusi kiyinza okubeetaagisa okutuwabula. (1Ko 5:1-5) Kibasanyusa nnyo bwe tuba abawulize ne tukolera ku magezi ge baba batuwadde.​—Beb 13:17.

  • Basiime. Buulira omulabirizi w’ekitundu ne mukyala we engeri gy’oganyuddwa mu buyambi bwe bakuwadde. Ekyo osobola okukikola ng’oyogera nabo butereevu oba ng’obawandiikira akabaluwa oba okubaweereza ka kaadi.​—Bak 3:15.