OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Tulina Enkizo ey’Okuzimba n’Okulabirira Ebifo Mwe Tusinziza
Okuzimba yeekaalu kyali kyetaagisa okukola ennyo, ne ssente nnyingi. Wadde kyali kityo, Abayisirayiri baawagira mu bujjuvu enteekateeka y’okuzimba yeekaalu. (1By 29:2-9; 2By 6:7, 8) Yeekaalu bwe yamalirizibwa, okugirabirira oba obutagirabirira, kyasinziiranga ku mbeera y’Abayisirayiri ey’eby’omwoyo. (2Sk 22:3-6; 2By 28:24; 29:3) Leero, Abakristaayo bakozesa ebiseera bingi era bakola n’obunyiikivu okuzimba, okuyonja, n’okulabirira Ebizimbe by’Obwakabaka awamu n’ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene. Okukolera awamu ne Yakuwa mu ngeri eno nkizo ya maanyi nnyo, era y’emu ku ngeri gye tumuweerezaamu.
TUSOBOLA OKWENYIGIRAMU NGA . . .
Tuyonja buli luvannyuma lw’enkuŋŋaana. Embeera yo bw’eba tekusobozesa kuyonja, waakiri leka w’obadde otudde nga wayonjo.
Twenyigira mu nteekateeka ey’okuyonjeza awamu ng’ekibiina. Bwe tukolera awamu tuba basanyufu era tetukoowa nnyo.
—lv 92-93 ¶18. Tuwagira mu by’ensimbi. Ne bwe tuwaayo “obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo,” naye nga tuwaddeyo n’omutima gwaffe gwonna, kisanyusa nnyo Yakuwa.
—Mak 12:41-44. Twewaayo nga bannakyewa okuyambako mu kuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, embeera yaffe bw’eba etusobozesa. Okwenyigiramu tekyetaagisa kuba na bumanyirivu mu kuzimba.